bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 8
1 Kings 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 9 →
1
Awo Sulemaani n'akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri n'abakulembeze b'ebika byonna, n'abakulu b'ennyumba eza bajjajjaabwe eza Isiraeri, ne baggya eri kabaka Sulemaani e Yerusaalemi, okutwala essanduuko ya Mukama; nga bagiggya mu Sayuuni ekibuga kya Dawudi.
2
Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira awali kabaka Sulemaani ku mbaga, mu mwezi Esanimu, gwe mwezi ogw'omusanvu.
3
Abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, bakabona ne basitula essanduuko ey'endagaano.
4
Ne balinnyisa essanduuko ya Mukama, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyagirimu.
5
Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali baali wamu naye mu maaso g'essanduuko, nga bawaayo endiga n'ente ezitabalika.
6
Bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, ekifo ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.
7
Ebiwawaatiro bya bakerubi ebyanjuliziddwa, ne bibikka ku ssanduuko n'emisituliro gyayo.
8
Emisituliro egyo gyali miwanvu, ng'omuntu ayimiridde munda mu Yeekaalu, mu maaso g'ekifo ekitukuvu ennyo, asobola okulaba emissa gyagyo, naye nga tegisobola kulabika ng'oli awalala wonna mu Yeekaalu: era gye giri ne leero.
9
Temwali kintu kirala mu ssanduuko wabula ebipande byombi eby'amayinja Musa bye yateekamu ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n'abaana ba Isiraeri, bwe baava mu nsi y'e Misiri.
10
Awo olwatuuka bakabona bwe baamala okuva mu kifo ekitukuvu, ekire ne kijjuza Yeekaalu ya Mukama,
11
bakabona n'okuyinza ne batayinza kuyimirira okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama nga kijjuzizza Yeekaalu.
12
Awo Sulemaani n'agamba nti Mukama wagamba nti Onoobeeranga mu kizikiza ekikutte,
13
naye mazima nze nkuzimbidde Yeekaalu ey'okubeerangamu emirembe gyonna.
14
Awo kabaka n'akyukira ekibiina kyonna eky'Abaisiraeri abaali bayimiridde n'akisabira omukisa.
15
N'ayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isiraeri, eyayogera n'akamwa ke ne Dawudi kitange, n'okutuukiriza akituukirizza n'omukono gwe, ng'ayogera nti
16
Okuva ku lunaku lwe nnaggyirako abantu bange Isiraeri mu Misiri, seerobozanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri okuzimba Yeekaalu, erinnya lyange libeerenga omwo; naye nneeroboza Dawudi okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri.
17
Era kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri Yeekaalu.
18
Naye Mukama n'agamba Dawudi kitange nti Wakola bulungi okulowooza okuzimbira erinnya lyange Yeekaalu:
19
naye sigwe ojja okugizimba; wabula mutabani wo aliva mu ntumbwe zo, ye alizimbira erinnya lyange Yeekaalu.
20
Era Mukama atuukiriza kye yayogera; kubanga nze nnyimukidde mu kifo kya Dawudi kitange, nga ntudde ku ntebe ya Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri Yeekaalu.
21
Era ntadde mu ekifo eky'essanduuko, omuli endagaano ya Mukama, gye yalagaana ne bajjajjaffe, bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri.
22
Sulemaani n'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isiraeri nga weebali, n'ayanjuluza emikono gye eri eggulu:
23
n'ayogera nti Ayi Mukama, Katonda wa Isiraeri, tewali katonda afaanana ggwe, mu ggulu waggulu newakubadde wansi mu nsi; akuuma endagaano n'okusaasira eri abaddu bo, abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna:
24
eyakuuma ekyo kye wamusuubiza eri omuddu wo Dawudi kitange: weewaawo, kyewayogera n'okukituukiriza okituukirizza n'omukono gwo, nga bwe kiri leero.
25
Kale nno, ayi Mukama, Katonda wa Isiraeri, kuuma ekyo kye wasuubiza eri omuddu wo Dawudi kitange ng'oyogera nti Mu zadde lyo tewaabulengawo musajja ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri; kasita abaana bo baneegenderezanga ekkubo lyabwe, ne batambulira mu maaso gange, nga ggwe bwe watambuliranga mu maaso gange.
26
Kale nno, ai Katonda wa Isiraeri, ekigambo kyo kituukirizibwe, nkwegayiridde, kye wagamba omuddu wo Dawudi kitange.
