bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 16
1 Kings 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 17 →
1
Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeeku mutabani wa Kanani nga kyogera nti
2
Nnakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri; naawe otambulidde mu kkubo lya Yerobowaamu n'oyonoonyesa abantu bange Isiraeri okunsunguwaza n'ebibi byabwe;
3
laba, ndiggirawo ddala Baasa n'ennyumba ye: era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati.
4
Ow'omu nnyumba ya Baasa anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'ow'oku babe anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga.
5
Ebikolwa ebirala byonna ebya Baasa ne bye yakola n'amaanyi ge byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
6
Baasa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa e Tiruza: Era mutabani we n'afuga mu kifo kye.
7
Ekigambo kya Mukama nate ne kijjira nnabbi Yeeku mutabani wa Kanani nga kyogera ku Yeeku ne ku nnyumba ye olw'ebibi byonna bye yakola mu maaso ga Mukama okumusunguwaza n'olw'emirimu gy'emikono gye ng'afaanana n'ennyumba ya Yerobowaamu gye yazikiriza.
8
Mu mwaka ogw'abiri mu mukaaga (26) ogwa Asa kabaka wa Yuda, Era mutabani wa Baasa n'atandika okufugira Isiraeri e Tiruza n'afugira emyaka ebiri.
9
Awo omuddu we Zimuli omukulu w'ekitundu ky'amagaali ge n'amusalira olukwe: era yali Tiruza ng'anywa omwenge ng'atamiirira mu nnyumba ya Aluza eyali ssaabakaaki mu Tiruza:
10
Zimuli n'ayingira n'amufumita n'amutta mu mwaka ogw'abiri mu musanvu (27) ogwa Asa kabaka wa Yuda, Zimuli n'afuga mu kifo kye.
11
Awo olwatuuka Zimuli bwe yatandika okufuga, nga kyajje atuule ku ntebe ye, n'atta ab'omu nnyumba ya Baasa bonna, n'atamulekerawo mwana yenna wa bulenzi ava munda ye oba owa mikwano gye.
12
Bw'atyo Zimuli bwe yazikiriza ennyumba yonna eya Baasa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa nga ayita mu nnabbi Yeeku,
13
olw'ebibi byonna ebya Baasa, n'ebibi bya Era mutabani we bye bayonoona era bye bayonoonyesa Isiraeri, ne basunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri.
14
Ebikolwa ebirala byonna ebya Era ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
15
Mu mwaka ogw'abiri mu musanvu (27) ogwa Asa kabaka wa Yuda Zimuli n'afuga Isiraeri e Tiruza okumala ennaku musanvu zokka. Aba Isiraeri baali basiisidde okulwanyisa ekibuga Gibbesoni eky'Abafirisuuti.
16
Awo abantu abaali basiisidde ne bawulira nti Zimuli asaze olukwe era asse kabaka ku lunaku olwo lwennyini nga bali mu lusiisira kye baava bafuula Omuli omukulu w'eggye okuba kabaka wa Isiraeri.
17
Omuli n'ava e Gibbesoni n'eggye lyonna erya Isiraeri ne bazingiza Tiruza.
18
Awo olwatuuka Zimuli bwe yalaba ng'ekibuga kimenyeddwa, n'ayingira mu kifo eky'ennyumba ya kabaka, n'alukumako omuliro ne yeeyokeramu, n'afa,
19
olw'ebibi bye bye yayonoona ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kibi kye kye yakola okwonoonyesa Isiraeri.
20
Ebikolwa ebirala byonna ebya Zimuli n'obujeemu bwe bwe yajeema byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
21
Awo abantu ba Isiraeri ne beetemamu ebibiina bibiri: ekibiina ekimu nga kiwagira Tibuni mutabani wa Ginasi okubeera kabaka; n'ekibiina ekirala nga kiwagira Omuli.
22
Abo abaawagira Omuli ne basinga obungi abo abaawagira Tibuni mutabani wa Ginasi: awo Tibuni n'afa, Omuli n'alya obwakabaka.
23
Mu mwaka ogw'asatu mu gumu (31) ogwa Asa kabaka wa Yuda Omuli n'atandika okufuga Isiraeri n'afugira emyaka kkumi n'ebiri (12), yafugira emyaka mukaaga e Tiruza.
24
Awo Omuli kabaka n'agula olusozi Samaliya okuva ku Semeri ne talanta bbiri eza ffeeza; n'aluzimbako ekibuga. Ekibuga ekyo kye yazimbako n'akituuma Samaliya, ng'akibbulamu erinnya lya Semeri eyali nnannyini lusozi olwo.
25
Omuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'ayonoona okusinga bonna abaamusooka.
26
Yakolera ddala nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n'asunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri, olw'ebibi ebibye bye yakola, era naaleetera Abaisiraeri okwonoona nga basinza ebifaananyi.
27
Ebikolwa ebirala byonna ebya Omuli bye yakola n'amaanyi ge ge yalaga byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
28
Awo Omuli ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu Samaliya: Akabu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
29
Awo mu mwaka ogw'asatu mu munaana (38) ogwa Asa kabaka wa Yuda Akabu mutabani wa Omuli n'atandika okufuga Isiraeri; Akabu mutabani wa Omuli n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyaka abiri mu ebiri (22).
30
Akabu mutabani wa Omuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi okusinga bonna abaamusooka.
31
Akabu eky'okutambulira mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati teyakitya, naye n'agattako n'okuwasa Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w'Abasidoni, okwo n'ayongerako okusinza n'okuweereza Baali.
32
N'azimbira Baali essabo mu Samaliya, n'amuzimbiramu ekyoto.
33
Era Akabu n'akola ekifaananyi kya Aseeri katonda omukazi; Akabu ne yeeyongera nate okukola eby'okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri okusinga bakabaka bonna aba Isiraeri abaamusooka.
34
Mu mulembe gwe, Kyeri ow'e Beseri n'azimba buggya ekibuga Yeriko. Bwe yali ateekawo omusingi, n'afiirwa Abiraamu mutabani we omuggulanda, ate bwe yali awangamu enzigi zaakyo, n'afiirwa Segubi mutabani we omuggalanda, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Yoswa mutabani wa Nuuni.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22