bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 1
1 Kings 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 2 →
1
Awo kabaka yali akaddiye nnyo ng'akootakoota; ne bamubikkangako engoye naye era n'atabuguma.
2
Abaddu be kyebaava bamugamba nti Mukama wange kabaka katukunoonyeze omuwala omuto embeerera ayimirirenga mu maaso go akuweereze; era agalamirenga mu kifuba kyo, mukama wange kabaka obugumenga.
3
Awo ne banoonya mu nsi yonna eya Isiraeri, ne bazuula Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka.
4
Omuwala yali mulungi nnyo; n'aweerezanga kabaka n'amujjanjabanga; naye kabaka n'ategatta naye.
5
Awo Adoniya mutabani wa Kaggisi ne yeekulumbaza n'ayogera nti Nze ndiba kabaka: ne yeetegekera amagaali n'abeebagala embalaasi, n'abasajja ataano (50) okumukulemberangamu.
6
Kitaawe n'atamunenyako n'akatono wadde okumubuuza ekimukozezza bw'atyo. Adoniya yali musajja mulungi nnyo; era ye yaddanga ku Abusaalomu.
7
N'ateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ne Abiyasaali kabona okumuwagira, era ne bamuyamba.
8
Wabula Zadoki kabona ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ne Nasani nnabbi ne Simeeyi ne Leeyi n'abasajja ab'amaanyi aba Dawudi bo tebaamuwagira.
9
Adoniya n'atta endiga n'ente n'ebya ssava awali ejjinja Zokeresi eririraanye e Enerogeri: n'ayita baganda be bonna abaana ba kabaka, n'abasajja ba Yuda bonna abaddu ba kabaka:
10
naye Nasani nnabbi ne Benaya n'abasajja ab'amaanyi ne Sulemaani muganda we n'atabayita.
11
Awo Nasani n'agamba Basuseba nnyina Sulemaani ng'amubuuza nti Owulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi bw'alidde obwakabaka nga Dawudi mukama waffe nga takimanyi?
12
Kale nkwegayiridde, jjangu nkuwe amagezi, owonye obulamu bwo ggwe n'obulamu bwa mutabani wo Sulemaani.
13
Genda eri kabaka Dawudi, omubuuze nti Mukama wange, ayi kabaka, tewandayirira nze muzaana wo nti mutabani wange Sulemaani yalirya obwakabaka ggwe ng'ovuddewo era nga yalituula ku ntebe yo? Kale ate Adoniya afuna atya obwakabaka?
14
Awo bw'onooba ng'okyayogera nange wennayingirira ne nnyweza ebigambo byo.
15
Awo Basuseba n'ayingira eri kabaka mu kisenge: kabaka yali akaddiye nnyo; nga Abisaagi Omusunammu nga yamuweereza.
16
Awo Basuseba n'akutama n'avuunamira kabaka. Kabaka n'amubuuza nti Oyagala ki?
17
Basuseba n'addamu nti Mukama wange nze omuzaana wo, wandayirira nti mutabani wange Sulemaani yalikusikira, era nga yalituula ku ntebe yo ey'obwakabaka.
18
Naye kaakano Adoniya y'afuuse kabaka naawe mukama wange nga tomanyi:
19
era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu omukulu w'eggye: naye Sulemaani omuddu wo tamuyise.
20
Naawe, mukama wange kabaka, aba Isiraeri bakutunulidde ggwe obabuulire ow'okukusikira ku bwakabaka ng'ovuddewo.
21
Bw'otookole bw'otyo, awo olulituuka, mukama wange kabaka bw'alyebakira awamu ne bajjajjaabe, nze ne mutabani wange Sulemaani tuliyitibwa balimba.
22
Kale, laba, bwe yali akyayogera ne kabaka, Nasani nnabbi n'ayingira.
23
Ne babuulira kabaka nti Laba, Nasani nnabbi azze. Awo bwe yayingira mu maaso ga kabaka, n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.
24
Nasani n'abuuza kabaka nti Ayi Mukama wange, kabaka, ggwe wagamba nti Adoniya yalirya obwakabaka ng'ovuddewo era nga yalituula ku ntebe yo?
25
Kubanga aserengese leero, era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n'abakulu b'eggye ne Abiyasaali kabona; era, laba, balya era banywera mu maaso ge, nga boogera nti Kabaka Adoniya awangaale.
26
Naye nze, nze omuddu wo, ne Zadoki kabona ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'omuddu wo Sulemaani tatuyise.
27
Mukama wange kabaka gw'okoze ekigambo ekyo nga totegeezezza na ku baddu bo alikusikira ng'ovuddewo?
28
Awo kabaka Dawudi n'addamu n'agamba nti Mpitira Basuseba n'ajja n'ayimirira mu maaso ga kabaka.
