bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 19
1 Kings 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 20 →
1
Awo Akabu n'abuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola era bwe yatta bannabbi Babaali bonna n'ekitala.
2
Awo Yezeberi n'atumira Eriya omubaka ng'ayogera nti Bakatonda bambonereze n'obukambwe, singa enkya mu kiseera nga kino nnaaba sinakutta nga gwe bwosse abantu abo.
3
Awo Eriya bwe yawulira ekyo n'asituka n'adduka olw'obulamu bwe, n'agenda e Beeruseba ekya Yuda, n'alekayo omuddu we.
4
Ye yennyini n'atambula mu ddungu olugendo lwa lunaku lumu, n'agenda n'atuula wansi w'omwoloola: ne yeesabira okufa; n'ayogera nti Kinaamala; kaakano, ayi Mukama, nziyaako obulamu bwange; kubanga sisinga bajjajjange obulungi.
5
N'agalamira ne yeebaka wansi w'omwoloola; awo malayika n'amukomako, n'amugamba nti Golokoka olye.
6
N'atunula, kale, laba, omugaati ogwokeddwa ku manda nga guli emitwetwe n'akasumbi ak'amazzi. N'alya n'anywa n'agalamira nate.
7
Malayika wa Mukama n'ajja nate omulundi ogwokubiri n'amukomako n'ayogera nti Golokoka olye; sikulwa ng'olugendo lukulemerera, kubanga lukyali luwanvu.
8
N'agolokoka n'alya n'anywa, n'atambula mu maanyi ag'emmere eyo ennaku ana (40) emisana n'ekiro okutuusa lweyatuuka e Kolebu olusozi lwa Katonda.
9
Bwe yatuukayo n'ayingira mu mpuku n'asula omwo; awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira, n'amubuuza nti Okola ki wano, Eriya?
10
N'amuddamu nti Nkwatiddwa obuggya bungi ku lwa Mukama Katonda ow'eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo, basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n'ekitala: nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n'obulamu bwange babunoonya okubuggyawo.
11
Mukama n'amugamba nti Fuluma oyimirire ku lusozi mu maaso gange. Kale, laba, Mukama n'ayitawo, embuyaga nnyingi ez'amaanyi ne zimenya ensozi ne zaasa enjazi mu maaso ga Mukama; naye Mukama nga tali mu mbuyaga: awo oluvannyuma lw'embuyaga kikankano kya nsi; naye Mukama nga tali mu kikankano ky'ensi:
12
awo oluvannyuma lw'ekikankano muliro; naye Mukama nga tali mu muliro: awo oluvannyuma lw'omuliro ddoboozi ttono lya ggonjebwa.
13
Awo Eriya bwe yawulira akaloboozi ako, ne yeebikka ku maaso omunagiro gwe, n'afuluma empuku, n'ayimirira ku mulyango gwayo. Olwo n'awulira eddoboozi nga limubuuza nti Okola ki wano, Eriya?
14
N'addamu nti Nkwatiddwa obuggya bungi ku lwa Mukama Katonda ow'eggye; kubanga abaana ba Isiraeri balese endagaano yo, basudde ebyoto byo, era basse bannabbi bo n'ekitala; nange, nze nzekka, nze nsigaddewo; n'obulamu bwange babunoonya okubuggyawo.
15
Awo Mukama n'amugamba nti Ddayo mu kkubo ery'eddungu erigenda e Ddamasiko: bw'otuukangayo ofukanga amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w'e Busuuli:
16
Yeeku mutabani wa Nimusi omufukangako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: ne Erisa mutabani wa Safati ow'e Aberumekola omufukangako amafuta okuba nnabbi mu kifo kyo.
17
Awo olulituuka oyo anaawonanga ekitala kya Kazayeeri Yeeku anaamuttanga: n'oyo anaawonanga ekitala kya Yeeku Erisa anaamuttanga.
18
Naye ndyesigalizaawo abantu kasanvu (7,000) mu Isiraeri, bonna abatafukaamiriranga Baali, era abatamunywegerangako.
19
Awo Eriya n'avaayo n'asanga Erisa mutabani wa Safati eyali ng'alima ng'alina mu maaso ge emigogo gy'ente kkumi n'ebiri (12), ye nga alimisa ogw'ekkumi n'ebiri (12), awo Eriya n'agenda waali n'amusuulako omunagiro gwe.
20
Erisa n'alekawo ente, n'adduka mbiro n'agoberera Eriya, n'amugamba nti Nkwegayiridde, ka mmale okugenda nsiibule kitange ne mmange, ndyoke nkugoberere. N'amugamba nti Kale genda sinnakugaana.
21
Erisa n'asooka alekayo okugoberera Eriya, n'addira omugogo gw'ente n'azitta, n'afumba ennyama yaazo nga akozesa ebikoliggo byazo nga enku, n'agabira abantu ne balya. Awo n'asituka n'agenda n'agoberera Eriya n'amuweerezanga.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22