bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 6
1 Kings 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 7 →
1
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ebina mw'ekinaana (480) abaana ba Isiraeri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, mu mwaka ogwokuna Sulemaani kasookedde afuga Isiraeri, mu mwezi Zivu gwe mwezi ogwokubiri, n'atandika okuzimba ennyumba ya Mukama.
2
Ennyumba kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama, obuwanvu bwayo bwali emikono nkaaga (60), n'obugazi bwayo emikono abiri (20), n'obugulumivu bwayo emikono asatu (30).
3
N'ekisasi ekyali mu maaso ga Yeekaalu ya Mukama, obuwanvu bwakyo bwali emikono abiri (20), ng'obugazi bwakyo bwali emikono kkumi (10).
4
N'akola mu nnyumba amadirisa ag'ebituli agataggulwa.
5
Ku kisenge eky'ebweru mu mbiriizi n'emabega w'ennyumba ya Mukama n'akokerako ekizimbe ekya kalina ssatu okugyetooloola:
6
enju eya wansi obugazi bwayo emikono etaano, n'eya wakati obugazi bwayo emikono mukaaga, n'ey'okusatu obugazi bwayo emikono musanvu: kubanga ku kisenge ky'ennyumba ebweru okwetooloola emiti yagisalako gireme kuyingira mu kisenge ky'ennyumba.
7
N'ennyumba bwe baali bagizimba yazimbibwa n'amayinja agalongoosezzebwa gye bagabajjira: so tewaali nnyondo newakubadde embazzi newakubadde ekintu kyonna eky'ekyuma ekyawulirwa mu nnyumba bwe baali bagizimba.
8
Oluggi oluyitibwamu okuyingira mu bisenge ebya wansi ebyazimbibwa ku mabbali ga Yeekaalu, lwali ku ludda olwa ddyo olwa Yeekaalu. Waaliwo amadaala ageenyoolanyoola agalinnyirwangako okugenda mu bisenge eby'omukalina esooka n'ey'okubiri.
9
Bw'atyo bwe yazimba ennyumba, n'agimala; ennyumba n'agibikkako emiti n'embaawo ez'emivule.
10
N'azimba ennyumba eya kalina ssatu okwetooloola Yeekaalu, buli kalina nga obugulumivu bwayo emikono etaano, nga ziyungiddwa ku Yeekaalu n'emiti egy'emivule.
11
Ekigambo kya Mukama ne kijjira Sulemaani nga kyogera
12
Ku bye nnyumba eno gy'ozimba, bw'onootambuliranga mu mateeka gange n'otuukiriza bye nnakukuutira, n'okwata ebiragiro byange byonna okubitambulirangamu: kale naanywezanga ekigambo kyange naawe, kye nnagamba Dawudi kitaawo.
13
Era nnaabeeranga mu baana ba Isiraeri, so sibalekenga.
14
Awo Sulemaani n'azimba ennyumba ya Mukama n'agimala.
15
N'azimba ebisenge by'ennyumba munda n'emiti gy'emivule; ate wansi n'ayaliirawo embaawo ez'emiberosi.
16
Munda wa Yeekaalu mu kitundu eky'emabega n'azimbayo ekisenge eky'embaawo ez'emivule okuva wansi okutuukira ddala waggulu, bw'atyo n'ayawula ku Yeekaalu ekifo kya mita mwenda obuwanvu n'obugazi, ekyo nga kye kifo Ekitukuvu Ennyo.
17
Mu maaso g'Ekifo ekitukuvu ennyo, ekitundu kya Yeekaalu ekisigaddeyo, obuwanvu bwayo bwali mikono ana (40).
18
Embaawo ze baabikka ku bisenge zaali zooleddwako ebifaananyi by'ekiryo, n'ebimuli ebyanjuluzza. Munda wonna ebisenge byali bibikkiddwako embaawo ez'emivule, ng'amayinja ge baazimbisa tegalabika.
