bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 2
1 Kings 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 3 →
1
Awo Dawudi bwe yali nga anaatera okufa; n'akuutira mutabani we Sulemaani nti,
2
Nze ŋŋenda bonna ab'omu nsi gye bagenda; obeeranga musajja wa maanyi era omumalirivu;
3
era okwatanga Mukama Katonda wo bye yakukuutira, okutambuliranga mu makubo ge, okukwatanga amateeka ge, n'ebiragiro bye, n'ebyo bye yategeeza, nga bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Musa, olyoke olabenga omukisa mu byonna by'onookolanga, na buli gy'onoogendanga:
4
Mukama anyweze ekigambo kye kye yayogera ku nze nti Abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuliranga mu maaso gange mu mazima n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna, tewaabulenga musajja ava mu nnyumba yo afuga Isiraeri.
5
Era omanyi n'ekyo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya kye yankola, bwe yatta abakulu b'eggye lya Isiraeri ababiri, Abuneeri mutabani wa Neeri ne Amasa mutabani wa Yeseri, be yattira mu kiseera eky'emirembe nga tewali lutalo nga yesasuza olw'ebyo bye bakola mu ntalo ezaayita; n'anteekako omusango ogw'okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango.
6
Omanyi eky'okumukolera, toganyanga omutwe gwe oguliko envi okugenda emagombe mu mirembe; omuttanga.
7
Naye okolanga bulungi batabani ba Baluzirayi Omugireyaadi, era babenga ku abo abanaaliranga ku mmeeza yo: kubanga bankwatirwa ekisa bwe nali nziruka muganda wo Abusaalomu.
8
Era, laba, waliwo ne Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow'e Bakulimu, eyankolimira ekikolimo ekizibu ku lunaku kwe nnagendera e Makanayimu: naye bweyajja okunsisinkana ku Yoludaani ne mmulayirira mu linnya lya Mukama nga Sirimutta na kitala.
9
Manya nti aliko omusango, nga bwoli omusajja omugezi omanyi eky'okumukolera; toganyanga omutwe gwe oguliko envi okugenda e emagombe mu mirembe, omuttanga.
10
Awo Dawudi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi.
11
Dawudi yafugira Isiraeri emyaka ana (40), yafugira e Kebbulooni emyaka musanvu (7), n'afugira e Yerusaalemi emyaka asatu mu esatu (33).
12
Awo Sulemaani n'atuula ku ntebe ya Dawudi kitaawe; obwakabaka bwe ne bunywerera ddala.
13
Awo Adoniya mutabani wa Kaggisi n'ajja eri Basuseba nnyina Sulemaani. Basuseba n'amubuuza nti Ozze mirembe? N'addamu nti Mirembe.
14
Adoniya n'ayogera nti Ndiko kye njagala okukubuulira. Basuseba n'ayogera nti Mbuulira.
15
Adoniya n'ayogera nti Omanyi ng'obwakabaka bwali bwange era n'aba Isiraeri bonna baali balindiridde nze mbulye: naye obwakabaka bukyuse ne bufuuka bwa muganda wange: kubanga bwali bubwe okuva eri Mukama.
16
Kale nno nkusaba ekigambo kimu, nkwegayiridde tokigaana. N'amugamba nti Kyogere.
17
N'ayogera nti Nkwegayiridde, nsabira kabaka Sulemaani, kubanga ggwe tajja kukugana, ampe Abisaagi Omusunammu muwase.
18
Basuseba n'amuddamu nti Kale; nnaakwogererayo eri kabaka.
19
Basuseba kyeyava agenda eri kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya. Kabaka n'asituka okusisinkana nnyina, n'amuvuunamira, n'alyoka atuula mu ntebe ye. N'alagira ne baleetera nnyina entebe, ne bagissa ku mukono ggwe ogwa ddyo, nnyina naatulako.
20
Nnyina n'ayogera nti Nkusaba ekigambo kimu kitono naye tokigaana. Kabaka n'amugamba nti, Mmange kisabe sikigaane.
21
Basuseba n'agamba nti Adoniya mugandawo muwe Abisaagi Omusunammu amuwase.
22
Kabaka Sulemaani n'addamu nnyina nti Lwaki osabira Adoniya okuweebwa Abisaagi Omusunammu? Musabire nno n'obwakabaka, kubanga ye mukulu wange, ate nga ne Abiyasaali kabona, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya, bali ku ludda lwe.
23
Awo kabaka Sulemaani n'alayira Mukama nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, oba nga ekigambo Adoniya kyayogedde tekimusse.
24
Nga Mukama bw'ali omulamu, ontuuziza ku ntebe ya Dawudi kitange, era awadde ennyumba yange obwakabaka nga bwe yasuubiza, mazima, leero, Adoniya anattibwa.
