bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 12
1 Kings 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 13 →
1
Lekobowaamu n'agenda e Sekemu: kubanga Abaisiraeri bonna gyebali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka.
2
Yerobowaamu mutabani wa Nebati n'akiwulira ng'akyali mu Misiri gye yali addukidde okuwona kabaka Sulemaani, era nga gy'abeera.
3
Awo ne batumya Yerobowaamu najja; ye n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne bagenda ne boogera ne Lekobowaamu nti
4
Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito: naye ggwe bwonowewula ku kikoligo ekyo n'otugondeza ku bulamu, kale tunakuweerezanga.
5
Lekobowaamu n'abagamba nti Mugende mumaleyo ennaku ssatu, mulyoke mukomewo. Abantu ne bagenda.
6
Kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku bantu abakulu, abaawanga Sulemaani kitaawe amagezi ng'akyali mulamu. N'ababuuza nti Magezi ki ge mumpa? Abantu bano mbaddemu ntya?
7
Ne bamuddamu nti Bw'onokkiriza okuba omuweereza w'abantu bano olwaleero, n'okkiriza okubagondera, n'obaddamu ebigambo ebirungi, kale olwo banaabanga baddu bo ennaku zonna.
8
Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, ne yeebuuza ku bavubuka beyakula nabo abaamuweerezanga.
9
N'abagamba nti Magezi ki ge mumpa mmwe tubaddemu abantu bano abaŋŋambye nti Wewula ekikoligo kitaawo kye yatuteekako?
10
Awo abavubuka abaakulira awamu naye ne bamuddamu nti Bw'otyo bw'oba ogamba abantu abo abakugambye nti Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye ggwe kituwewulire, bagambe nti Nasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange.
11
Oba nga kitange yababinika ekikoligo ekizito, nze nja ku kyongerako obuzito. Oba yabakangavvuzanga na nkoba, nze nja kubakangavvuzanga na njaba ez'obusagwa.
12
Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bakomawo eri Lekobowaamu ku lunaku olwokusatu, nga kabaka bwe yalagira, ng'ayogera nti Mukomangawo gye ndi nate ku lunaku olwokusatu.
13
Awo kabaka n'addamu abantu n'ebboggo, n'aleka amagezi abakadde ge baamuwa;
14
n'akolera ku magezi abavubuka ge bamuwa, ng'ayogera nti Kitange yafuula ekikoligo kyammwe ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvula na nkoba, naye nze ndibakangavvula na njaba ez'obusagwa.
15
Awo kabaka n'atawuliriza bantu; kubanga kyali kigambo Mukama kye yaleeta atuukirize ekigambo kye Mukama kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati nga akiyisa mu Nnabbi Akiya Omusiiro.
16
Awo Isiraeri yenna bwe baalaba nga kabaka tabawulira, abantu ne baddamu kabaka nga boogera nti Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? So tetulina busika mu mutabani wa Yese: mudde mu weema zammwe, ayi Isiraeri: ab'ennyumba ya Dawudi beefuge bokka. Awo Isiraeri ne baddayo ewaabwe.
17
Naye abaana ba Isiraeri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga.
18
Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Adolamu eyali akulira emirimu egy'obuwaze; Abaisiraeri ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka n'ayanguwa okulinnya mu ggaali ye n'adduka n'addayo mu Yerusaalemi.
19
Bwe batyo Abaisiraeri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi n'okutuusa leero.
20
Awo Isiraeri yenna bwe baawulira nga Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumya najja eri ekibiina, ne bamufuula kabaka wa Isiraeri yenna: ekika kya Yuda kyokka kye kyanywerera ku be nnyumba ya Dawudi.
21
Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya mu kika kya Yuda n'ekya Benyamini abasajja abazira emitwalo kkumi na munaana (180,000), okulwanyisa Abaisiraeri okubakomyawo mu bwakabaka bwe.
22
Naye ekigambo kya Katonda ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti
23
Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda n'ennyumba yonna eya Yuda ne Benyamini n'abantu bonna abalala
24
nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe abaana ba Isiraeri: muddeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ekigambo kya Mukama ne baddayo ne bagenda ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
25
Awo Yerobowaamu n'azimba bbugwe ku Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, n'abeera omwo; ne Penueri nakyo naakizimbako bbugwe.
26
Yerobowaamu n'alowooza mu mutima nti Kaakano obwakabaka bwandiddamu okufugibwa ab'ennyumba ya Dawudi.
27
Abantu bano bwe banaagendanga mu Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama mu Yeekaalu, omutima gwabwe guyinza okuwuguka ne bakyukira mukama waabwe Lekobowaamu kabaka wa Yuda, nze ne banzita ne badda gyali.
28
Awo kabaka bwe yamala okulowooza bwatyo, n'akola ennyana bbiri eza zaabu: n'agamba abantu ba Isiraeri nti Tekikyabeetaagisa kugendanga Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka. Laba bano be bakatonda bammwe abaabaggya mu nsi y'e Misiri.
29
Ennyana emu naagiteeka mu Beseri, endala naagiteeka mu Ddaani.
30
N'ekigambo ekyo ne kiba ekibi: kubanga abantu baagendanga ne basinza ennyana eyali e Ddaani n'abalala ne basinza eyali e Beseri.
31
N'azimba ebifo ebirala eby'okusinzizangamu ku nsozi, era n'assaawo bakabona ng'abaggya mu bantu bonna abatali ba ku baana ba Leevi.
32
Yerobowaamu era n'ateekawo embaga, ebeerengawo mu mwezi ogw'omunaana ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano, nga bwe bakolanga mu Yuda. N'agenda e Beseri eri ekyoto n'awaayo ssaddaaka eri ennyana gye yakola: era n'asaawo bakabona b'ebifo ebigulumivu bye yakola e Beseri.
33
N'agenda eri ekyoto kye yazimba e Beseri ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omunaana, gwe mwezi gwe yagunja mu mutima gwe ye; n'ateraawo Abaisiraeri embaga, n'alinnya eri ekyoto, n'anyokeza obubaane.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22