19
Munda mu Yeekaalu, n'azimbamu ekifo ekitukuvu ennyo, eky'okutekangaamu Ssanduuko y'Endagaano ya Mukama.
20
Ekifo kino Ekitukuvu Ennyo kyali emikono abiri (20) obuwanvu, emikono abiri (20) obugazi, n'emikono abiri (20) obugulumivu, n'akibikkako zaabu omulongoose, ekyoto n'akibikkako embaawo ez'emivule.
21
Yeekaalu yonna munda nagibikako zaabu omulongoose, n'atimba emikuufu egya zaabu awayingirirwa mu kifo ekitukuvu ennyo, nga nakyo kibikkiddwako zaabu.
22
Yeekaalu yonna munda y'agibikkako zaabu okugibunya, wamu n'ekyoto ekyali mu kifo Ekitukuvu Ennyo.
23
Mu kifo Ekitukuvu Ennyo n'ateekamu bakerubi babiri ababagiddwa mu miti egy'emizeyituuni nga buli omu, obuwanvu bwe emikono kkumi (10).
24
N'ekiwawaatiro ekimu ekya kerubi kyali emikono etaano, n'ekiwawaatiro eky'okubiri ekya kerubi emikono etaano: ekiwawaatiro ekimu we kikoma, ne kinnaakyo we kikoma, ebbanga lyali emikono kkumi (10).
25
Ne kerubi ow'okubiri yali emikono kkumi (10), bakerubi bombi baali benkana era nga bafaanagana.
26
Kerubi omu obugulumivu bwe bwali emikono kkumi (10), n'obwa kerubi ow'okubiri bwe butyo.
27
N'ateeka bakerubi mu kifo Ekitukuvu Ennyo: n'ebiwawaatiro bya bakerubi byali bibambiddwa bwe bityo ekiwawaatiro ky'omu n'okukwata ne kikwata ku kisenge eruuyi; n'ebiwawaatiro byabwe ne bikwataganira wakati w'ennyumba.
28
Bakerubi n'ababikkako zaabu.
29
Sulemaani n'ayola ku bisenge by'Ekifo Ekitukuvu Ennyo n'ebya Yeekaalu yonna ebifaananyi ebya bakerubi, n'enkindu, n'ebimuli ebyanjuluzza.
30
Wansi mu Kifo ekitukuvu Ennyo ne mu Yeekaalu yonna n'abikkawo zaabu.
31
Mu mulyango oguyingira mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n'awangamu oluggi olw'omuti emizeyituuni, ng'omwango gwalwo gwa nsonda ttaano, omusongovu ku ludda olwa waggulu.
32
Ebiwayi by'oluggi olwo byombi n'abyolako ebifaananyi bya bakerubi, n'enkindu, n'ebimuli ebyanjuluzza, n'azibukkako zaabu, zo, ne bakerubi, n'enkindu.
33
Era n'akolera omulyango gwa wankaaki wa Yeekaalu, omwango ogw'omuti omuzeyituuni gwa nsonda nnya,
34
n'enzigi bbiri ez'omuti omuberosi nga buli lumu lwa biwayi bibiri, nga byombi biggulwa.
35
N'ayolako bakerubi n'enkindu n'ebimuli ebyanjuluzza, byonna ne bibikkibwako zaabu, nga bakola n'obwegendereza.
36
N'azimba oluggya olw'omunda n'embu ssatu ez'amayinja amabajje, n'olubu olw'emiti egy'emivule.
37
Ne bassaawo emisingi gy'ennyumba ya Mukama mu mwaka ogwokuna, mu mwezi Zivu.
38
Mu mwezi ogw'omunaana, gwe mwezi Buli, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogw'obufuzi bwa Sulemaani, ennyumba ya Mukama yonna ne ggwa okuzimbibwa, ng'entegeka yaalyo bwe yali. Sulemaani lyamutwalira emyaka musanvu okugizimba.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22