25
Awo kabaka Sulemaani n'atuma Benaya mutabani wa Yekoyaada, n'agenda n'atta Adoniya.
26
Kabaka n'agamba Abiyasaali kabona nti Genda e Anasosi mu byalo byo; kubanga osaanidde okuttibwa: naye siikutte kaakano, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama Katonda mu biro bya Dawudi kitange, era kubanga wabonyaabonyezebwa wamu naye mu byonna.
27
Awo Sulemaani n'agoba Abiyasaali ku bwa kabona bwa Mukama; atuukirize ekigambo kya Mukama, kye yayogera ku nnyumba ya Eri mu Siiro.
28
Ebigambo ebyo ne bituuka eri Yowaabu: kubanga Yowaabu yali akyuse okugoberera Adoniya, newakubadde nga teyagoberera Abusaalomu. Yowaabu n'addukira mu Weema ya Mukama, n'akwata ku mayembe g'ekyoto.
29
Ne babuulira kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu Weema ya Mukama, era laba, ali ku kyoto. Awo Sulemaani n'atuma Benaya mutabani wa Yekoyaada n'amugamba nti Genda omutte.
30
Benaya n'atuuka ku Weema ya Mukama, n'agamba Yowaabu nti Kabaka akulagidde nti Fuluma. Yowaabu n'addamu nti Nedda nja kufiira wano. Benaya n'addiza kabaka ebigambo Yowaabu byayogedde.
31
Awo kabaka n'agamba Benaya nti Kola nga bw'agambye. Mutte, omuziike, nze n'ab'ennyumba ya kitange tuleme kuvunaanibwa lwa bantu Yowaabu be yatta nga tebalina musango.
32
Era Mukama alibonereza Yowaabu olwabasajja ababiri Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lya Isiraeri ne Amasa mutabani wa Yeseri omukulu w'eggye lya Yuda, abamusinga obulungi n'obutuukirivu beyatta n'ekitala kitange Dawudi n'atakimanya.
33
Bwe gutyo omusaayi gwabwe gulidda ku mutwe gwa Yowaabu ne ku mutwe gw'ezzadde lye ennaku zonna: naye eri Dawudi n'eri ezzadde lye n'eri ennyumba ye n'eri entebe ye eribaayo emirembe ennaku zonna okuva eri Mukama.
34
Awo Benaya mutabani wa Yekoyaada n'agenda n'amutta Yowaabu; ne bamuziika mu nnyumba ye mu ddungu.
35
Awo kabaka n'assaawo Benaya mutabani wa Yekoyaada okuba omukulu w'eggye mu kifo kye: kabaka n'assaawo Zadoki kabona mu kifo kya Abiyasaali.
36
Kabaka n'atumya Simeeyi n'amugamba nti Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi, obeere omwo, naye tovangayo kugenda walala wonna.
37
Naye tegeerera ddala nga ku lunaku lw'olivaayo n'osomoka akagga Kidulooni, lw'olittibwa: n'omusaayi gwo guliba ku mutwe gwo ggwe.
38
Simeeyi n'agamba kabaka nti Ekigambo ekyo kirungi: nga mukama wange kabaka bw'ayogedde, bw'atyo omuddu wo bw'alikola. Simeeyi n'abeera mu Yerusaalemi okumala ebbanga ddene.
39
Oluvannyuma lwe myaka esatu, abaddu ba Simeeyi babiri ne batoloka ne bagenda eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka w'e Gaasi. Ne babuulira Simeeyi nti Abaddu bo bali Gaasi.
40
Simeeyi n'asituka n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agenda e Gaasi eri Akisi okunoonya abaddu be: bweyatuukayo n'abaggyayo.
41
Ne babuulira Sulemaani nti Simeeyi yava e Yerusaalemi n'agenda e Gaasi era yakomawo.
42
Kabaka n'atumya Simeeyi n'amugamba nti Saakulayiza Mukama ne nkukuutira nti ku lunaku lw'oliva e Yerusaalemi n'otambula okugenda e Yerusaleemi, Tolirema kufa? n'oddamu nti Ekigambo kye mpulidde kirungi.
43
Kale kiki ekikulobedde okwekuuma ekirayiro kya Mukama n'ekirayiro kye nnakulagira?
44
Era kabaka n'agamba Simeeyi nti Omanyi obubi bwonna bwe wakola Dawudi kitange, omutima gwo bwe gutegeera: Mukama kyanaava akubonereza.
45
Naye kabaka Sulemaani aliweebwa omukisa, n'entebe ya Dawudi erinywezebwa mu maaso ga Mukama ennaku zonna.
46
Awo kabaka n'alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada; n'agenda n'atta Simeeyi. Obwakabaka ne bunywezebwa mu mukono gwa Sulemaani.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22