bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 1
1 Kings 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 2 →
1
Kabaka Dawudi yali akaddiye nnyo, era newaakubadde baamubikkanga bulangiti eziwerako, kyokka nga tabuguma.
2
Abaweereza be, kyebaava bamugamba nti: “Mukama waffe, ka tukunoonyezeeyo omuwala omuto embeerera, abeerenga naawe, akulabirirenga, era yeebakenga wamu naawe, akubugumye.”
3
Ne banoonya mu Yisirayeli yonna omuwala omulungi mu ndabika ye, era mu Sunemu ne bazuulayo omuwala, erinnya lye Abisaagi, ne bamuleeta eri kabaka.
4
Omuwala oyo yali mulungi nnyo mu ndabika. N'aweerezanga kabaka, era n'amulabiriranga, wabula kabaka n'atamufuula mukazi we.
5
Awo omulangira Adoniya, nga nnyina ye Haggiti, ne yeekulumbaza, n'agamba nti: “Nze ndisikira obwakabaka!” Ne yeetegekera amagaali n'abeebagala embalaasi, n'abasajja amakumi ataano abaddusi okumukulemberangamu.
6
Kitaawe teyamunenyaako n'akatono, kumugamba nti: “Lwaki okola bw'otyo?” Adoniya oyo yali musajja mulungi nnyo mu ndabika ye, era ye yali muto w'omulangira Abusaalomu, era nga ye amuddako.
7
Adoniya n'ateesa ne Yowaabu mutabani w'omukazi ayitibwa Zeruyiya, era ne Abiyataari kabona, abo ne baba abawagizi be, abamuyamba.
8
Kyokka Zaddooki Kabona, ne Benaaya mutabani wa Yehoyaada ne Natani Omulanzi, ne Simeeyi, ne Reeyi, n'abasajja ba Dawudi abazira, bo tebaali ku ludda lwa Adoniya.
9
Lwali lumu Adoniya n'aweerayo ekitambiro eky'endiga n'ente n'ennyana ezassava ku lwazi oluyitibwa olw'Emisota, okumpi ne Eni-Rogeli, n'ayita baganda be bonna, abaana ba kabaka, n'abakungu ba kabaka bonna mu Buyudaaya,
10
kyokka Natani Omulanzi, ne Benaaya, n'abasajja abazira, ne Solomooni muganda we, n'atabayita.
11
Awo Natani omulanzi n'agamba Batuseba nnyina Solomooni nti: “Towulidde Adoniya mutabani wa muggya wo Haggiti bwe yeefudde kabaka, nga mukama waffe Dawudi tamanyi?
12
Kale kaakano okusobola okuwonya obulamu bwo n'obwa mutabani wo, nkuwa amagezi
13
ogende mangu eri Kabaka Dawudi, omugambe nti: ‘Mukama wange kabaka, tewandayirira nze omuzaana wo, nti mutabani wange Solomooni ye alikusikira, era ye alituula ku ntebe yo ey'obwakabaka ng'ovuddewo? Kale ate Adoniya afuuse atya kabaka?’
14
Awo bw'onooba okyali eyo ng'oyogera ne kabaka, nange nja kuyingira, nkakase ebigambo byo.”
15
Awo Betuseba n'agenda eri kabaka mu kisenge. Kabaka yali akaddiye nnyo, era nga Abisaagi, omuwala eyava e Sunemu, ye amulabirira.
16
Awo Betuseba n'akutama, n'afukaamirira kabaka. Kabaka n'amubuuza nti: “Oyagala ki?”
17
Betuseba n'addamu nti: “Mukama wange, nze omuzaana wo, wandayirira Mukama, Katonda wo, nti mutabani wange Solomooni ye alikusikira, era ye alituula ku ntebe yo ey'obwakabaka.
18
Kyokka Adoniya wuuli yafuuse dda kabaka, nga ggwe mukama wange kabaka tomanyi.
19
Era awaddeyo ekitambiro eky'ente n'ennyana ezassava n'endiga mu bungi, era ayise abaana bo bonna, ne Abiyataari kabona, ne Yowaabu omukulu w'eggye, wabula Solomooni omuweereza wo, ye tamuyise.
20
Mukama wange kabaka, Abayisirayeli bonna batunuulidde ggwe, obabuulire ow'okukusikira ku bwakabaka ng'ovuddewo.
21
Bw'otookole bw'otyo, ggwe mukama wange kabaka bw'olikisa omukono, ne weegatta ku bajjajjaabo, nze ne mutabani wange tuliyitibwa abaalyamu ensi yaabwe olukwe.”
22
Batuseba yali akyayogera ne kabaka, Natani omulanzi n'atuuka.
23
Ne bategeeza kabaka nti: “Natani omulanzi wuuno azze.” Natani n'ayingira awali kabaka, n'avuunama mu maaso ga kabaka.
24
Natani n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, walangirira nti Adoniya ye alikusikira, era nti ye alituula ku ntebe yo ey'obwakabaka?
25
Olwaleero luno lwennyini, agenze n'awaayo ekitambiro eky'ente n'ennyana ezassava, n'endiga mu bungi, era ayise abaana bo bonna, ayi kabaka, n'abakulu mu ggye, ne Abiyataari kabona. Bali eri balya era banywera mu maaso ge, nga bagamba nti: ‘Kabaka Adoniya, wangaala!’
26
Kyokka nze omuweereza wo, ne Zaddooki kabona, ne Benaaya mutabani wa Yehoyaada, ne Solomooni omuweereza wo, teyatuyise.
27
Mukama wange kabaka, ggwe wakoze ekyo, nga tobuuliddeeko baweereza bo kubamanyisa alikusikira ku ntebe yo ey'obwakabaka ng'ovuddewo?”
