bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 15
1 Kings 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 16 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa kabaka Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Abiyaamu n'atandika okufuga Yuda.
2
Yafugira emyaka esatu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye lyali Maaka muwala wa Abisalomu.
3
Abiyaamu nnakola ebibi byonna nga kitaawe bye yakola. Omutima gwe ne gutanywerera ku Mukama Katonda we ng'omutima gwa jjajjaawe Dawudi nga bwe gwali.
4
Wabula ku lwa Dawudi, Mukama Katonda we n'amuwa omwana ow'obulenzi okumusikira ku ntebe ey'obwakabaka mu Yerusaalemi, n'okukuuma Yerusaalemi nga kiri mirembe.
5
kubanga Dawudi yakolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, n'atakyuka okuva mu kintu kyonna kye yamulagira ennaku zonna ez'obulamu bwe okujjako mu kigambo kya Uliya Omukiiti.
6
Mu mulembe gwa Abiyaamu gwonna, waabangawo entalo ezaatandikawo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu.
7
N'ebikolwa ebirala byonna ebya Abiyaamu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo eky'Eby'omumirembe gya bassekabaka ba Yuda. Ne wabanga entalo eri Abiyaamu ne Yerobowaamu.
8
Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe: ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi: Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye.
9
Awo mu mwaka ogw'abiri (20) ogwa Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri Asa n'atandika okufuga Yuda.
10
Asa n'afugira emyaka ana mu gumu (41) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye lyali Maaka muwala wa Abisalomu.
11
Asa n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga Dawudi kitaawe bwe yakola.
12
N'agoba abaalyanga ebisiyaga mu nsi, n'aggyawo ebifaananyi byonna bajjajjaabe bye baakola.
13
Era ne Maaka nnyina n'amugoba ku bwa nnamasole: n'atemaatema ekifaananyi kya Asera kye yakola n'akyokera ku kagga Kidulooni.
14
Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: naye omutima gwa Asa gwatuukirira eri Mukama ennaku ze zonna.
15
N'ateeka mu nnyumba ya Mukama ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu ye yennyini bye yawonga, effeeza n'ezaabu, n'ebintu ebirala.
16
Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zaabwe zonna ze bafugiramu.
17
Awo Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'awamba ekibuga Laama naakizimbako ekigo waleme kubeerawo muntu asobola kuva mu Yuda wadde okugendayo okutuuka ku Asa, kabaka waayo.
18
Awo kabaka Asa n'ajjayo zaabu n'effeeza n'eby'obugagga ebyali bisigadde mu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka n'abikwasa abaddu be babitwalire Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni mutabani wa Keziyoni kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti
19
Tukole endagaano ey'okukolaganira awamu, nga bakitaffe gye baakola. Laba nkuweerezza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu. Genda omenyewo endagaano yo ey'enkolagana ne Baasa, kabaka wa Isiraeri alyoke aggye amagye ge mu nsi yange.
20
Awo Benikadadi n'akkiriza ebigambo bya kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri, n'awamba ebibuga Iyoni ne Ddaani ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna n'ekitundu kyonna ekya Nafutaali.
21
Baasa n'alekerawo okuzimba ekigo ku kibuga Laama n'agenda n'abeeranga e Tiruza.
22
Awo kabaka Asa n'akuŋŋaanya aba Yuda bonna awatali kulekayo n'omu, ne baggyawo amayinja n'emiti kabaka Baasa by'eyazimbisa ekibuga Laama, Asa n'abizimbisa ebibuga Geba ekya Benyamini ne Mizupa.
23
Ebikolwa ebirala byonna ebya Asa n'amaanyi ge gonna ne byonna bye yakola n'ebibuga bye yazimba byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. Mu kiseera eky'obukadde bwe n'alwala ebigere.
24
Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe: Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye.
25
Awo Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n'atandika okufuga Isiraeri mu mwaka ogwokubiri ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afugira Isiraeri emyaka ebiri.
26
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi, n'atambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kyonoono kye kye yayonoonyesa Isiraeri.
27
Awo Baasa mutabani wa Akiya ow'omu nnyumba ya Isakaali n'akolera Nadabu olukwe n'amuttira e Gibbesoni eky'Abafirisuuti Nadabu n'aba Isiraeri kye baali bazingizizza.
28
Mu mwaka ogwokusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mwe yattira Nadabu, ye n'afuga mu kifo kye.
29
Awo Baasa olw'amala okufuuka kabaka, n'atta ab'ennyumba ya Yerobowaamu bonna, n'abazikiririza ddala obutalekaawo n'omu nga mulamu, nga Mukama bwe yayogera ng'ayita mu muddu we Akiya Omusiiro.
30
Olw'ebibi Yerobowaamu bye yakola ne bireetera Isiraeri okwonoona, era ne bisunguwaza Mukama, Katonda wa Isiraeri.
31
Ebikolwa ebirala byonna ebya Nadabu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
32
Wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zonna ze baafugiramu.
33
Mu mwaka ogwokusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mutabani wa Akiya n'atanula okufuga Isiraeri yenna e Tiruza, n'afugira emyaka abiri mu ena (24).
34
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kwonoona kwe kweyayonoonyesa Isiraeri.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22