bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 17
1 Kings 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 18 →
1
Awo Eriya Omutisubi, eyaatulanga e Gireyaadi, n'agamba Akabu nti Mukama Katonda wa Isiraeri nga bw'ali omulamu gw'empeereza, tewajja kuba musulo wadde enkuba, okumala emyaka okutuusa lwendiragira.
2
Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kyogera nti,
3
Va wano ogende ebuvanjuba wa Yoludaani awali akagga Kerisi weekweke.
4
Onoonywanga mu kagga ako; era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisizanga eyo.
5
Awo Eriya n'agenda n'akola ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali: n'agenda n'abeera awali akagga Kerisi akoolekera Yoludaani.
6
Awo bannamuŋŋoona ne bamuleeteranga emmere n'ennyama enkya, n'emmere n'ennyama akawungeezi; n'anywanga mu kagga.
7
Ddaaki akagga ne kakalira olw'obutabaawo nkuba mu nsi.
8
Nate ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kyogera nti
9
Situka ogende e Zalefaasi eky'omu Sidoni, obeere eyo: laba, ndagidde omukazi nnamwandu ali eyo okukuliisanga.
10
Awo Eriya n'asituka n'agenda e Zalefaasi. Bwe yatuuka ku mulyango omunene ogw'ekibuga, n'asangawo omukazi nnamwandu ng'alonderera obuku. Eriya n'amuyita, n'agamba nti Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi mu bbakuli nnyweko.
11
Awo bwe yali ng'agenda okugaleeta, n'amuyita nate, n'amugamba nti Ndeeterayo n'akagaati ndyeeko.
12
N'ayogera nti Nga Mukama Katonda wo bw'ali omulamu, sirina mugaati, wabula olubatu lw'obutta mu ppipa n'otufuta mu kasumbi: era, laba nnonderera obuku buno nnyingire nneefumbire nze n'omwana wange, tubulye tufe.
13
Awo Eriya n'amugamba nti Totya; genda okole nga bw'oyogedde: naye sooka obunfumbiremu akagaati, okaleete gye ndi, oluvannyuma weefumbire wekka n'omwana wo.
14
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Eppipa ey'obutta terikendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaliggwaawo, okutuusa ku lunaku Mukama lw'alitonnyesa enkuba ku nsi.
15
Awo n'agenda n'akola nga Eriya bw'ayogedde: omukazi n'ab'omu nnyumba ye ne Eriya ne baliira ennaku nnyingi.
16
Eppipa ey'obutta teyakendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaggwaawo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu Eriya.
17
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo omwana w'omukazi oyo nnyini nnyumba n'alwala; obulwadde ne bunyinyitira n'aggwamu n'akassa.
18
Awo omukazi n'agamba Eriya nti Nakukola kabi ki ggwe omusajja wa Katonda? Wajja wano kunnumiriza bibi byange, na kutta mwana wange!
19
Eriya n'amugamba nti Mpa omwana wo. N'amuggya mu kifuba kye n'amusitula n'amulinnyisa mu nju gye yabeerangamu n'amuteeka ku kitanda kye ye.
20
N'eyegayirira Mukama, n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wange, oleese ekibi ne ku nnamwandu ansuza ng'otta omwana we?
21
Ne yeegolola ku mwana emirundi esatu, n'eyegayirira Mukama n'ayogera nti Ayi Mukama Katonda wange, nkwegayiridde, obulamu bw'omwana ono bumuddemu nate.
22
Mukama n'awulira okusaba kwa Eriya; obulamu bw'omwana ne buddamu nate, n'alamuka.
23
Awo Eriya n'akwata omwana n'amuggya mu kisenge ekya waggulu mu kalinaabiri, n'amuserengesa, n'amuwa nnyina, n'amugamba nti Omwana wo wuuno mulamu.
24
Awo omukazi n'agamba Eriya nti Kaakano ntegeeredde ddala ng'oli musajja wa Katonda, era nga kya mazima Mukama ayogera ng'ayita mu ggwe.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22