bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 9
1 Kings 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 10 →
1
Awo olwatuuka Sulemaani bwe yamala okuzimba Yeekaalu ya Mukama n'ennyumba ya kabaka n'ebyo byonna Sulemaani bye yayagala bye yasiima okukola,
2
Mukama n'alabikira Sulemaani omulundi ogwokubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni.
3
Awo Mukama n'agamba Sulemaani nti Mpulidde okusaba kwo n'okwegayirira kwo kw'osabidde mu maaso gange; ntukuzizza Yeekaalu eno gy'ozimbye okusinzinzagamu erinnya lyange emirembe gyonna; n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeeranga ku yo enaku zonna.
4
Naawe bw'onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga n'omutima ogw'amazima n'obugolokofu okukolanga nga byonna bwe biri bye nnaakulagira, era bw'onookwatanga amateeka gange n'emisango gyange;
5
awo naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo ku Isiraeri emirembe gyonna; nga bwe nnasuubiza kitaawo Dawudi, bwe n'amugamba nti: Mu b'ezzadde lyo, toobulwengamu musajja atuula ku ntebe y'obwakabaka bwa Isiraeri.
6
Naye bwe munaakyukanga obutangoberera nze, mmwe oba baana bammwe, ne mutakwata biragiro byange n'amateeka gange bye nnateeka mu maaso gammwe, naye ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mubasinza;
7
kale ndimalawo Isiraeri mu nsi gye mbawadde; ne Yeekaalu eno gye ntukuzizza olw'erinnya lyange ndigiggyawo mu maaso gange; kale Isiraeri alifuuka lufuumo era ekisekererwa mu mawanga gonna;
8
era Yeekaalu eno newakubadde nga mpanvu bw'eti, naye buli anaagiyitangako aneewuunyanga n'asooza; era balyogera nti Mukama kiki ekimukozezza ensi eno bwe kityo ne Yeekaalu eno?
9
Awo baliddamu nti Kubanga baaleka Mukama Katonda waabwe eyaggya bajjajjaabwe mu nsi y'e Misiri, ne bakwata bakatonda abalala ne babasinza ne babaweereza; Mukama kyavudde abaleetako obubi buno bwonna.
10
Awo olwatuuka emyaka abiri (20) bwe gyayitawo, Sulemaani mwe yazimbira ennyumba zombi, ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka,
11
Kabaka Sulemaani n'awa Kabaka Kiramu ebibuga abiri (20), mu kitundu ky'e Ggaliraaya. Kiramu oyo kabaka w'e Ttuulo ye yayamba Sulemaani okufuna byonna bye yayagala okuzimbisa: emivule, n'emiberosi, ne zaabu.
12
Awo Kiramu n'afuluma mu Ttuulo okulambula ebibuga Sulemaani by'amuwadde: n'atabisiima.
13
N'ayogera nti Bibuga ki bino by'ompadde, muganda wange? N'abiyita ensi Kabuli ne leero.
14
Kiramu yali aweerezza kabaka Sulemaani zaabu aweza talanta kikumi mu abiri (120).
15
Gino gy'emirimu egy'obuwaze kabaka Sulemaani gye yakozesa abantu: okuzimba Yeekaalu n'ennyumba ye ne Miiro n'okuzimba ekigo kya Yerusaalemi, n'okuzimba ebibuga Kazoli ne Megiddo ne Gezeri.
16
Falaawo kabaka w'e Misiri yali atabadde n'amenya Gezeri n'akyokya omuliro n'atta Abakanani abatuula mu kibuga n'akiwa muwala we nga ekirabo bwe yafumbirwa Sulemaani.
17
Sulemaani n'akizimba buggya. Era n'azimba Besukolooni ekya wansi,
18
ne Baalasi ne Tamali mu nsi ey'eddungu eya Yuda,
19
n'ebibuga eby'okuterekangamu ebintu, n'ebibuga by'amagaali ge, n'ebibuga by'abasajja be abeebagala embalaasi, n'ebyo byonna Sulemaani bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi ne mu Lebanooni, n'awalala mu matwale ge gonna.
20
Abantu bonna abaasigalawo ku b'Amoli, ne ku Bakiiti, ne ku Baperizi, ne ku Bakiivi, ne ku Bayebusi, kwe kugamba abo abatali Baisiraeri,
21
bazzukulu baabwe abaabaddira mu bigere mu nsi eyo, Abaisiraeri be bataayinza kusaanyizaawo ddala, abo Sulemaani be yakozesa emirimu egy'obuwaze, era be bagikola ne leero.
22
Naye Sulemaani abaana ba Isiraeri bo teyabafuula baddu; naye baabanga basajja balwanyi n'abaweereza be n'abakulu be n'abaami, n'abakulu mu maggye ge, n'abaami b'amagaali ge n'abasajja be abeebagalanga embalaasi.
23
Waliwo abaami bitaano mu ataano (550) abaalabiriranga abantu abaakolanga n'obuwaze emirimu gya Sulemaani.
24
Naye muwala wa Falaawo n'ava mu kibuga kya Dawudi n'ayambuka n'ajja mu nnyumba ye Sulemaani gye yali amuzimbidde: awo Sulemaani n'azimba ne Miiro.
25
Emirundi esatu buli mwaka, Sulemaani n'awangayo, ku kyoto kye yazimbira Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Era n'anyookerezanga obubaane ku kyoto ekyali mu maaso ga Mukama. Bw'atyo bwe yamaliriza Yeekaalu.
26
Kabaka Sulemaani n'azimba empingu y'amaato mu Eziyonigeba ekiriraanye Erosi, ku lubalama lw'Ennyanja Emmyufu, mu nsi y'e Edomu.
27
Kabaka Kiramu n'aweereza abamu ku balunnyanja be abamanyi ennyo ennyanja bakolere wamu n'abasajja ba Sulemaani.
28
Ne bagenda e Ofiri, ne baggyayo zaabu aweza talanta bina mu abiri (420), ne bamuleeta eri kabaka Sulemaani.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22