bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 11
1 Kings 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 12 →
1
Kabaka Sulemaani n'ayagala abakazi bangi bannamawanga omwali ne muwala wa Falaawo, era n'abakazi Abamowaabu n'Abamoni n'Abaedomu n'Abasidoni n'Abakiiti;
2
Nga abaggya ku mawanga ago, Mukama ge yagamba Abaisiraeri nti Temuufubiriganwenga nabo, kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe kusinza bakatonda baabwe, naye Sulemaani n'abagaala ne yeegatta nabo.
3
Era yalina abakyala lusanvu (700), n'abazaana bisatu (300), abakazi abo ne bakyusa omutima gwe.
4
Sulemaani we yakaddiyira ng'abakazi be bakyusizza omutima gwe nga asinza bakatonda abalala: omutima tegwanywerera ku Mukama Katonda we nga ogwa Dawudi kitaawe bwe gwali.
5
Sulemaani n'asinza Asutaloosi, katonda omukazi ow'Abasidoni, ne Mirukomu katonda w'Abamoni eyali eky'omuzizo mu Yuda.
6
Era Sulemaani n'akola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, n'atagobererera ddala Mukama, nga Dawudi kitaawe bwe yakola.
7
Sulemaani n'azimba ku lusozi olw'olekedde Yerusaalemi ekifo ekigulumivu eky'okusinzizaamu Kemosi katonda w'Abamowaabu ne Moleki katonda w'Abamoni abali ab'omuzizo mu Yuda.
8
Era bwe yazimbira bw'atyo bakazi be bannamawanga ebifo gye baayoterezanga obubaane ne bawaayo ssaddaaka eri bakatonda baabwe.
9
Mukama n'asunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwakyuka okuva ku Mukama Katonda wa Isiraeri eyali yaakamulabikira emirundi ebiri,
10
era eyamulagira olw'ekigambo ekyo aleme okugoberera bakatonda abalala, naye n'atakwata ekyo Mukama kye yalagira.
11
Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti Kubanga okoze kino so tokutte ndagaano yange n'amateeka gange bye nnakulagira, sirirema kukuyuzaako obwakabaka ne mbuwa omuddu wo.
12
Naye sirikola bwe ntyo ku mirembe gyo ku lwa Dawudi kitaawo: naye ndibuyuza okubuggya mu mukono gw'omwana wo.
13
Naye sirimuyuzaako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa omwana wo ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange era ku lwa Yerusaalemi kye nneeroboza.
14
Awo Mukama n'ayimusiza Sulemaani omulabe, Kadadi Omwedomu: eyali omulangira mu zzadde lya kabaka wa Edomu.
15
Emabegako, Dawudi bwe yali mu Edomu, Yowaabu omuduumizi w'eggye n'agenda okuziika abattibwa, era n'atta buli musajja mu Edomu.
16
Yowaabu n'Abaisiraeri bonna be yali nabo, baamalayo emyezi mukaaga, era mu kiseera ekyo, mwe battira buli musajja na buli mwana ow'obulenzi mu Edomu,
17
okuggyako Kadadi n'abamu ku baweereza Abaedomu aba kitaawe, abadduka ne bagenda mu Misiri. Kadadi yali akyali mwana muto.
18
Ne bava mu Midiyaani ne bagenda e Palani, gye baggya abasajja abamu, ne bagenda nabo e Misiri. Ne batuuka eri kabaka waayo, ye n'awa Kadadi ekibanja n'ennyumba, era n'alagira bamuwenga eby'okulya.
19
Kadadi n'aganja nnyo ewa Falaawo, era kabaka oyo n'awa Kadadi omukazi ow'okuwasa nga ye muganda wa mukazi we yennyini, Nnaabagereka Tapenesi.
20
Muganda wa Tapenesi n'azaalira Kadadi omwana ow'obulenzi Genubasi. Tapenesi n'akolera mu lubiri omukolo ogw'okumuggya ku mabeere. Genubasi n'abeera mu lubiri lwa Falaawo wamu n'abaana ba Falaawo.
21
Awo Kadadi bwe yawulirira mu Misiri nga Dawudi akisizza omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, era nga ne Yowaabu omuduumizi w'eggye afudde, n'agamba Falaawo nti Ka ŋŋende, nzireyo mu nsi y'ewaffe.
22
Falaawo n'amubuuza nti Kiki ky'ojula ng'oli nange, ekikwagaza okuddayo mu nsi y'ewammwe? Kadadi n'addamu nti Tewali, naye era ndeka ŋŋende.
