bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 7
1 Kings 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 8 →
1
Sulemaani y'amala emyaka kkumi n'esatu (13) ng'azimba olubiri lwe.
2
Yazimba ennyumba eyitibwa Ekibira kya Lebanooni, nga obuwanvu bwayo bwali emikono kikumi (100), n'obugazi bwayo emikono ataano (50), n'obugulumivu bwayo emikono asatu (30) ku mbu ssatu ez'empagi ez'emivule, emiti egy'emivule nga giri ku mpagi.
3
Waggulu w'ebisenge ebyazimbibwa ku mpagi ana mu ettaano (45), kkumi na ttaano (15) mu buli lubu, ne wabikkibwako embaawo ez'omuvule.
4
Embu z'amadirisa zaali ssatu nga gatunuuliganye, era nga gali mu nnyiriri ssatu.
5
Emiryango gyonna n'emyango gyazo gyali gya nsonda nnya ezenkanankana, n'amadirisa gaali mu nnyiriri ssatu, nga buli ddirisa ery'oludda olumu litunudde mu ddirisa ery'oludda olulala.
6
N'azimba ekisenge ekinene ekiyitibwa ekyempagi: obuwanvu bwakyo bwali emikono ataano (50), n'obugazi bwakyo emikono asatu (30); nga kuliko ekisasi ekisereke ekiwaniriddwa empagi.
7
N'azimba ekisenge ekinene Omwatekebwa entebe ey'obwakabaka, era nga kye kisaalirwamu emisango: kyabikibwako embaawo ez'emivule, okuva wansi okutuuka waggulu.
8
Ennyumba Sulemaani mweyasulanga yali mmanju w'ennyumba esalirwamu emisango. Enzimba yaayo yali ye emu n'ey'Ennyumba y'Emisango. Sulemaani n'azimbira ne mukazi we, muwala wa kabaka w'e Misiri, ennyumba efaanana ng'eyo.
9
Ennyumba ezo zonna, zazimbisibwa amayinja ag'omuwendo omungi, agaatemebwa mu kirombe ne gayoyotebwa bulungi, ku ngulu ne munda, agaazimbibwa okuva ku musingi okutuuka waggulu, era bwe gatyo n'ebweru okutuuka mu luggya olunene.
10
N'omusingi gwazimbibwa n'amayinja ag'omuwendo, amanene; agamu nga ga mikono kkumi (10), n'amalala ga mikono munaana.
11
Ne waggulu waaliwo amayinja ag'omuwendo omungi, amabajje, nga bwe gagerebwa, n'emiti egy'emivule.
12
N'oluggya olunene olw'etoolodde lwalina embu ssatu ez'amayinja amabajje, n'olubu lw'emiti egy'emivule; ng'oluggya olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama, n'ekisasi ky'ennyumba bwe byazimbibwa.
13
Awo kabaka Sulemaani n'atumya Kiramu ow'e Ttuulo.
14
Yali mwana wa mukazi nnamwandu ow'omu kika kya Nafutaali, ne kitaawe yali musajja ow'e Ttuulo, omuweesi w'ebikomo; era yajjuzibwa amagezi n'okutegeera n'obukabakaba, okukola emirimu gyonna egy'ebikomo. N'ajja eri kabaka Sulemaani, n'akola omulimu gwe gwonna.
15
Kiramu yaweesa empagi bbiri ez'ebikomo, buli mpagi obugulumivu bwayo emikono kkumi na munaana (18), ng'obwekulungirivu bwa buli mpagi emikono kkumi n'ebiri (12).
16
N'akola emitwe ebiri egy'ebikomo ebisaanuuse, okugiteeka ku ntikko z'empagi: omutwe ogumu obugulumivu bwagwo bwali emikono etaano, n'omutwe ogwokubiri obugulumivu bwagwo emikono etaano.
17
Ku mutwe ogwali ku buli mpagi, n'akolerako emikuufu musanvu egirukiddwa mu ngeri y'akatimba,
18
era n'akolako n'embu bbiri ez'ebifaananyi by'amakomamawanga.