27
Naye ddala Ayi Katonda oyinza okubeera ku nsi? Olaba ne mu ggulu erya waggulu togyaamu, kale onooggya otya mu Yeekaalu eno gye nzimbye!
28
Naye ssaayo omwoyo gwo eri okusaba kw'omuddu wo, n'eri okwegayirira kwe, ayi Mukama Katonda wange, owulire okukaaba n'okusaba omuddu wo kw'asabira mu maaso go leero;
29
amaaso go togagya ku Yeekaalu eno emisana n'ekiro, eri ekifo kye wayogerako nti Erinnya lyange linaabeeranga omwo: owulirenga byenakusabanga nze omuddu wo ng'atunuulidde Yeekaalu eno.
30
Era owulirenga bye nkusaba nze omuddu wo, era n'abantu bo Isiraeri, bye banaakusabanga nga batunuulidde ekifo kino: weewaawo, otuwulire ng'osinzira mu ggulu eyo gy'obeera, era bw'owulira, osonyiwe.
31
Omuntu bw'anaasobyanga ku munne, ne bamuleeta okumulayiza, n'ajja n'alayirira mu maaso g'ekyoto mu Yeekaalu eno;
32
kale owuliranga ng'oyima mu ggulu, n'olamula abaweereza bo, n'obonereza omusobya, ne wejjeereza atalina musango.
33
Abantu bo Abaisiraeri bwe banaawangulwanga abalabe baabwe olw'okuba nga baakwonoonye; bwe banaakukyukiranga nate ne beenenya ne baatula erinnya lyo ne basaba ne bakwegayirira mu nnyumba eno:
34
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, n'osonyiwa ekibi ky'abantu bo Isiraeri, n'obakomyawo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.
35
Eggulu bwe linaggalwangawo, enkuba netetonya, kubanga abantu bo baakwonoonye; naye bwe banaasabanga nga batunuulidde ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, nga omaze okubabonereza;
36
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu n'osonyiwa ekibi ky'abantu bo Isiraeri, n'obayigiriza ekkubo eddungi lye baba batambuliramu; n'otonyesa enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika.
37
Bwe wanaagwanga enjala mu nsi, oba bwe wanaabangawo kawumpuli, oba okugengewala, oba obukuku, oba nzige, oba akawuka; oba abalabe baabwe bwe banaabazingirizanga mu bibuga byabwe; kawumpuli oba endwadde endala yonna ne bw'ebinaabanga bitya;
38
abantu bo Abaisiraeri ne bakusaba era ne bakwegayirira buli omu ku lulwe, oba bonna awamu nga bakugololera emikono, gye boolekeza Essinzizo lino okusinziira ku bulumi ne ku buyinike bwe bawulira:
39
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu, n'osonyiwa n'osasula buli muntu ng'amakubo ge gonna bwe gali, kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abaana b'abantu bonna:
40
balyoke bakussengamu ekitiibwa ennaku zonna ze balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
41
Munnaggwanga atabeera mu bantu bo Abaisiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala ng'awulidde obukulu bwo,
42
kubanga baliwulira obukulu bwo n'obuyinza bwo n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'akusinza ng'atunuulidde Yeekaalu eno;
43
owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo kyo ky'obeeramu, n'omukolera nga bwakusabye; amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, baakuseemu ekitiibwa ng'abantu bo Isiraeri bwe bakola, era bamanye nti Yeekaalu eno gye nzimbye kye kifo eky'okukusinzizangamu.
44
Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe, yonna gyonobanga obatumye ne basaba Mukama nga batunuulira ekibuga kye weeroboza ne Yeekaalu eno gye nzimbye okusinzizangamu erinnya lyo:
45
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu okusaba kwabwe n'obalwanirira.
