bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 10
1 Kings 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 11 →
1
Awo kabaka omukazi w'e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani; Mukama lye yamuwa, n'ajja okumukema n'ebibuuzo ebizibu.
2
Awo n'ajja e Yerusaalemi ng'alina abaddu bangi nnyo n'eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'ezaabu nnyingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi; awo bwe yajja eri Sulemaani, n'amubuuza ebyo byonna ebyali mu mutima gwe.
3
Sulemaani n'addamu byonna bye yamubuuza. Tewaali kintu na kimu kyakaluubirira Sulemaani kunnyonnyola.
4
Awo kabaka omukazi w'e Seeba bwe yamala okulaba amagezi gonna aga Sulemaani n'ennyumba gye yazimba,
5
n'emmere ey'oku mmeeza ye n'okutuula kw'abaddu be n'okuweereza kw'abaweereza be n'ebyambalo byabwe n'abasenero be n'olutindo lwe lwe yalinnyirangako okugenda mu Yeekaalu ya Mukama ne yeewuunya nnyo n'awuniikirira n'atasigalamu mwoyo.
6
N'agamba kabaka nti Ebigambo bye nnawulirira mu nsi yange, eby'ebikolwa byo n'amagezi go byali by'amazima.
7
Naye ssaabikkiriza, okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako na maaso gange. Ddala bye nawulira tebyenkana wadde ekimu eky'okubiri eky'ebyo bye ndabye. Amagezi go n'omukisa gwo bisinga ettutumo lye nnawulira.
8
Abasajja bo balina omukisa, abaddu bo bano balina omukisa, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira amagezi go.
9
Mukama Katonda wo yeebazibwe eyakusiima n'akufuula kabaka wa Isiraeri: kubanga Mukama yayagala Isiraeri emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka okukola eby'ensonga n'eby'obutuukirivu.
10
Awo kabaka omukazi ow'e Seeba n'awa kabaka Sulemaani zaabu talanta kikumi mu abiri (120), n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: tewaddayo nate kubaawo byakaloosa byenkana awo obungi ng'ebyo kabaka omukazi ow'e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani.
11
Era n'empingu ya Kiramu eyaleeta zaabu okuva e Ofiri, n'ereeta embaawo ez'emitoogo n'amayinja ag'omuwendo omungi.
12
Kabaka n'akozesa embaawo ezo okuzimba obukomera ku madaala ag'omu Yeekaalu n'ag'omu nnyumba ye. Era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Tewaddayo nate kuleetebwa mbaawo za mitoogo ziri ng'ezo, wadde okulabibwako mu Isiraeri n'okutuusa leero.
13
Awo ne kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, buli kye yasaba kyonna, obutassaako ebyo Sulemaani bye yamuwa olw'ekisa kye ekya kabaka. Awo kabaka omukazi ow'e Seeba n'addayo mu nsi ye n'abaddu be.
14
Era ezaabu kabaka Sulemaani gyeyafunanga mu mwaka ogumu, nga yenkana obuzito bwa talanta lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666),
15
nga tobaliddeeko oyo ow'omusolo ogusasulibwa abasuubuzi, n'empooza ku bitundibwa, n'oyo eyavanga mu bakabaka bonna ab'e Buwalabu, ne mu bafuzi b'ebitundu mu Isiraeri.
16
Kabaka Sulemaani n'aweesa engabo ennene bibiri (200) ezibikiddwako zaabu, nga buli ngabo ebikiddwako zaabu azitowa sekeri lukaaga (600).
17
N'akola engabo entono eza zaabu bisatu (300) nga buli ngabo ebikiddwako zaabu obuzito laateri satu: n'azitereka mu nnyumba eyitibwa ekibira kya Lebanooni.
18
Era kabaka n'akola entebe ey'obwakabaka ennene ya masanga n'agibikkako zaabu nnungi nnyo nnyini.
19
Entebe eyo yaliko amadaala mukaaga, era nga emabega awesigamwa nneekulungirivu waggulu; era yaliko awateekebwa emikono eruuyi n'eruuyi n'awatuulibwa, n'empologoma bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g'emikono.
20
Empologoma kkumi na bbiri (12) nga ziyimiridde eruuyi n'eruuyi ku buli ddaala ku madaala ago omukaaga, ku buli ddaala bbiri bbiri: tewaaliwo ntebe ya bwakabaka bwonna eyakolebwa nga efaanana nga eyo.
21
Era ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu nnyumba eyayitibwanga Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu ennongoose: tewaaliyo bya ffeeza; kubanga mu mirembe gya kabaka Sulemaani, feeza teyabalibwanga nga kintu eky'omuwendo.
22
Kabaka yalina ku nnyanja, empingu y'amaato eyagendanga e Talusiisi n'empingu ya Kiramu. Empingu eyo, buli myaka esatu yavanga e Talusiisi ng'ereeta zaabu ne ffeeza n'amasanga, n'enkobe n'ennyonyi muzinge.
23
Awo kabaka Sulemaani n'asinga bakabaka bonna ab'ensi obugagga n'amagezi.
24
Abantu bonna mu nsi yonna, ne bajjanga awali kabaka Sulemaani okwebuuza n'okuwulira amagezi ge, Katonda ge yamuwa.
25
Buli muntu ku abo abajjanga eri kabaka Sulemaani buli mwaka nnaaleetanga ebirabo, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebyambalo n'eby'okulwanyisa n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu.
26
Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagazi b'embalaasi. Yalina amagaali lukumi mu bina (1,400), n'abeebagazi b'embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), be yateeka mu bibuga ebikuumirwamu amagaali, ne mu Yerusaalemi, ye yennyini kabaka mwe yali.
27
Kabaka n'afuula ffeeza okuba ng'amayinja mu Yerusaalemi, n'emivule n'agifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu biwonvu olw'obungi.
28
Embalaasi Sulemaani ze yalina zaggibwa mu Misiri: abasuubuzi ba kabaka ne bazifunangayo mu bisibo, nga buli kisibo kirina omuwendo gwakyo.
29
Abasuubuzi ba kabaka Sulemaani baagulanga amagaali n'embalaasi okuva e Misiri; eggaali Sekeri lukaaga (600), embalasi Sekeri kikumi mu ataano (150). Bakabaka bonna ab'Abakiiti n'ab'Abasuuli bazigulanga ku basuubuzi ba Sulemaani abo.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22