bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 3
1 Kings 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 4 →
1
Awo Sulemaani n'afuuka mukoddomi wa Falaawo kabaka w'e Misiri bwe yawasa muwala we, n'amuteeka mu kibuga kya Dawudi, okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye ye, n'ennyumba ya Mukama, ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi.
2
Okutuusa mu biro ebyo, abantu baweerangayo ssaddaaka mu bifo ebigulumivu, kubanga waali tewanaba kuzimbibwawo nnyumba ya kusinzizaangaamu Mukama.
3
Sulemaani yayagala Mukama, ng'atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe: kyokka, naye yaweerangayo ssaddaaka era yanyokerezanga obubaane mu bifo ebigulumivu.
4
Awo kabaka n'agenda e Gibyoni okuwaayo ssaddaaka; kubanga ekyo kye kyali ekifo ekigulumivu ekikulu: n'aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezokebwa lukumi.
5
Mukama n'alabikira Sulemaani e Gibyoni mu kirooto ekiro: Katonda n'amugamba nti Saba kye mba nkuwa.
6
Sulemaani n'ayogera nti Wamukola bulungi nnyo omuddu wo Dawudi kitange, nga bwe yatambula mu maaso go mu mazima ne mu butuukirivu ne mu bugolokofu bw'omutima wamu naawe; era wamuterekera ekisa kino ekinene kubanga omuwadde omwana ow'okutuula ku ntebe ye, nga bwe kiri leero.
7
Era kaakano, ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo kabaka mu kifo kya Dawudi kitange: nange ndi mwana muto: simanyi kufuluma newakubadde okuyingira.
8
Era omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga eddene, ery'abantu abangi abatayinza kubalika.
9
Kale muwe omuddu wo omutima omutegeevu okusalanga emisango gy'abantu bo, njawulemu ebirungi n'ebibi: kubanga ani ayinza okusala emisango gy'eggwanga lyo lino ekkulu?
10
Awo ebigambo ebyo ne bisanyusa Mukama, kubanga Sulemaani asabye ekyo.
11
Katonda n'amugamba nti Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala; teweesabidde bugagga, so teweesabidde bulamu bwa balabe bo: naye weesabidde amagezi okusalanga emisango:
12
Kale, nkoze ng'ekigambo kyo bwe kiri: nkuwadde amagezi n'okutegeera; obutabaawo akwenkana abo abakusooka era ne mu abo abalikuddirira.
13
Era nkuwadde n'ebyo by'otosabye, obugagga n'ekitiibwa, obutabangawo kabaka mulala yenna akwenkana ennaku zonna ez'obulamu bwo.
14
Era bw'onootambuliranga mu makubo gange, okukwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yatambula, awo ndyongera ku nnaku zo.
15
Awo Sulemaani n'azuukuka n'amanya nga kibadde kirooto: n'ajja e Yerusaalemi n'ayimirira mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'awaayo ebiweebwayo eby'emirembe, n'afumbira abaddu be bonna embaga.
16
Awo lwali lumu, abakazi ababiri abenzi ne bagenda mu maaso ga kabaka ne bayimirira mu maaso ge.
17
Omu ku bo n'ayogera nti Ayi mukama wange, nze n'omukazi ono tusula mu nnyumba emu; olwali olwo n'azaala omwana, olwali olwo nange nenzaala omwana nga ndi wamu naye mu nnyumba omwo.
18
Awo olwatuuka nga nnaakamaze ennaku ssatu okuzaala, omukazi ono n'azaala naye; era twali wamu; tewaali mugenyi wamu naffe mu nnyumba, wabula ffe ffembi mu nnyumba.
19
Awo omwana w'omukazi ono n'afa ekiro; kubanga yamwebakira.
20
Awo mu ttumbi n'agolokoka n'aggya omwana wange mu mbiriizi zange, nga neebase, n'amuteeka mu kifuba kye, n'addira owuwe afudde n'amuteeka mu kifuba kyange.
21
Awo bwe n'agolokoka enkya okuyonsa omwana wange, nnendaba ng'afudde naye bwe nneetegereza nnendaba nga si ye mwana wange gwe nnazaala.
22
Omukazi oli omulala n'agamba nti Nedda, omwana omulamu ye wange, omufu ye wuwo. N'ono n'agamba nti Nedda, omufu ye mwana wo, omulamu ye mwana wange. Ne bakaayana bwe batyo mu maaso ga kabaka.
23
Awo kabaka n'ayogera nti Omu agamba nti Omwana omulamu ye wange, n'omufu ye mwana wo: n'omulala agamba nti Omu ye wa munne, omulamu ye wuwe.
24
Awo kabaka n'ayogera nti Mundeetere ekitala. Ne bakireeta.
25
Awo kabaka n'agamba nti Musaleemu omwana omulamu, omu mumuweko ekitundu n'omulala ekitundu.
26
Awo nnyina w'omwana omulamu omwoyo ne gumulumira omwana we, n'agamba kabaka nti Mukama wange, omwana temumutta. Mumuwe munnange. Naye omukazi oli omulala n'agamba nti Temubaako n'omu kuffe gwe mumuwa, mumusalemu.
27
Awo kabaka n'agamba nti Omwana temumutta, mumuwe omukazi eyasoose, ye nnyina.
28
Isiraeri yenna n'awulira nga kabaka bwasaze omusango ogwo; ne batya kabaka ne bategeera nga Katonda yali amuwadde amagezi ag'okusalanga emisango.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22