19
Emitwe ku ntikko z'empagi ez'omu kisasi gyali gifaanana ng'ebimuli by'amalanga, era obugulumivu bwagyo emikono ena,
20
ng'emitwe egyo giteereddwa mu kitundu ekyekulungirivu ku mpagi zombi waggulu w'ekifaananyi eky'akatimba. Ku buli mutwe kwaliko ebifaananyi by'amakomamawanga bibiri (200) mu mbu bbiri.
21
Kiramu n'asimba empagi ku kisasi kya Yeekaalu: n'asimba empagi eya ddyo, n'agituuma erinnya lyayo Yakini: n'asimba empagi eya kkono, n'agituuma erinnya lyayo Bowaazi.
22
Ne ku ntikko z'empagi kwaliko omulimu ogw'ebimuli eby'amalanga: bwatyo Kiramu bweyamaliriza omulimu gw'empagi.
23
Kiramu n'aweesa tanka ey'amazzi, enene, enneekulungirivu ey'ekikomo, ya mikono kkumi (10) okuva ku muggo okutuuka ku muggo, neekulungirivu, n'obugulumivu bwayo bwali emikono etaano: era omugwa ogw'emikono asatu (30) gwagyetooloola.
24
Era wansi w'omuggo gwayo okwetooloola waaliwo embu bbiri ez'ebifaananyi eby'ebiryo okugyetooloola, ezawesebwa awamu ne tanka ezo, obugulumivu bwabyo emikono kkumi (10).
25
Ettanka yatuula ku bifaananyi eby'ente kkumi na bibiri, essatu nga zitunuulira obukiikakkono, n'essatu nga zitunuulira obugwanjuba, n'essatu nga zitunuulira obukiikaddyo, n'essatu nga zitunuulira obuvanjuba: enkoggo zaazo zonna nga zitunudde munda.
26
Omubiri gwa ttanka gwali oluta lumu. Omugo gwayo gwali gukoleddwa ng'o gw'ekibya era ng'ekimuli kyamalanga. Ettanka eyo nga egyamu ensuwa enkumi bbiri (2,000).
27
N'akola ebigaali kkumi eby'ekikomo, ekigaali obuwanvu bwakyo emikono ena, n'obugazi bwakyo emikono ena, n'obugulumivu bwakyo emikono esatu.
28
Byali bikoleddwa mu mbaati ezenkanankana enjuyi zonna ennya, nga ziteekeddwa mu fuleemu.
29
Ku mbaati ezo ezaali mu fuleemu, kwaliko ebifaananyi by'empologoma n'ente ne bakerubi. Ne ku fuleemu kwaliko waggulu ekitereezebwako ebintu, ne wansi w'ebifaananyi by'empologoma n'ente waaliwo emige gy'ebimuli egireebeeta.
30
Buli kigaali kyalina nnamuziga nnya ez'ekikomo, n'ebyuma kwe zeetooloolera, nga bya kikomo. Ku nsonda zaakyo ennya, kwaliko ekitereezebwako ebbenseni. Ebyo ebitereezebwako ebbenseni byali byoleddwako ebifaananyi by'emige gy'ebimuli.
31
Waggulu ku mutwe, gwe kigaali waaliwo Omugo omwekulungirivu omuteekebwa ebbenseni, okuva ku mutwe gwe kigaali okudda waggulu gwali omukono gumu: ate okudda wansi gwali omukono gumu n'ekitundu: kwaliko enjola okwetooloola omugo gwonna. Embaati zaakyo zaalina enjuyi nnya ezenkanankana, nga si neekulungirivu.
32
Nnamuziga ennya zaali wansi w'embaati, ng'ebyuma kwe zeetooloolera biweeseddwa nga tebyawuddwa ku bikondo. Obugulumivu bwa nnamuziga mukono gumu n'ekitundu.
33
Nnamuziga ezo zaali zikoleddwa nga nnamuziga z'ebigaali ebikozesebwa mu ntalo. Ebyuma kwe zeetooloolera, n'empanka zaazo, n'empagi zaazo, n'emisingi gyazo, byonna byali bya kikomo.