28
Awo Kabaka Dawudi n'addamu nti: “Mpitira Batuseba.” Batuseba n'ajja n'ayimirira mu maaso ga kabaka.
29
Kabaka n'alayira nti: “Mu mazima ga Mukama Omulamu, eyamponya mu buli kabi konna,
30
mazima olwaleero nja kukola nga bwe nakulayirira Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nti Solomooni mutabani wo ye alinsikira ku bwakabaka, era ye alidda mu kifo kyange, atuulenga ku ntebe yange.”
31
Awo Batuseba n'akutama, n'afukaamirira kabaka, n'agamba nti: “Mukama wange Kabaka Dawudi, wangaala!”
32
Awo Kabaka Dawudi n'atumya Zaddooki kabona, ne Natani omulanzi, ne Benaaya mutabani wa Yehoyaada.
33
Kabaka n'abagamba nti: “Mugende wamu n'abaweereza bange, ku nnyumbu eyange yennyini kwe muba mwebagaza Solomooni mutabani wange, muserengete wamu naye e Gihoni,
34
Zaddooki kabona, ne Natani omulanzi, bamufukireko eyo omuzigo, okuba kabaka wa Yisirayeli. Mufuuwe ekkondeere, mulangirire nti: ‘Kabaka Solomooni awangaale!’
35
Olwo mulyoke mwambuke, nga mujja mumugoberera, ajje wano, atuule ku ntebe yange ey'obwakabaka, abe kabaka mu kifo kyange, kubanga ye gwe ntaddewo okuba omufuzi wa Yisirayeli ne Buyudaaya.”
36
Benaaya mutabani wa Yehoyaada n'addamu nti: “Kikolebwe bwe kityo. Era Mukama, Katonda wo, ayi mukama wange kabaka, akikakase.
37
Nga Mukama bwe yabanga naawe, ayi mukama wange kabaka, era bw'atyo abeerenga ne Solomooni, era akulaakulanye obwakabaka bwe n'okusinga obubwo, ayi mukama wange Kabaka Dawudi!”
38
Awo Zaddooki kabona, ne Natani omulanzi, ne Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'abakuumi ba kabaka Abakereti n'Abapeleti, ne beebagaza Solomooni ennyumbu ya Kabaka Dawudi ne bamuserengesa e Gihoni.
39
Awo Zaddooki kabona n'aggya mu Weema ya Mukama ejjembe eriteekebwamu omuzigo, n'agufuka ku Solomooni. Ne bafuuwa ekkondeere, abantu bonna ne basaakaanya nti: “Kabaka Solomooni awangaale!”
40
Awo abantu bonna ne bambuka nga bamugoberera, ne bafuuwa endere, ne baleekaana olw'essanyu, ne bakankanya n'ettaka olw'okuyoogaana kwabwe.
41
Adoniya n'abagenyi be bonna be yayita, abaali naye, bwe baali nga bamaliriza okulya, ne bawulira oluyoogaano. Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly'ekkondeere, n'abuuza nti: “Okuyoogaana okwo kwonna mu kibuga kwa ki?”
42
Bwe yali ng'akyayogera, Yonataani mutabani wa Abiyataari kabona, n'ajja. Adoniya n'agamba nti: “Yingira, kubanga oli musajja mulungi, era n'amawulire g'oleese, malungi.”
43
Yonataani n'agamba Adoniya nti: “Nedda, si bwe kiri, kubanga mukama waffe Kabaka Dawudi ataddewo Solomooni okuba kabaka.
44
Atumye Zaddooki kabona ne Natani omulanzi, ne Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'abakuumi ba kabaka Abakereti n'Abapeleti, ne batwala Solomooni, ne bamwebagaza ku nnyumbu ya kabaka.
45
Era Zaddooki kabona, ne Natani omulanzi, bamufuseeko omuzigo e Gihoni okuba kabaka, ne bavaayo ne bambuka mu kibuga nga basanyuka, ekibuga n'okuwuuma ne kiwuuma. Olwo lwe luyoogaano lwe muwulidde.
46
Era Solomooni atudde, ateredde ku ntebe ey'obwakabaka.
47
N'ekirala, abakungu bazze okulanya ewa mukama waffe Kabaka Dawudi, ne bagamba nti: ‘Katonda wo afuule Solomooni mututumufu n'okusinga ggwe, era obwakabaka bwa Solomooni bukulaakulane n'okusinga obubwo.’ Kabaka Dawudi ne yeebaliza ku kitanda kye,
48
n'atendereza Katonda nti: ‘Mukama, Katonda wa Yisirayeli yeebazibwe, ataddewo olwaleero ow'okutuula ku ntebe yange ey'obwakabaka, era n'anzikiriza okuba omulamu okulaba ekyo.’ ”
49
Awo abagenyi ba Adoniya bonna be yayita ne batya, ne basituka, ne bagenda buli omu n'akwata lirye.
50
Adoniya olw'okutya ennyo Solomooni, n'asituka n'agenda, ne yeekwata ku mayembe g'alutaari.
51
Ne babuulira Solomooni nti: “Adoniya akutidde, ayi Kabaka Solomooni, era wuuli yeekutte ku mayembe g'alutaari ng'agamba nti: ‘Kabaka Solomooni andayirire olwaleero nga tajja kunzita, nze omuweereza we!’ ”
52
Solomooni n'agamba nti: “Bw'aneeyisa obulungi, tewali wadde oluviiri lwe olumu olunaggyibwa ku mutwe gwe. Kyokka bw'alizuulibwa nga yeeyisa bubi, olwo alittibwa.”
53
Awo Kabaka Solomooni n'atuma, ne baggya Adoniya ku alutaari. Adoniya n'ajja n'avuunamira Kabaka Solomooni. Solomooni n'amugamba nti: “Genda ewuwo.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22