bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 18
1 Kings 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 19 →
1
Awo bwe wayitawo ennaku nnyingi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira Eriya mu mwaka ogwokusatu nga kyogera nti Genda weerage eri Akabu; nange nditonnyesa enkuba ku nsi.
2
Awo Eriya n'agenda okweraga eri Akabu. Era enjala yali ennyinyikidde nnyo mu Samaliya.
3
Akabu n'ayita Obadiya eyali omukulu w'olubiri. Omusajja ng'atya nnyo Mukama:
4
kubanga olwatuuka Yezeberi bwe yamalawo bannabbi ba Mukama, Obadiya n'addira bannabbi kikumi (100) n'abakweka mu mpuku ataano ataano, n'abaliisanga n'emigaati n'amazzi.
5
Awo Akabu n'agamba Obadiya nti Genda otuuke ku nzizi zonna n'obugga bwonna: oboolyawo tulizuula omuddo ne tuwonya embalaasi n'ennyumbu okufa tuleme okufiirwa ensolo zonna.
6
Awo ne bagabana ensi bombi okugibuna: Akabu n'akwata ekkubo erirye, ne Obadiya n'akwata erirye.
7
Awo Obadiya bwe yali mu kkubo ng'atambula, Eriya n'amusisinkana. Obadiya n'amutegeera, n'avuunama n'abuuza nti Ggwe wuuyo, mukama wange Eriya?
8
N'addamu nti Nze nzuuno: genda obuulire mukama wo nti Laba, Eriya ali wano.
9
Obadiya n'amugamba nti Nsobezza ki kyova oyagala okuwaayo omuddu wo mu mukono gwa Akabu okunzita?
10
Mu mazima ga Mukama Katonda wo, tewali ggwanga wadde obwakabaka mukama wange gy'ataatuma okukunoonya. Era bwe baagambanga nti Tali wano, n'alayiza ab'obwakabaka obwo oba ab'eggwanga eryo bakakase nga tebaakulabye.
11
Kale kaakano oŋŋambye nti ŋŋende mbuulire mukama wange nti Eriya ali wano.
12
Naye nnaba nnaakava w'oli, Mwoyo wa Mukama n'akutwala gye simanyi! Olwo bwe n'atuuka ne ntegeeza Akabu n'atayinza ku kulaba, ajja kunzita, sso nga nze omuweereza wo, nzisaamu Mukama ekitiibwa okuviira ddala mu buto bwange.
13
Mukama wange, teebakubuulira kyennakola, Yezeberi bwe yali nga atta bannabbi ba Mukama, bwe nnakweka abasajja kikumi (100) ku bannabbi abo, ataano ataano mu mpuku, ne mbaliisizzanga eyo emigaati n'amazzi?
14
Kaakano oŋŋamba nti Genda otegeeze mukama wo nti Eriya ali wano: kale ajja kunzitta!
15
Awo Eriya n'ayogera nti Nga Mukama ow'eggye bw'ali omulamu, gw'empeereza, siireme kweraga gyali leero.
16
Awo Obadiya n'agenda okusisinkana Akabu n'amubuulira: Akabu n'agenda okusisinkana Eriya.
17
Awo olwatuuka Akabu bwe yalaba Eriya, Akabu n'amubuuza nti Ggwe wuuyo, ggwe ateganya Isiraeri?
18
Eriya n'amuddamu nti Sinze nteganya Isiraeri; naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo, kubanga mwaleka ebiragiro bya Mukama, gwe n'osinza Baali.
19
Kale kaakano tumira Abaisiraeri bonna, bakuŋŋaanire we ndi ku lusozi Kalumeeri, n'abalaguzi Babaali ebina mu ataano (450), n'aba Asera ebina (400), abaliira ku mmeeza ya Yezeberi.
20
Awo Akabu n'atumira abaana ba Isiraeri bonna n'akuŋŋaanyiza bannabbi ab'oku lusozi Kalumeeri.
21
Awo Eriya n'asemberera abantu bonna, n'ayogera nti Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, mumugoberere: naye oba Baali, kale mumugoberere ye. Abantu ne batamuddamu kigambo.
22
Awo Eriya n'agamba abantu nti Nze nzekka nze nsigaddewo nnabbi wa Mukama; naye bannabbi Babaali bali abasajja bina mu ataano (450).
23
Kale batuwe ente bbiri; baalondeko ente emu okuba eyaabwe, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, so tebateeka muliro wansi: nange naalongoosa ente eyokubiri, ne ngiteeka ku nku, ne siteeka muliro wansi.
24
Kale bannabbi Babaali mwegayirire katonda wammwe, nange nja kwegayirira erinnya lya Mukama: kale Katonda anaddamu n'omuliro oyo abe Katonda. Awo abantu ne baddamu ne boogera nti Oyogedde bulungi.
