bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Kings 22
1 Kings 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
1
Awo ne bamala emyaka esatu nga tewali lutalo wakati w'Obusuuli ne Isiraeri.
2
Awo olwatuuka mu mwaka ogwokusatu Yekosafaati kabaka wa Yuda n'agenda eri kabaka wa Isiraeri.
3
Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba abaddu be nti Mumanyi nga Lamosugireyaadi kyaffe, lwaki tusirisse ne tutakiggya mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli?
4
Kabaka wa Isiraeri n'abuuza Yekosafaati nti Onoogenda nange e Lamosugireyaadi okulwana? Yekosafaati n'addamu nti Nze naawe ffe bamu. Abantu bange be bamu n'ababo, era n'embalaasi zange ze zimu n'ezizo.
5
Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nkwegayiridde, sooka weebuuze ku Mukama owulire ky'agamba.
6
Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi abasajja ng'ebikumi bina (400), n'ababuuza nti Ntabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? Ne baddamu nti Genda; kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.
7
Naye Yekosafaati n'ayogera nti Tewali wano nate nnabbi wa Mukama, tumubuuze?
8
Kabaka wa Isiraeri n'addamu Yekosafaati nti Waliwo nate omusajja omu gwetuyinza okubuulizaamu Mukama, Mikaaya mutabani wa Imula: naye mmukyawa; kubanga tandagulako birungi wabula ebibi. Yekosafaati n'ayogera nti Kabaka aleme okwogera bw'atyo.
9
Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita omumbowa n'ayogera nti Yanguwa okime Mikaaya mutabani wa Imula.
10
Era kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula buli muntu ku ntebe ye nga bambadde ebyambalo byabwe, mu mbuga eri ku mulyango gwa wankaaki w'e Samaliya; bannabbi bonna ne balagulira mu maaso gaabwe.
11
Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ebyuma n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olitomera Abasuuli na gano okutuusa lwe balimalibwawo.
12
Ne bannabbi bonna ne balagula bwe batyo, nga boogera nti Genda e Lamosugireyaadi olabe omukisa: kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.
13
Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'agamba Mikaaya nti Bannabbi abalala bonna ebigambo bye boogedde ku kabaka birungi. Balanze nti kabaka ajja kuwangula. Nkwegayiridde naawe ekigambo ky'onooyogera kibe ng'ebyabwe, oyogere birungi.
14
Awo Mikaaya n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, Mukama ky'anaŋŋamba ekyo kye nnaayogera.
15
Awo bwe yatuuka eri kabaka, kabaka n'amubuuza nti Mikaaya, tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo? N'amuddamu nti Yambuka olabe omukisa; era Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.
16
Awo kabaka n'amugamba nti Naakulayiza emirundi emeka obutambuulira kirala kyonna wabula amazima mu linnya lya Mukama?
17
N'ayogera nti Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'ayogera nti Abo tebalina mukama waabwe; baddeyo buli muntu mu nnyumba ye mirembe.
18
Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Saakugambye nti taalagule birungi ku nze wabula ebibi?
19
Mikaaya ne yeeyongera okugamba nti Kale wulira ekigambo kya Mukama. Ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye ey'obwakabaka, ng'eggye lyonna ery'omu ggulu liyimiridde ku ludda lwe olwa ddyo n'olwa kkono.
20
Mukama n'abuuza nti Ani anaasendasenda Akabu agende e Lamosugireyaadi attibwe? Omu n'ayogera kino, omulala n'ayogera kiri.
21
Awo ne wafuluma omuzimu ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti Nze n'amusendasenda.
22
Mukama n'agugamba nti Otya? Ne gwogera nti N'afuluma ne mbeera omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna. Naayogera nti Ggwe onoomusendasenda n'okusobola onoosobola: fuluma okole bw'otyo.
23
Kale nno, laba, Mukama atadde omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano bonna: era Mukama akwogeddeko by'akabi.
24
Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n'asembera n'akuba Mikaaya oluyi, n'ayogera nti Omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okwogera naawe?
25
Mikaaya n'amuddamu nti Ekyo olikitegeera olwo bwoliyingira mu kisenge eky'omunda okwekweka.
26
Awo kabaka wa Isiraeri n'alagira nti Mukwate Mikaaya mumuzzeyo eri Amoni omukulu w'ekibuga n'eri Yowaasi mutabani wa kabaka;
27
mubagambe nti kabaka alagidde nti Olusajja luno muluteeke mu kkomera mululiisenga emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okulaba ennaku, okutuusa lwe ndikomawo emirembe.
