bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 18
Revelation 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 19 →
1
Oluvannyuma, ne ndaba malayika omulala ng'akkirira ng'ava mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi; ensi yonna n'etangaala olw'ekitiibwa kye.
2
N'aleekaana n'eddoboozi ery'amaanyi nti: “Agudde, agudde Babiloni ow'ekitalo! afuuse kisulo kya myoyo migwagwa, ekkomera lya buli mwoyo mubi, ekkomera lya buli kinyonyi ekitali kirongoofu ekyakyayibwa;
3
kubanga amawanga gonna gaanywa omwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwe; ne bakabaka b'ensi baayenda naye, n'abasuubuzi b'omu nsi baagaggawalira ku kwejalabya kwe okungi.”
4
Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Bantu bange, mumuveemu, muleme kwetaba mu bibi bye n'okugabana bwe mutyo ku bibonoobono bye.
5
Anti ebibi bye byetuumye okutuukira ddala ku ggulu, n'Omukama ajjukidde ebibi bye.
6
Mumukole nga bwe yabakola; mmwe musinzeewo n'emirundi ebiri ku ebyo bye yakola; mu kikompe mwe yatabulira mmwe mumutabuliremu emirundi ebiri okusinga.
7
Gye yakoma okwegulumiza n'okwejalabya, nammwe gye muba mukoma okumubonyaabonya n'okumukaabya. Ye alowooza mu mutima gwe nti: ‘Ndi wano nze nnaabakyala, siri nnamwandu, n'okukungubaga sirikumanyaako.’
8
Awo nno ebibonoobono birimujjira ku lunaku lumu: kawumpuli, ebiwoobe n'enjala, era alyokebwa omuliro, kubanga Katonda amulamula wa maanyi.”
9
Bakabaka b'ensi abaayendanga naye ne beejalabya naye bakungubaga ne bakuba ebiwoobe nga balaba omukka ng'ateta;
10
bayimiridde walako olw'entiisa y'ebibonoobono bye, ne bagamba nti: “Nga kitalo, nga kitalo, ggwe ekibuga eky'ekitalo! Ayi Babiloni, ekibuga eky'amaanyi! Mu ssaawa busaawa ekibonerezo kyo kikujjidde.”
11
N'abasuubuzi b'ensi bamukaabira ne bamukungubagira, kubanga tewakyali agula migugu gyabwe;
12
emigugu egya zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo, amalulu, engoye empeweevu n'eza kakobe, ne liiri, n'emmyufu, emiti gyonna egy'akawoowo, n'ebintu byonna eby'amasanga, n'ebintu byonna ebikole mu miti egy'emiwendo, n'ekikomo, n'ekyuma, n'eby'ejjinja, ne maabo,
13
budalasiini, ebirungo, obubaani, mirra, envumbo, n'omuzigo ogw'akawoowo, obuwunga obuse, eŋŋano, ente, endiga, embalaasi, ebigaali, n'abaddu, kwe kugamba, abantu.
14
“Ebibala omwoyo gwo bye gwegombanga bikuleseewo; n'eby'omuwendo byonna n'ebitiibwa byo bikufudde, tebikyaddayo kulabikako.”
15
Abasuubuzi b'ebyo abaagaggawalira ku ye bamuyimiridde walako olw'entiisa ey'ebibonoobono, nga bakaaba, nga bakungubaga,
16
nga bagamba nti: “Nga kitalo, nga kitalo, ekibuga eky'ekitalo, ekyayambalanga engoye empeweevu, eza kakobe n'emmyufu, nga kyewoomezza ne zaabu n'amayinja g'omuwendo n'amalulu!
17
Mu ssaawa busaawa obugagga buno bwonna busaanyiziddwawo!” Abakulu b'amaato, abalunnyanja, abagoba b'amato, na bonna abakolera ku nnyanja, bayimiridde walako
18
nga batunuulira omukka nga kiteta, ne baleekaana nti: “Kibuga ki ekyali kyenkanye ekibuga kino obukulu?”
19
Ne beeyiira enfuufu ku mutwe nga bwe bakaaba n'okukungubaga, nga bagamba nti: “Nga kitalo, nga kitalo eky'ekibuga eky'ekitalo! Bonna abaalina amaato ku nnyanja mwe baagaggawalira ku bugagga bwakyo; mu ssaawa busaawa kifuuse matongo.
20
Kale, ggulu, jaguza olw'ekyo ky'afuuse, nammwe abatuukirivu, abatume n'abalanzi, kubanga Katonda amulamudde ku lwammwe.”
21
Malayika omu ow'amaanyi, n'abaka ejjinja eriri ng'olubengo olunene, n'alikasuka mu nnyanja, nga bw'alaamiriza nti: “Babiloni, ekibuga eky'ekitalo bwe kirikanyugibwa n'amaanyi wansi, tekiriddayo kusangibwa.
22
Amaloboozi g'abasunyi b'ennanga, ag'abayimbi, ag'abalere n'abakondeere tegaliddayo kuwulirwa mu ggwe; omukugu mu buli bukugu taliddayo kusangibwa mu ggwe; n'eddoboozi ly'olubengo teririddayo kuwulikika mu ggwe;
23
n'ekitangaala ky'ettawaaza tekiriddayo kwakira mu ggwe; n'eddoboozi ly'awasizza n'omugole teririddayo kuwulikika mu ggwe. Kubanga abaasuubulanga naawe be baali abakungu mu nsi; amawanga gonna gaagulikibwa obulogo bwo.
24
Mu ye mwe mwasangibwa omusaayi ogw'abalanzi n'abatuukirivu n'ogwa bonna abaali battiddwa mu nsi.”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22