46
Abantu bo bwe banaakwonoonanga kubanga tewali muntu atayonoona, n'obasunguwalira n'obagabula eri abalabe baabwe, ne babatwala nga basibe mu nsi ey'abalabe oba wala oba kumpi;
47
naye bwe banajjukiriranga mu nsi gye baatwalibwa nga basibe ne bakyuka ne bakwegayirira mu nsi y'abo abaabatwala nga basibe nga boogera nti Twayonoona ne tukola eby'obubambaavu, twagira ekyejo;
48
bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna mu nsi y'abalabe baabwe abaabatwala nga basibe, ne bakusaba nga batunuulira ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe, ekibuga kye weeroboza ne Yeekaalu gye nzimbye okusinzizangamu erinnya lyo;
49
kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu n'obalwanirira;
50
n'osonyiwa abantu bo abakwonoonye okusobya kwabwe kwonna kwe bakusobya; n'obawa okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, babakwatirwe ekisa:
51
kubanga be bantu bo era bwe busika bwo bwe waggya mu Misiri, mu kubonaabona kuli okungi;
52
amaaso go gazibukenga eri okwegayirira kw'omuddu wo n'eri okwegayirira kw'abantu bo Isiraeri okubawuliranga buli bwe banaakukaabiranga.
53
Kubanga wabaawula mu mawanga gonna ag'oku nsi okuba obusika bwo, nga bwe wayogerera mu muddu wo Musa, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri, ayi Mukama Katonda.
54
Sulemaani bwe yamala okusaba Mukama ebyo byonna n'okumwegayirira, n'asituka okuva mu maaso g'ekyoto kya Mukama, we yali afukamidde, ng'ayanjuluza engalo ze eri eggulu.
55
N'ayimirira n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa n'eddoboozi ddene ng'ayogera nti
56
Mukama yeebazibwe awadde abantu be Isiraeri okuwummula, nga byonna bwe biri bye yasuubiza; tewali kigambo na kimu kibuze ku birungi byonna bye yasuubiza nga ayita mu muddu we Musa.
57
Mukama Katonda waffe abeerenga naffe nga bwe yabanga ne bajjajjaffe; aleme okutuleka newakubadde okutwabulira:
58
alyoke akyuse emitima gyaffe agize gy'ali tutambulirenga mu makubo ge gonna tukwatenga ebiragiro bye n'amateeka ge n'emisango gye bye yalagira bajjajjaffe.
59
N'ebigambo byange bino bye nneegayiridde mu maaso ga Mukama bibeerenga kumpi Mukama Katonda waffe emisana n'ekiro, akwatirwenga abantu be Abaisiraeri n'omuweereza we kabaka waabwe, ekisa, mu byetaago byabwe buli lunaku,
60
amawanga gonna ag'oku nsi gamanye nga Mukama ye Katonda; so tewali mulala.
61
Kale emitima gyammwe ginywererenga ddala ku Mukama Katonda waffe, mutambulirenga mu mateeka ge, mukwatenga ebiragiro bye nga bwe mukola kaakano.
62
Awo kabaka Sulemaani n'Abaisiraeri bonna abali naye, ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama.
63
Sulemaani n'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; ente emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000), n'endiga emitwalo kkumi n'ebiri (120,000). Kabaka n'Abaisiraeri bonna bwe batyo bwe bawonga Yeekaalu ya Mukama.
64
Ku lunaku olwo, kabaka n'atukuza oluggya olwa wakati olwali mu maaso ga Yeekaalu, kubanga eyo gye yaweerayo ssaddaaka ezokebwa nga nnamba, n'ekiweebwayo eky'obutta, n'amasavu agava mu ssaddaaka eziweebwayo olw'emirembe. Ssaddaaka ezo yaziweerayo eyo, kubanga ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga Mukama, kyali kitono nnyo nga ssaddaaka ezokebwa nga nnamba, n'ebiweebwayo eby'obutta n'amasavu g'ebiweebwayo olw'emirembe tebiyinza kuggyako.
65
Mu kiseera ekyo, Sulemaani ng'ali wamu n'Abaisiraeri bonna, n'akola embaga mu maaso ga Mukama, Katonda waffe, gye baamalako ennaku musanvu, n'ennaku endala musanvu, ze nnaku kkumi na nnya (14). Embaga eyo yaliko abantu bangi nnyo, abaava n'ewala ennyo, ng'eri awayingirirwa e Kamasi mu bukiikakkono, ne ku kagga ak'e nsalo ne Misiri, mu bukiikaddyo.
66
Ku lunaku olw'omunaana olwaddirira ennaku omusanvu ez'omulundi ogwokubiri, kabaka n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe. Abantu ne bamusabira omukisa, ne baddayo ewaabwe nga basanyufu, era nga bajaganya mu mitima gyabwe olw'obulungi Mukama bye yali alaze Dawudi omuddu we, n'abantu be Abaisiraeri.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22