bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 4
1 Kings 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 5 →
1
Awo kabaka Sulemaani n'aba kabaka wa Isiraeri yenna.
2
Era bano be bakulu be yalina; Azaliya mutabani wa Zadoki, kabona;
3
Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, abawandiisi; Yekosafaati mutabani wa Akirudi, omujjukiza;
4
ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'eggye; ne Zadoki ne Abiyasaali be baali bakabona;
5
ne Azaliya mutabani wa Nasani ye yali omukulu w'abaami; ne Zabudi mutabani wa Nasani ye yali kabona, mukwano gwa kabaka;
6
Akisaali ye yali akulira abaweereza b'omu lubiri. Adoniraamu mutabani wa Abuda ye yali nnampala w'abakozesebwa n'obuwaze.
7
Era Sulemaani yalina abaami kkumi na babiri (12) abaakuliranga Isiraeri yenna, abaaleeteranga kabaka n'ab'omu nnyumba ye eby'okulya, nga buli omu ku bo kimugwanira okusolooleza omwezi gumu buli mwaka.
8
Ne gano ge mannya gaabwe: Benikuli, mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu:
9
Benidekeri, mu Makazi, ne mu Saalubimu ne mu Besusemesi ne mu Eronubesukanani:
10
Benikesedi, mu Alubbosi; Soko kyali kikye, n'ensi yonna ey'e Kefera:
11
Beniyabinadabu, mu kifo kyonna ekigulumivu eky'e Doli; ye yafumbirwa Tafasi muwala wa Sulemaani:
12
Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, n'e Besuseyani ekiri ku mabbali g'e Zalesani, wansi w'e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola, okuyita ku Yokumeyamu:
13
Benigeberi, mu Lamosugireyaadi; ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase ebiri mu Gireyaadi byali bibye; essaza Alugobu eriri mu Basani lyali lirye, ebibuga ebinene nkaaga (60) ebyalina bbugwe n'ebisiba eby'ebikomo:
14
Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu:
15
Akimaazi, mu Nafutaali; naye yafumbirwa Basemasi muwala wa Sulemaani:
16
Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi:
17
Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali:
18
Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini:
19
Geberi mutabani wa Uli, mu nsi ya Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w'Abamoli ne Ogi kabaka w'e Basani; naye yali omwami yekka eyali mu nsi.
20
Yuda ne Isiraeri baali bangi, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi, nga balya era nga banywa era nga basanyuka.
21
Awo Sulemaani n'afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey'Abafirisuuti, n'okutuuka ku nsalo ey'e Misiri: era baaleetanga ebirabo ne baweerezanga Sulemaani ennaku zonna ez'obulamu bwe.
22
Awo eby'oku lunaku olumu bye baasoloolezanga Sulemaani byali ebigero eby'obutta obulungi asatu (30), n'ebigero eby'obutta nkaaga (60);
23
ente eza ssava kkumi (10), n'ente ezaava mu ddundiro abiri (20), n'endiga kikumi (100), obutassaako njaza na mpeewo na nnangaazi na nkoko ze baasavuwazanga.
24
Sulemaani yafuganga ensi yonna eri emitala w'Omugga Fulaati, okuva e Tifusa okutuuka e Gaaza, ng'afuga bakabaka bonna abaali emitala w'Omugga Fulaati: yalina emirembe mu njuyi zonna ezimwetooloodde.
25
Yuda ne Isiraeri bonna ne batuula mirembe ennaku zonna eza Sulemaani. Buli muntu ng'alina ennimiro ye ey'emizabbibu n'emitiini okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba.
26
Era Sulemaani yalina ebisibo by'embalaasi emitwalo ena (40,000) olw'amagaali ge, n'abasajja abeebagala embalaasi omutwalo mu enkumi bbiri (12,000).
27
Abaami abo ekkumi n'ababiri (12) be baaleeteranga kabaka Sulemaani eby'okulya ne bonna abaaliiranga ku mmeeza ye, buli mwami mu mwezi gwe, nga tebaaganya kintu kyonna kubulawo.
28
Era baaleetanga ne sayiri n'essubi olw'embalaasi n'ensolo ez'embiro mu kifo abaami gyebali, buli muntu ng'omulimu bwe gwali gwe yalagirwa.
29
Katonda n'awa Sulemaani amagezi n'okutegeera kungi nnyo, n'obugazi bw'okumanya, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja.
30
Amagezi ga Sulemaani ne gakira amagezi gonna ag'abaana b'ebuvanjuba, n'amagezi gonna ag'e Misiri.
31
Kubanga yakira abantu bonna amagezi; yakira Esani Omwezulaki ne Kemani ne Kalukoli ne Daluda, batabani ba Makoli: erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde.
32
Yagera engero enkumi ssatu (3,000), n'ayiiya ennyimba lukumi mu ttaano (1,005).
33
N'ayogera ku miti, okuva ku muvule oguli ku Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe: yayogera ne ku nsolo n'ennyonyi n'ebyewalula n'ebyennyanja.
34
Amawanga gonna ne gajja okuwulira amagezi ga Sulemaani nga bava eri bakabaka bonna abaali bawulidde ku magezi ge.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22