bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Revelation 2
Revelation 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 3 →
1
“Malayika w'Ekleziya mu Efezi muwandiikire nti: ‘Bw'ati bw'agamba oyo akutte emmunyeenye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ebikondo omusanvu eby'ettawaaza ebya zaabu, nti:
2
Mmanyi by'okola, okufaabiina kwo n'okugumiikiriza kwo, nga bw'otosobola kuginya babi, abo abaali beeyita abatume sso nga si bwe bali, wabula nga wabageza n'obasanga nga balimba;
3
mmanyi ng'ogumiikiriza, ng'okwatiriddeko olw'okubeera erinnya lyange era tonnakoowa.
4
Sso nnina kye nkuvunaana: Okwagala kwe walina mu masooka wakuleka.
5
Kale nno jjukira gye wava okugwa, weenenye; okole ebyo bye wakolanga olubereberye. Bw'oteenenye, nzija kujja gy'oli, nzigye ekikondo ekyo eky'ettawaaza mu kifo kyakyo, wabula mpozzi nga weenenyezza.
6
Kyokka oliko kino kimu: Wakyawa ebikolwa by'abagoberezi ba Nikolawo, nange bye nkyawa.
7
Alina okutu, awulire Mwoyo by'agamba Ekleziya. Aliba awangudde, ndimuwa okulya ku muti ogw'obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda ey'okwesiima.’
8
“Ne malayika w'Ekleziya mu Simiruna muwandiikire nti: ‘Bw'ati bw'agamba Omubereberye ate ow'Oluvannyuma, eyali afudde ate n'addamu obulamu, nti:
9
Mmanyi ennaku zo n'obwavu bwo, sso oli mugagga; mmanyi abeeyita Abayudaaya sso nga si bwe bali, wabula sinaagooga ya Sitaani.
10
Ebibonoobono ebigenda okukugwira tobitya. Abamu mu mmwe Sitaani wuuyo ajja okubasuula mu kkomera, mugezebwe; mujja kubonaabona okumala ennaku kkumi. Ba mwesigwa okutuusa okufa, olwo ndikuwa engule ey'obulamu.
11
Alina okutu, awulire Mwoyo by'agamba Ekleziya. Aliba awangudde, okufa okwokubiri tekulimukolako kabi.’
12
“Ne malayika w'Ekleziya mu Perugamo muwandiikire nti: ‘Bwati bw'agamba oyo alina ekitala ekyogi ku njuuyi zombi, nti:
13
Mmanyi nga gy'osula nnamulondo ya Sitaani gy'eri; teweegaana kukkiriza kwo ne luli mu nnaku z'omujulirwa wange Antipa, musajja wange omwesigwa, eyattirwa eyo ewammwe, eyo Sitaani gy'asula.
14
Sso nninayo obutonotono bwe nkuvunaana: Olinayo eyo abakwata enjigiriza ya Balaamu eyayigiriza Balaki okusuula Abayisirayeli mu kyesittazo balye ebiwonge bakole n'obwenzi.
15
Naawe era olinayo abakwata enjigiriza ya Nikolawo.
16
Gira nno naawe weenenye. Bw'otookole otyo, nzija kujja gy'oli mbalwanyise n'ekitala eky'akamwa kange.
17
Alina okutu, awulire Mwoyo by'agamba Ekleziya. Aliba awangudde, ndimuwa manu enkusike, ndimuwa n'akayinja akeeru akawandiikiddwako erinnya eriggya eritalina mulala alimanyi wabula oyo yekka akafunye.’
18
“Ne malayika w'Ekleziya mu Tiyatira muwandiikire nti: ‘Bw'ati bw'agamba Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'olulimi lw'omuliro n'ebigere bye ebiri ng'ekyuma eky'ekikomo ekizigule, nti:
19
Mmanyi by'okola, okwagala kwo, okukkiriza kwo n'obugumiikiriza bwo; ate by'okola ennaku zino bisingako obulungi ku byasooka.
20
Kyokka nnina kino kye nkuvunaana: waleka omukazi Yezebeli, eyeeyita omulanzi, n'ayigiriza era n'awubisa abaweereza bange, ne bakola obwenzi n'okulya ebiwongeddwa balubaale.
21
Namuwa obudde obw'okweddamu, naye tayagala kwenenya bwenzi bwe.
22
Kale nno nzija kumuteeka ku ndiri; abo abaayenda naye nzija kubalabya ennaku ez'ekitalo, mpozzi nga beenenyezza ebikolwa bye.
23
N'abaana be nzija kubatta n'olumbe; Ekleziya zonna olwo zinaategeera nga nze wuuyo eyeekenneenya emmeeme n'omutima, nga buli omu nzija kumuwa nga ngerera ku by'akoze.
24
Naye mmwe abalala mwenna abali mu Tiyatira, abatagoberera njigiriza, abataamanya bye bagamba nti bikisiddwa nnyo bya Sitaani, sijja kubongerako mugugu mulala.
25
Kyokka kye mulina ekyo mukinyweze okutuka lwe ndijja.
26
Aliba awangudde, n'anywerera ku bikolwa byange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza obw'okufuga amawanga.
27
Alibafuga ne ddamula ow'ekyuma, n'abaasaayasa ng'ayasa ebibya eby'ebbumba, nga nange bwe nafuna bwe ntyo obuyinza okuva ewa Kitange;
28
ndimuwa emmunyeenye ey'oku makya.
29
Alina okutu, awulire Mwoyo ky'agamba Ekleziya.’
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22