bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 21
1 Kings 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 22 →
1
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo waaliwo omusajja Nabosi Omuyezuleeri eyalina olusuku olw'emizabbibu mu Yezuleeri olwali okumpi n'olubiri lwa kabaka Akabu ow'e Samaliya.
2
Awo Akabu n'agamba Nabosi nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu mbeere nalwo okuba olusuku lw'enva, kubanga luli kumpi n'ennyumba yange; nange ndikuwa mu kifo kyalwo olusuku olw'emizabbibu olusinga obulungi: oba bw'onoosiima, ndikuwa ebintu ng'omuwendo gwalwo bwe guli.
3
Awo Nabosi n'agamba nti Akabu nti Kikafuuwe nze okukuwa obusika bwa bajjajjange.
4
Awo Akabu n'ayingira mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize olw'ekigambo Nabosi Omuyezuleeri ky'amugambye: kubanga yagamba nti Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange. Akabu n'agalamira ku kitanda kye nga atunuulidde ekisenge, n'agaana okulya emmere.
5
Mukazi we Yezeberi n'ajja gy'ali, n'amubuuza nti Kiki ekinakuwazizza obwenkanidde awo, n'otuuka n'obutalya mmere?
6
N'amugamba nti Kubanga njogedde ne Nabosi Omuyezuleeri ne mmugamba nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu olw'ebintu; oba bw'onoosiima, ndikuwa olusuku olw'emizabbibu olulala mu kifo kyalwo: n'addamu nti Sijja kukuwa lusuku lwange olw'emizabbibu.
7
Yezeberi mukazi we n'amugamba nti Ggwe ofuga nno obwakabaka bwa Isiraeri! situka olye emmere, omutima gwo gusanyuke: nze nja kukuwa olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri.
8
Awo Yezeberi n'awandiika ebbaluwa mu linnya lya Akabu, n'azissaako akabonero ka kabaka, n'aweereza ebbaluwa abakadde n'abakungu abaali mu kibuga Nabosi mwabeera.
9
N'awandiika mu bbaluwa ng'ayogera nti Mulangirire okusiiba, mumuteeke Nabosi mu kifo eky'okumwanjo!
10
muleete abasajja babiri abataliimu nsa, bamulumirize nti Wakolimira Katonda ne kabaka. Mulyoke mumuggyewo, mumukube amayinja afe.
11
Awo abantu b'omu kibuga Yezuleeri, abakadde n'abakungu abaabeera mu kibuga kye ne bakola nga Yezeberi bw'abatumidde, nga bwe kyawandiikibwa mu bbaluwa ze yabaweereza.
12
Awo ne balangirira okusiiba, ne bateeka Nabosi mu kifo eky'okumwanjo.
13
Awo abasajja ababiri abataliimu nsa ne bayingira ne batuula mu maaso ga Nabosi, ne bamulumiriza mu maaso g'abantu nga bagamba nti Nabosi yakolimira Katonda ne kabaka. Awo ne bamuggya mu kibuga, ne bamukuba amayinja n'afa.
14
Awo ne batumira Yezeberi nga boogera nti Nabosi akubiddwa amayinja era afudde.
15
Awo olwatuuka Yezeberi bwe yawuliranga Nabosi akubiddwa amayinja, era ng'afudde, Yezeberi n'agamba Akabu nti Situka otwale olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri lwe yagaana okukuguza: kubanga Nabosi takyali mulamu naye afudde.
16
Awo olwatuuka Akabu bwe yawulira Nabosi ng'afudde, n'asituka n'agenda mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri alwetwalire.
17
Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera nti
18
Situka oserengete okusisinkana ne Akabu kabaka wa Isiraeri atuula mu Samaliya: laba, ali mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi gy'aserengese okulutwala.
19
Era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Osse era olidde? Era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mu kifo embwa mwe zirikombera omusaayi ogugwo gwe.
20
Awo Akabu n'agamba Eriya nti Ongwikirizza, ggwe omulabe wange? Eriya n'addamu nti Nkugwikirizza. Kubanga weewaddeyo okukola ebiri mu maaso ga Mukama ebibi,
21
kale kaakano Mukama akugamba nti Nja kukutuusaako akabi, nkusaanyizeewo ddala ggwe Akabu. Era ndimalawo mu Isiraeri buli mwana wo ow'obulenzi omuto n'omukulu.
22
era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati n'okufaanana ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya olw'okusunguwaza kwe wansunguwaza n'oyonoonyesa Isiraeri.
23
Era Mukama n'ayogera ne ku Yezeberi nti Embwa ziririira Yezeberi okumpi ne bbugwe we kibuga Yezuleeri.
24
Ow'omu nnyumba ya Akabu anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'oyo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga.
25
Tewali yenkana Akabu okwewaayo okukola ebibi mu maaso ga Mukama, nga mukazi we Yezeberi amupikiriza.
26
Akabu n'akolanga eby'emizizo ennyo ng'asinza ebifaananyi byonna, nga Abamoli Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri bwe baakolanga.
27
Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'eyesiba ebibukutu ku mubiri gwe. N'atalya mmere, n'asula mu bibukutu, n'atambula mpola ng'anakuwadde ng'agenda.
28
Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera nti
29
Olabye Akabu bwe yeetoowazizza mu maaso gange? Kubanga yeetoowaza mu maaso gange, sirireeta kabi ako ku mirembe gye: naye ku mirembe gya mutabani we bwe ndireeta akabi ako ku nnyumba ye.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22