34
Ku buli nsonda ennya, kwaliko ekikondo ekyasaanusirizibwa awamu n'ekigaali.
35
Ku ntikko ye kigaali, kwaliko omuge omwekulungirivu, obugulumivu bwagwo kitundu kya mukono: Empagi zaakyo n'embaati zaakyo byali biweeseddwa nga tebyawuddwa ku kigaali kyennyini.
36
Ku bipande by'empagi zaakyo ne ku mbaati zaakyo, yayolako ebifaananyi bya bakerubi, n'empologoma, n'enkindu we bisobola okuggya, n'emige gy'ebimuli okwetooloola wonna.
37
Kiramu bw'atyo bwe yakola ebigaali ekkumi (10), byonna byali biweeseddwa mu kikomo ekisaanuusiddwa, nga bifaanana, era nga byenkana mu bipimo ne mu ndabika.
38
Era n'akola ebbenseni kkumi (10) ez'ebikomo: nga buli bbenseni eggyaamu ensuwa ana (40), era nga obugazi bwayo emikono ena: ku bigaali bino ekkumi (10), ku buli kimu kwaliko ebbenseni emu.
39
N'ateeka ebigaali ebitaano ku ludda lwa Yeekaalu olwa ddyo, n'ebitaano ku ludda lwayo olwa kkono. Ttanka ennene n'agiteeka ku nsonda ya Yeekaalu ey'okuludda olwa ddyo olw'ebuvanjuba.
40
Kiramu n'akola ebbenseni, ebisena ne bbakuli. Bw'atyo Kiramu n'amalira ddala omulimu gwonna gwe yakolera kabaka Sulemaani mu Yeekaalu ya Mukama.
41
N'akola empagi bbiri, nga buli ntikko ya mpagi ekoleddwa mu kifaananyi kya bbakuli; ku buli emu ku mpagi zino n'atonako ebifaananyi by'emikuufu egitimbiddwa ku ntikko okwetooloola.
42
N'akola ebifaananyi by'amakomamawanga ag'ekikomo bina (400), nga gali mu mbu bbiri okwetooloola buli emu ku mpagi ezo.
43
N'akola ebigaali kkumi (10), n'abikolerako ne bbenseni kkumi (10).
44
N'akola ttanka emu n'ebifaananyi by'ente kkumi n'abibiri (12) nga biwaniridde ttanka.
45
N'akola entamu, ebisena n'ebbakuli: ebintu ebyo byonna Kiramu bye yakolera kabaka Sulemaani mu Yeekaalu ya Mukama byali bya kikomo ekizigule.
46
Ebintu ebyo, kabaka yabiweeseza mu lusenyi lwa Yoludaani, awali ettaka ery'ebbumba, wakati w'ebibuga Sukkosi ne Zalesani.
47
Ebintu ebyo byonna Sulemaani teyabipima buzito, kubanga byali bingi nnyo: obuzito bw'ekikomo tebwategeerekeka.
48
Sulemaani n'akola mu zaabu ebintu byonna eby'okukozesebwa mu Yeekaalu: ekyoto n'emmeeza okuteekebwa emigaati egy'okulaga ya zaabu;
49
ebikondo by'ettaala ebiteekebwa mu maaso g'Ekifo ekitukuvu Ennyo, bitaano ku ludda olwa ddyo, n'ebitaano ku ludda olwa kkono, nga bya zaabu omulongoose; n'ebimuli, n'ettaala, ne makansi,
50
n'akola ebikompe, ne makansi esaalako ebisiriiza, ebbakuli, n'ebisena, ebyoterezo by'obubbani nga bikoleddwa mu zaabu ennongoose, ne ppata z'enzigi ez'omu Kifo Ekitukuvu Ennyo, era n'ez'enzigi z'Essinzizo ez'ebweru, ebyo byonna byali bya zaabu.
51
Bwe gutyo omulimu gwonna kabaka Sulemaani gwe yakola ku Yeekaalu ya Mukama ne guggwa. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga, effeeza n'ezaabu n'ebintu byonna, n'abiteeka mu mawanika ga Yeekaalu ya Mukama.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22