29
Kabaka n'alayira n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyanunula emmeeme yange okugiggya mu kabi konna,
30
mazima nga bwe nnakulayirira Mukama, Katonda wa Isiraeri, nga njogera nti Sulemaani mutabani wo ye alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange mu kifo kyange; mazima bwe ntyo bwe nkulayirira ne leero.
31
Awo Basuseba ne yeeyanza ng'ayogera nti Mukama wange kabaka Dawudi awangaale.
32
Kabaka Dawudi n'ayogera nti Mpitira Zadoki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada; ne bajja mu maaso ga kabaka.
33
Kabaka n'abagamba nti Mutwale wamu nammwe abaddu ba mukama wammwe, mwebagaze Sulemaani mutabani wange ennyumbu yange nze, mumuserengese e Gikoni:
34
kale Zadoki kabona ne Nasani nnabbi bamufukireko eyo amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: mufuuwe ekkondeere mulangirire nti Kabaka Sulemaani awangaale.
35
Mulyoke mukomewo nga mumugoberera mu mutuuze ku ntebe yange abeere kabaka mu kifo kyange: era mmutaddewo okuba omufuzi wa Isiraeri ne Yuda.
36
Benaya mutabani wa Yekoyaada n'addamu kabaka n'ayogera nti Amiina: Mukama, Katonda wa mukama wange kabaka, akikakase.
37
Nga Mukama bwe yabanga ne mukama wange kabaka, era abeerenga ne Sulemaani, afuule entebe ye enkulu okusinga entebe ya mukama wange kabaka Dawudi.
38
Awo Zadoki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi ne baserengeta ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya kabaka Dawudi ne bamuleeta e Gikoni.
39
Awo Zadoki kabona n'aggya ejjembe ery'amafuta mu Weema, n'afuka amafuta ku Sulemaani. Ne bafuuwa ekkondeere; abantu bonna ne boogera nti Kabaka Sulemaani abeere omulamu.
40
Abantu bonna ne bambuka okumugoberera, abantu ne bafuuwa endere, ne basanyuka essanyu lingi, ettaka n'okwatika ne lyatika olw'oluyoogaano lwabwe.
41
Adoniya n'abagenyi bonna abaali naye ne baluwulira bwe baali nga bamala okulya. Awo Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly'ekkondeere, n'abuuza nti Okuyoogaana okwo kwonna mu kibuga kwaki?
42
Bwe yali ng'akyabuuza, Yonasaani mutabani wa Abiyasaali kabona n'ajja: Adoniya n'ayogera nti Yingira; kubanga oli musajja mulungi, era oleese ebigambo ebirungi.
43
Yonasaani n'addamu n'agamba Adoniya nti Mazima mukama waffe kabaka Dawudi afudde Sulemaani kabaka:
44
era kabaka atumye naye Zadoki kabona ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n'Abakeresi n'Abaperesi, era amwebagaza ku nnyumbu ya kabaka:
45
era Zadoki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni: era bambuse okuvaayo nga basanyuka n'okuwuuma ekibuga ne kiwuumira ddala. Eryo lye ddoboozi lye muwulidde.
46
Era Sulemaani atudde ku ntebe y'obwakabaka.
47
Era nate abaddu ba kabaka bazze okusabira mukama waffe kabaka Dawudi nga boogera nti Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani eddungi okusinga erinnya lyo, era afuule entebe ye enkulu okusinga entebe yo: kabaka n'akutamira ku kitanda kye n'asinza nti,
48
Mukama, Katonda wa Isiraeri yeebazibwe, ataddewo olwaleero ow'okutuula ku ntebe yange ey'obwakabaka, era n'anzikiriza okuba omulamu okulaba ekyo.
49
Awo abagenyi ba Adoniya bonna be yayita ne batya, ne basituka, ne bagenda buli omu n'akwata lirye.
50
Adoniya olw'okutya ennyo Sulemaani n'asituka n'agenda ne yeekwata ku mayembe ag'ekyoto.
51
Ne babuulira Sulemaani nti Adoniya akutidde, ayi kabaka Sulemaani, era wuuli yekutte ku mayembe ag'ekyoto, ng'ayogera nti Kabaka Sulemaani andayirire olwaleero nga tajja kunzita nze omuweereza we.
52
Sulemaani n'agamba nti Bw'aneeyisa obulungi, tewali wadde oluviiri lwe olumu olunagibwa ku mutwe gwe. Kyokka bw'ali zuulibwa nga yeeyisa bubi, olwo alittibwa.
53
Awo kabaka Sulemaani n'atuma, ne baggya Adoniya ku kyoto. Adoniya n'ajja n'avuunamira kabaka Sulemaani. Sulemaani n'amugamba nti Genda ewuwo.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22