bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 13
1 Kings 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 14 →
1
Awo, ne wajja omusajja wa Katonda ng'ava mu Yuda olw'ekigambo kya Mukama n'ajja e Beseri: awo Yerobowaamu yali ng'ayimiridde awali ekyoto okunyookeza obubaane.
2
Awo omusajja wa Katonda n'ayogerera waggulu ku kyoto olw'ekigambo kya Mukama n'ayogera nti Ggwe ekyoto, ekyoto, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, omwana erinnya lye Yosiya alizaalibwa mu nnyumba ya Dawudi; ku ggwe kw'alittira bakabona b'ebifo ebigulumivu eby'okunsozi, abakunyookerezaako obubaane. Era amagumba g'abafu galyokerwa ku ggwe.
3
N'awa akabonero ku lunaku olwo ng'ayogera nti Kano ke kabonero Mukama k'ayogedde: laba, ekyoto kiryatika n'evvu erikiriko liriyiika.
4
Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ekigambo eky'omusajja wa Katonda kye yayogerera waggulu ku kyoto mu Beseri, awo Yerobowaamu n'agolola omukono gwe ng'ayima awali ekyoto ng'ayogera nti Mumukwate. N'omukono gwe yagololera omusajja wa Katonda negukalambala, n'atayinza kuguzza nate.
5
Ekyoto nakyo ne kyatika n'evvu ne liyiika okuva ku kyoto ng'akabonero bwe kaali omusajja wa Katonda ke yawa olw'ekigambo kya Mukama.
6
Awo kabaka n'addamu n'agamba omusajja wa Katonda nti Weegayirire nno ekisa kya Mukama Katonda wo onsabire omukono gwange guwone. Omusajja wa Katonda ne yeegayirira Mukama, omukono gwa kabaka ne guwona ne guddawo nga bwe gwali olubereberye.
7
Kabaka n'agamba omusajja wa Katonda nti Tugende ffenna eka, owummuleko, olye ku mmere era nkuwe ekirabo.
8
Omusajja wa Katonda n'agamba kabaka nti Newakubadde ng'onompa ekimu eky'okubiri ekyo buggagga bwo, sijja kuyingira mu nnyumba yo, sijja kulya mmere, so sijja kunywa mazzi mu kifo kino:
9
kubanga Mukama yankuutidde ng'ayogera nti Tolya emmere, tonywa mazzi so toddirayo mu kkubo lye wajjiddemu.
10
Awo n'addirayo mu kkubo eddala, n'aleka ly'eyajjiramu ng'ajja e Beseri.
11
Awo waaliwo nnabbi omukadde eyabeeranga mu Beseri, batabani ne b'ajja: ne bamubuulira byonna omusajja wa Katonda bye yali akoze mu Beseri ku lunaku olwo, ne baamubulira n'ebigambo bye yagamba kabaka.
12
Kitaabwe n'ababuuza nti Kkubo ki lyakutte nga addayo? Batabani be baali balabye ekkubo omusajja wa Katonda eyava mu Yuda lyeyakwata.
13
N'agamba batabani be nti Munteekere amatandiiko ku ndogoyi. Awo ne bamuteekera amatandiiko ku ndogoyi: n'agyebagala.
14
N'agoberera omusajja wa Katonda n'amusanga ng'atudde wansi w'omwera: n'amubuuza nti Ggwe musajja wa Katonda eyava mu Yuda? N'amuddamu nti Ye nze.
15
Awo n'amugamba nti Tuddeyo ffembi eka tulye ku mmere.
16
N'ayogera nti Siyinza kuddayo naawe newakubadde okuyingira naawe mu nnyumba: so siiriire mmere so sinywere mazzi wamu naawe mu kifo kino:
17
kubanga Mukama yandagira nga agamba nti Tolya ku mmere, tonywayo mazzi era tokomerawo mu kkubo ly'ogendeddemu.
18
Awo Nnabbi omukadde ow'e Beseri n'amugamba nti Nange ndi nnabbi nga ggwe bw'oli; era malayika aŋŋambye n'ekigambo kya Mukama nti Mukomyewo mu nnyumba yo alye ku mmere anywe amazzi. Naye ng'amulimba.
19
Awo musajja wa Katonda n'addayo ne nnabbi omukadde ow'e Beseri, n'alya emmere, n'anywa n'amazzi mu nnyumba ye.
20
Awo olwatuuka bwe bali nga balya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi omukadde eyamukomyawo.
21
Muddoboozi ery'omwanguka, n'agamba omusajja wa Katonda eyava mu Yuda nti Mukama agamba nti Nga bw'ojeemedde kye nakugamba Nze Mukama, Katonda wo, n'otokola kye nnakulagira,
22
naye n'okomawo, n'olya emmere era n'onywa amazzi mu kifo kye nnakugambako nti tolyayo mmere era tonywayo mazzi, omulambo gwo teguliziikibwa wamu ne bajjajjaabo.
23
Awo nnabbi omukadde bwe yamala okulya emmere n'okunywa, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi, ng'agitegekera nnabbi gweyakomyawo.
24
Awo bwe yali ng'agenda empologoma n'emusanga mu kkubo n'emutta: omulambo gwe ne gusigala mu kkubo, endogoyi n'empologoma neziyimirira kumpi nagwo.
25
Kale, laba, abantu ne bayitawo ne balaba omulambo nga gusuuliddwa mu kkubo n'empologoma ng'eyimiridde kumpi n'omulambo: ne bagenda ne bakibuulira abantu ab'omu kibuga nnabbi omukadde mwe yabeeranga.
26
Awo nnabbi omukadde eyamukomyawo, bwe yakiwulira, n'agamba nti ye musajja wa Katonda eyajeemedde ekiragiro kya Mukama: Mukama kyavudde amugabula eri empologoma emutaagudde n'emutta ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kyeyamugamba.
27
Awo n'agamba batabani be nti Munteekere amatandiiko ku ndogoyi. Ne bagiteekako amatandiiko.
28
N'agenda n'asanga omulambo gwe nga gusuuliddwa mu kkubo n'endogoyi n'empologoma nga ziyimiridde kumpi n'omulambo: empologoma nga teridde mulambo so nga tetaagudde ndogoyi.
29
Nnabbi omukadde n'asitula omulambo gw'omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n'aguteeka ku ndogoyi n'aguzzaayo mu kibuga Beseri: okugukungubagira n'okuguziika.
30
Nnabbi omukadde n'ateeka mu ntaana ye omulambo gw'omusajja wa Katonda; ne bamukungubagira nga boogera nti Woowe, muganda wange!
31
Awo olwatuuka ng'amaze okumuziika n'agamba batabani be nti Bwe ndifa, munziikanga mu ntaana omusajja wa Katonda mw'aziikiddwa; muteekanga amagumba gange kumpi n'amagumba ge.
32
Kubanga ekigambo omusajja wa Katonda kyeyayogerera waggulu ku kyoto e Beseri, ne ku nnyumba zonna ez'ebifo ebigulumivu ebiri mu bibuga eby'e Samaliya tekirirema kutuukirira.
33
Oluvannyuma lw'ekigambo ekyo Yerobowaamu n'atakyuka okuleka ekkubo lye ebbi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu ng'abaggya ku bantu bonna: buli eyayagalanga, n'amwawulanga nnamussaawo okuba kabona mu kifo ekigulumivu.
34
Ekibi kya Yerobowaamu ekyo ne kireetera eb'ennyumba ye okuzikirira n'okuggweerawo ddala.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22