bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 20
1 Kings 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 21 →
1
Awo Benikadadi kabaka w'e Busuuli n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna: ne bakabaka asatu mu babiri (32) ne bamwegattako n'embalaasi n'amagaali: n'agenda n'azingiza Samaliya n'alwana nakyo.
2
N'atumira Akabu kabaka wa Isiraeri ababaka mu kibuga, ne bamugamba nti Benikadadi akugambye nti
3
Effeeza yo n'ezaabu yo yange; ne bakazi bo nabo n'abaana bo, abasinga obulungi, bange.
4
Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Mukama wange, ayi kabaka; kyogambye kye kiikyo; nze ndi wuwo ne byonna bye nnina.
5
Awo ababaka ne bakomawo eri Akabu ne bamugamba nti Benikadadi akugambye nti Kya mazima nnakutumira ne nkugamba nti effeeza yo n'ezaabu yo, ne bakazi bo, n'abaana bo byange;
6
Kale nno enkya mu kiseera nga kino nja kukutumira abaddu bange bafeffette olubiri lwo n'ennyumba za baddu bo; buli ekinabasanyusa kyonna bajja kukitwala.
7
Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita abakadde bonna ab'ensi, n'ayogera nti Mutegeere kaakano era mulabe omusajja ono bw'alina ky'atwagaza: kubanga yantumira olw'abakazi bange n'abaana bange n'effeeza yange ne zaabu yange; ne sigaana.
8
Awo abakadde bonna n'abantu bonna ne bamugamba nti Towuliriza era tokkiriza.
9
Kyeyava agamba ababaka ba Benikadadi nti Gamba mukama wange kabaka nti Byonna bye wasookerako okutumira omuddu wo ndibikola: naye kino sijja kukikola. Ababaka ne baddayo ne bamuddiza ebigambo ebyo.
10
Awo Benikadadi n'amutumira ng'agamba nti Nja kuleeta basajja bange bazikirize Samaliya, bakifuule nfuufu, ereme na kubabuna buli omu okuyoolayo olubatu. Ekyo bwe siikituukirize, bakatonda bambonereze n'obukambwe.
11
Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Mumugambe nti Eyeesiba eby'okulwanyisa bye aleme okwenyumiriza ng'oyo abyesumulula.
12
Awo olwatuuka Benikadadi bwe yawulira ekigambo ekyo, ye ne bakabaka abamweggattako, bwe baali nga baanywera omwenge mu weema, n'alagira abaddu be nti Musimbe ennyiriri. Ne basimba ennyiriri okulwana n'ekibuga.
13
Nnabbi n'agenda eri Akabu kabaka wa Isiraeri, n'agamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olaba eggye lino lyonna eddene? Nja kuligabula mu mukono gwo olwaleero; olyoke omanye nga nze Mukama.
14
Akabu n'abuuza nti Baani abanaalirumba? Nnabbi n'addamu nti Mukama agamba nti Abavubuka n'abamasaza. Kabaka n'abuuza nti Ani anaasooka okulumba mu lutalo? Nnabbi n'addamu nti Ggwe.
15
Awo n'ayita abavubuka n'abamasaza bibiri mu asatu mu babiri (232), n'oluvannyuma n'ayita mu be ggye lya Isiraeri bonna ne bawera kasanvu (7,000).
16
Ne balumba mu ttuntu, nga Benikadadi ne bakabaka asatu mu ababiri (32) abajja okumuyamba mu lutalo, bali mu nsiisira banywa, batamiira.
17
Abavubuka n'abamasaza be baasooka okulumba. Benikadadi n'atuma abakessi, ne bamubuulira nti Waliwo abasajja abavudde mu Samaliya.
18
Benikadadi n'alagira nti Ne bwe baba bajjiridde mirembe, mubawambe; ne bwe baba bajjiridde bulwa, mubawambe.
19
Awo abavubuka n'abamasaza ne bafuluma mu kibuga, n'eggye ne libagoberera.
20
Buli omu kubo n'atta Omusuuli gwe yalwanyisa; Abasuuli ne badduka, Abaisiraeri ne babawondera: Benikadadi kabaka w'e Busuuli n'addukira ku mbalaasi n'awona wamu n'ab'omu ggye lye abeebagala embalaasi.
21
Kabaka wa Isiraeri n'agenda ne yeetaba mu lutalo, n'awamba embalaasi n'amagaali, n'atta Abasuuli bangi nnyo.
22
Awo nnabbi n'asemberera kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Genda wenyweze, weetegereze olabe by'onookola: kubanga ku ntandikwa y'omwaka ogujja, kabaka w'e Busuuli ajja kuddamu okukulumba.
23
Awo abaddu ba kabaka w'e Busuuli ne bamugamba nti Katonda wa Isiraeri, katonda wa ku nsozi; kye baava batusinga amaanyi: naye tulwanire nabo mu lusenyi, tetulirema kubawangula.
24
Era kola bwoti; ggyawo bakabaka buli muntu mu kifo kye, mu bifo byabwe oseemu abaduumizi:
25
era weebalire eggye eryenkanankana n'eggye lye wafiirwa, embalaasi okudda mu kifo ky'embalaasi, n'eggaali okudda mu kifo ky'eggaali: kale tulirwana nabo mu lusenyi, era tulibawangula. Awo n'awulira eddoboozi lyabwe n'akola bw'atyo.