28
Awo Mikaaya n'agamba nti Bw'oli komawo emirembe, nga Mukama tayogeredde mu nze. N'ayongerako nti Muwulire, abantu mmwenna, kye njogedde.
29
Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bagenda e Lamosugireyaadi.
30
Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Nja kwefuula nnyingire mu lutalo; naye ggwe yambala ebyambalo byo. Awo kabaka wa Isiraeri ne yeefuula n'ayingira mu lutalo.
31
Awo kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaduumizi asatu mu babiri (32) ab'amagaali ge nti Temulwana na bato newakubadde abakulu, wabula mulwanyise kabaka wa Isiraeri yekka.
32
Awo abaduumizi b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne balowooza nti ye kabaka wa Isiraeri, ne bakyuka okumulwanyisa. Yekosafaati n'alaajana nnyo.
33
Abaduumizi b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isiraeri, ne bamuleka.
34
Awo ne wabaawo omuntu eyanaanuula omutego gwe nga tagenderedde n'alasa akasaale, ne kakwasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby'ebyuma we bigattira: kyeyava agamba omugoba w'eggaali lye nti Kyusa eggaali lyo onzigye mu lutalo; kubanga nfumitiddwa nnyo.
35
Olutalo ne lunyinyittira nnyo ku lunaku olwo: kabaka ne bamukwatirira mu ggaali lye okulwana n'Abasuuli: omusaayi ne guva mu kiwundu ne gukulukutira munda mu ggaali: n'afa akawungeezi ako.
36
Enjuba ng'eneetera okugwa, ne kirangirirwa mu ggye lyonna erya Isiraeri nti: Buli muntu addeyo mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu kibuga ky'ewaabwe.
37
Bwatyo kabaka n'afa, n'atwalibwa e Samaliya n'aziikibwa.
38
Ne booleza eggaali ku kidiba kye Samaliya, abenzi gye baanabiranga, embwa ne zikomba omusaayi gwe ng'ekigambo kya Mukama kye yayogera bwe kyali.
39
N'ebirala byonna Akabu bye yakola, n'ennyumba gye yazimba n'agitimba n'amasanga, n'ebibuga byonna bye yazimba, byawandiikibwa mu kitabo ky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
40
Awo Akabu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Akaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.
41
Awo Yekosafaati mutabani wa Asa n'atandika okufuga Yuda mu mwaka ogwokuna ogwa Akabu kabaka wa Isiraeri.
42
Yekosafaati yali awezzeza emyaka asatu mu etaano (35) bwe yalya obwakabaka: n'afugira emyaka abiri mu etaano (25) mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye lyali Azuba muwala wa Siruki.
43
Awo Yekosafaati n'atambuliranga mu kkubo lyonna erya Asa kitaawe; n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi: naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka ne bootereza obubaane mu bifo ebigulumivu.
44
Era Yekosafaati n'atabagana ne kabaka wa Isiraeri.
45
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati n'amaanyi ge ge yalaga era bwe yalwana byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda.
46
N'abaalyanga ebisiyaga abaasigalawo ku mirembe gya kitaawe Asa n'abamalirawo ddala mu nsi.
47
Mu kiseera ekyo, ensi ya Edomu teyalina kabaka, wabula yafugibwanga musigire eyateekebwangawo kabaka wa Yuda.
48
Yekosafaati n'asindika empingu ez'e Talusiisi okugenda e Ofiri okuggyayo zaabu: naye ne zitatuuka kubanga zaamenyekera e Ezyonigeba.
49
Awo Akaziya mutabani wa Akabu n'agamba Yekosafaati nti Abaddu bange bagende mu mpingu ya maato. Naye Yekosafaati n'agaana.
50
Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne Dawudi jjajjaawe: awo Yekolaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
51
Akaziya mutabani wa Akabu n'atandika kufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu (17) ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'afugira Isiraeri emyaka ebiri.
52
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kkubo lya nnyina ne mu kkubo lya Yerobowaamu mutabani wa Nebati mwe yayonoonyesa Isiraeri.
53
N'aweereza Baali n'amusinza n'asunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri mu ngeri y'emu nga kitaawe bwe yakola.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22