25
Awo Eriya n'agamba bannabbi Babaali nti Mulondeeko ente eyammwe, musooke okugirongoosa; kubanga muli bangi; mwegayirire katonda wammwe, naye temuteeka muliro wansi.
26
Ne baddira ente gye baaweebwa, ne bagirongoosa, ne beegayirira Baali okuva enkya okutuusa ettuntu, nga boogera nti Ayi Baali, tuwulire. Naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu. Ne babuukirabukira awali ekyoto kye baakola.
27
Awo olwatuuka mu ttuntu Eriya n'abaduulira ng'abagamba nti Mwogerere waggulu: kubanga katonda; oba afumiitiriza oba agenze kwetewuluzaako, oba ali mu lugendo oba mpozzi yeebase nga kyetaagisa okumuzuukusa.
28
Ne boogerera waggulu ne beesala n'obwambe n'amafumu ng'engeri yaabwe bwe yali okutuusa omusaayi lwe gwakulukutira ku bo.
29
Awo olwatuuka ettuntu bwe lyali limenyese, ne balekanira waggulu nga abalalu okutuusa ekiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi; naye ne wataba ddoboozi newakubadde addamu n'omu newakubadde assaayo omwoyo.
30
Awo Eriya n'agamba abantu bonna nti Munsemberere; abantu bonna ne bamusemberera. N'addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kimenyesemenyese.
31
Awo Eriya n'addira amayinja kkumi n'abiri (12) ng'omuwendo bwe guli ogw'ebika by'abaana ba Yakobo eyajjirwa ekigambo kya Mukama nga kyogera nti Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo.
32
N'azimba amayinja okuba ekyoto mu linnya lya Mukama, n'asima olusalosalo okwetooloola ekyoto, obunene bwalwo olugyamu ebigero bibiri eby'ensigo.
33
N'atindikira enku, n'atemaatema ente, n'agiteeka ku nku. N'abagamba nti mujjuze amapipa ana (4) amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ekyokebwa ne ku nku.
34
Awo n'abagamba nti Mukole bwe mutyo omulundi ogwokubiri; ne bakola bwe batyo omulundi ogwokubiri. N'ayogera nti Mukole bwe mutyo omulundi ogwokusatu; ne bakola bwe batyo omulundi ogwokusatu.
35
Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto; negajjuza n'olusalosalo.
36
Awo olwatuuka mu kiseera eky'okuwaayo ekitone eky'akawungeezi Eriya nnabbi n'asembera n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isiraeri, kitegeerebwe leero nga ggwe Katonda mu Isiraeri, era nga nze ndi muddu wo, era nga nkoze bino byonna lwa kigambo kyo.
37
Mpulira, ayi Mukama, mpulira, abantu bano bamanye nga ggwe Mukama, ggwe Katonda, era ng'okyusizza emitima gyabwe okugizza gyoli.
38
Awo omuliro gwa Mukama ne gugwa ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa n'enku n'amayinja n'enfuufu, ne gukombera ddala amazzi agaali mu lusalosalo.
39
Awo abantu bonna bwe baakiraba ne bavuunama: ne boogera nti Mukama ye Katonda; Mukama ye Katonda.
40
Awo Eriya n'abagamba nti Mukwate bannabbi Babaali: waleme okuwona n'omu. Ne babakwata: Eriya n'abaserengesa eri akagga Kisoni n'abattira eyo.
41
Awo Eriya n'agamba Akabu nti Situka olye onywe; kubanga waliwo okuwuuma kw'enkuba nnyingi.
42
Akabu n'agenda okulya n'okunywa. Eriya n'ayambuka ku ntikko y'Olusozi Kalumeeri, n'avuunama ku ttaka, n'ateeka amaaso ge wakati w'amaviivi ge.
43
N'agamba omuddu we nti Yambuka nno olengere awali ennyanja. N'alinnya n'alengera n'ayogera nti Tewali kintu. N'ayogera nti Ddayo nate emirundi musanvu.
44
Awo olwatuuka omulundi ogw'omusanvu n'ayogera nti Laba, ekire kirinnya nga kiva mu nnyanja ekiri ng'omukono gw'omuntu obutono. N'ayogera nti Yambuka ogambe Akabu nti Teekateeka eggaali lyo, oserengete, enkuba ereme okukuziyiza.
45
Awo olwatuuka ekiseera kitono bwe kyayitawo, eggulu ne libindabinda, embuyaga ne kkunta, enkuba nnyingi n'ettonya. Akabu n'alinnya mu ggaali n'agenda e Yezuleeri.
46
Mukama n'awa Eriya amaanyi ag'enjawulo, ne yeesiba ekimyu n'adduka ng'akulembeddemu Akabu okutuuka awayingirirwa e Yezuleeri.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22