23
Awo Katonda n'amuyimusizaako omulabe omulala, Lezoni mutabani wa Eriyadda eyali adduse mukama we Kadadezeri kabaka w'e Zoba:
24
Dawudi bwe yatta ab'omu Zoba, Lezoni n'akuŋŋaanya abasajja, n'aba omukulu w'ekibinja kyabwe. Ne bagenda ne bamufuula kabaka mu Ddamasiko.
25
Lezoni n'aba mulabe wa Isiraeri mu mulembe gwa Sulemaani gwonna. Okwo kw'ogatta eby'obulabe Kadadi bye yakolanga, Lezoni n'akyawa Isiraeri, ng'olwo y'afuga Obusuuli.
26
Awo Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow'e Zereda, omuddu wa Sulemaani, nnyina ye Zeruwa eyali nnamwandu, naye n'ajeemera kabaka.
27
Era eno ye yali ensonga kyeyava ajeemera kabaka; kabaka Sulemaani yazimba ebbibiro eriyitibwa Miiro, n'aziba omuwaatwa ogwali mu kisenge ky'ekibuga kya Dawudi kitaawe.
28
Era omusajja oyo Yerobowaamu yali musajja wa maanyi omuzira: Sulemaani n'alaba omulenzi oyo nga munyiikivu, n'amutikkira emirimu gyonna egy'ennyumba ya Yusufu.
29
Awo olwatuuka mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yali ava mu Yerusaalemi, nnabbi Akiya Omusiiro n'amusanga mu kkubo; era Akiya yali ayambadde omunagiro omuggya; awo bombi ne baba bokka ku ttale.
30
Akiya n'akwata omunagiro omuggya n'aguyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri.
31
N'agamba Yerobowaamu nti Weetwalire ebitundu kkumi: kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndiyuza mu bwakabaka ne mbuggya mu mukono gwa Sulemaani ne nkuwa ggwe ebika kkumi:
32
Naye Sulemaani alisigazza ekika kimu ku lw'omuddu wange Dawudi ne ku lwa Yerusaalemi ekibuga kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri:
33
kubanga banvudeko ne basinza Asutaloosi katonda omukazi ow'Abasidoni ne Kemosi katonda wa Mowaabu ne Mirukomu katonda w'abaana ba Amoni; so tebatambulidde mu makubo gange okukola ebiri mu maaso gange ebirungi n'okukwata amateeka gange n'emisango gyange nga Dawudi kitaawe bwe yakolanga.
34
Kyokka siriggya ku Sulemaani bwakabaka bwe bwonna; naye ndimuleka n'afuga ennaku zonna ez'obulamu bwe ku lwa Dawudi omuddu wange gwe nnalonda kubanga yakwata ebiragiro byange n'amateeka gange:
35
naye ndiggya ku mutabani wa Sulemaani obwakabaka; ggwe ne nkuwaako ebika kkumi.
36
Ne mutabani we ndimuwa ekika kimu, Dawudi omuddu wange abeerenga n'omuntu ow'omuzadde lye ennaku zonna mu Yerusaalemi ekibuga kye nneeroboza okusinzizangamu erinnya lyange.
37
Era ndikutwala, n'oba kabaka wa Isiraeri, n'ofuga nga bw'oyagala.
38
Bw'onoowuliranga byonna bye nkulagira n'otambuliranga mu makubo gange n'okolanga ebyo ebiri mu maaso gange ebirungi, ndikuwa okufuga Isiraeri ne nyweza ennyumba yo ku bufuzi nga bwenakola ku Dawudi.
39
Era olw'ekibi kya Sulemaani ndibonereza ezzadde lya Dawudi, naye siriribonerezza ennaku zonna.
40
Sulemaani bwe yamanya ebyo, n'asala amagezi okutta Yerobowaamu, kyokka Yerobowaamu n'addukira e Misiri ewa Sisaki kabaka waayo, n'abeera eyo okutuusa nga Sulemaani amaze okufa.
41
Era ebikolwa byonna ebirala ebya Sulemaani ne byonna bye yakola n'amagezi ge byawandiikibwa mu kitabo ky'ebikolwa bya Sulemaani.
42
Ekiseera Sulemaani kye yafugira Isiraeri yonna mu Yerusaalemi kyali emyaka ana (40).
43
Awo Sulemaani ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe: awo Lekobowaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22