26
Awo omwaka bwe gwatandika, Benikadadi n'akuŋŋaanya eggye ly'Abasuuli n'agenda mu Afeki okulwanyisa Isiraeri.
27
Eggye ly'Abaisiraeri ne likuŋŋaanyizibwa, ne baweebwa entanda yaabwe ey'emmere, ne bagenda okulwanyisa Abasuuli. Awo ne basiisira okwolekera Abasuuli nga bafaanana ebisibo ebitono bibiri eby'embuzi: naye Abasuuli bo nga baatalaze wonna.
28
Awo omusajja wa Katonda n'agenda eri kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olw'okubanga Abasuuli boogedde nti Mukama katonda wa ku nsozi, so si wa mu biwonvu; kyennava ngabula mu mukono gwo eggye lino lyonna eddene, mulyoke mumanye nga nze Mukama.
29
Awo eggye ly'Abaisiraeri n'Abasuuli ne basiisira nga boolekaganye okumala ennaku musanvu. Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu ne balumbagana; Abaisiraeri ne batta abalwanyi Abasuuli abatambuza ebigere kasiriivu kamu (100,000), ku lunaku lumu.
30
Abawonawo ne baddukira mu kibuga Afeki; ate eyo ekisenge gye kyabagwirako, ne kibattamu abantu emitwalo ebiri mu kasanvu (27,000). Ne Benikadadi n'adduka n'agenda mu kibuga Afeki ne yeekukuma mu kisenge eky'omunda.
31
Abaddu be ne bamugamba nti Tuwulidde nga bakabaka b'ennyumba ya Isiraeri ba kisa: tukwegayiridde tukkirize, twesibe ebibukutu mu biwato n'emigwa ku mitwe gyaffe, tugende nga tunakuwadde tufulume eri kabaka wa Isiraeri: oboolyawo anaawonya obulamu bwo.
32
Awo ne beesiba ebibukutu mu biwato ne batikkira emigwa ku mitwe gyabwe, ne bagenda eri kabaka wa Isiraeri, ne bagamba nti Omuddu wo Benikadadi agamba nti Nkwegayiridde, ndekera obulamu bwange. Akabu n'abuuza nti Akyali mulamu? Ye muganda wange.
33
Abasajja abo baali bafuba nnyo okwetegereza ky'anaayogera. Akabu bwe yagamba nti Oyo muganda wange, amangwago ne bakyesibako ne bagamba nti Weewaawo, Ayi kabaka, Benikadadi muganda wo. Akabu n'agamba nti Mugende mumuleete. Benikadadi n'avaayo n'ajja gy'ali. Akabu n'amulinnyisa mu ggaali lye.
34
Awo Benikadadi n'amugamba nti Ebibuga kitange bye yaggya ku kitaawo, nze nja kubikuddiza, era bw'oyagala oneezimbira obutale ku nguudo ze Ddamasiko, nga kitange bwe yeerimira mu Samaliya. Nange, bwe yayogera Akabu, naakuta ne ndagaano eno. Awo n'alagaana naye endagaano n'amuta.
35
Awo omusajja omu ow'okubaana ba bannabbi n'agamba munne olw'ekigambo kya Mukama nti Nfumita, nkwegayiridde. Omusajja n'agaana okumufumita.
36
Awo n'amugamba nti Kubanga towulidde ddoboozi lya Mukama, laba, bw'onoobanga kyojje onveeko, empologoma eneekutta. Awo bwe yali nga kyajje amuveeko, empologoma n'emusanga n'emutta.
37
Awo n'asanga omusajja omulala, n'ayogera nti Nfumita, nkwegayiridde. Omusajja n'amufumita n'amuteekako ekiwundu.
38
Awo nnabbi ne yeebikka ekiremba ku maaso ne yeebuzaabuza, n'agenda n'alindirira kabaka ku kkubo.
39
Kabaka bwe yali ayitawo, nnabbi n'amukoowoola, n'agamba nti Nze omuweereza wo bwe nali mu lutalo mu ddwaniro omutabaazi omu n'ava eri n'andeetera omusajja, era n'aŋŋamba nti Kuuma omusajja ono. Bw'alibomba, obulamu bwo bw'olisasulamu obubwe, oba oliriwa talanta nnamba eya ffeeza.
40
Awo omuddu wo bwe yali ng'atawaana wano na wali, omusajja n'abomba. Awo kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Omusango gwe wennyini ggwe ogwesalidde.
41
Awo nnabbi n'ayanguwa n'aggya ekiremba ku maaso ge; kabaka wa Isiraeri n'amutegeera nga y'omu ku bannabbi.
42
Nnabbi n'agamba kabaka nti Mukama agamba nti Nga bwe wata omusajja gwe n'alagira attibwe, n'omuleka n'agenda, obulamu bwo bw'onoosasuza obubwe, n'abantu bo be banadda mu kifo ky'abantu be.
43
Awo kabaka wa Isiraeri n'agenda mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize, n'agenda e Samaliya.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22