bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 5
1 Kings 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 6 →
1
Awo Kiramu kabaka w'e Ttuulo bwe yawulira nga bafuse amafuta ku Sulemaani okuba kabaka mu kifo kya kitaawe: n'amutumira abaddu be kubanga ng'okuva edda Kiramu yali mukwano gwa Dawudi.
2
Sulemaani n'atumira Kiramu ng'ayogera
3
Omanyi Dawudi kitange nga teyayinza kuzimbira Mukama Katonda we Yeekaalu olw'entalo ezaamwetooloola enjuyi zonna, okutuusa Mukama lwe yamuwanguza abalabe be bonna.
4
Naye kaakano Mukama Katonda wange ampadde emirembe enjuyi zonna, tewali mulabe newakubadde akabi akajja.
5
Era, laba, nteesezza okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba, nga Mukama bwe yagamba Dawudi kitange nti Mutabani wo gwe nditeeka ku ntebe yo ng'adda mu bigere byo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba.
6
Kale nno lagira abaddu bo bantemere emivule egy'e Lebanooni; nga bakolera wamu n'abaddu bange. Abaddu nja kubawa empeera nga bw'onooyagala mbawe kubanga nga bw'omanyi eno ewaffe teri bamanyi kutema miti nga Abasidoni.
7
Awo olwatuuka Kiramu bwe yawulira ebigambo bya Sulemaani, n'asanyuka nnyo n'ayogera nti Mukama yeebazibwe leero awadde Dawudi omwana ow'amagezi okufuga eggwanga lino ekkulu.
8
Awo Kiramu n'atumira Sulemaani ng'ayogera nti Mpulidde byonna by'ontumidde eby'emiti egy'emivule n'emiti egy'emiberosi nja kukola byonna nga bw'oyagala.
9
Abaddu bange baligiggya e Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja: ndigisiba mu binywa ne giseyerera ku nnyanja okutuuka mu kifo ky'olindaga olwo ndiragira okugisumululira eyo ne bagikuwa. Nze kye njagala okole kwe kuwanga abantu emmere.
10
Awo Kiramu n'awa Sulemaani emiti gyonna egy'emivule n'emiberosi Sulemaani gye yayagala.
11
Buli mwaka Sulemaani n'awanga Kiramu ebigero by'eŋŋaano emitwalo ebiri (20,000) n'amafuta amalongoose ebigero abiri (20) okuliisanga abaddu be.
12
Mukama n'awa Sulemaani amagezi, nga bwe yamusuubiza; ne waba emirembe wakati wa Kiramu ne Sulemaani, bombi ne balagaana endagaano.
13
Kabaka Sulemaani n'alagira ne bakuŋŋaanya abasajja emitwalo esatu (30,000) okuva mu Isiraeri yenna.
14
N'abasindikanga mu mpalo e Lebanooni nga buli mwezi aweerezayo omutwalo gumu. Baamalanga e Lebanooni omwezi gumu ate ne baddayo ewaabwe emyezi ebiri. Adoniraamu ye yali omukulu w'abo bonna abakuŋŋanyizibwa.
15
Sulemaani yalina abasajja abaasitulanga emigugu emitwalo musanvu (70,000), abalala emitwalo munaana (80,000) be batemanga amayinja okuva ku nsozi;
16
obutassaako baami ba Sulemaani abakulu abaalabiriranga omulimu, enkumi ssatu mu bisatu (3,300), abaafuganga abantu abaakolanga omulimu.
17
Kabaka n'alagira okuleeta amayinja amanene ag'omuwendo ne bagateeka mu musingi gwamu n'amayinja amabajje.
18
Abazimbi ba Sulemaani n'aba Kiramu n'aba Gebali ne balongoosa amayinja ago ne bategeka n'emiti n'amayinja eby'okuzimba Yeekaalu.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22