bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 17
1 Kings 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 18 →
1
Mu kiseera ekyo Eliya ow'e Tisube, omu ku batuuze b'e Gileyaadi, n'agamba Kabaka Ahabu nti: “Mu mazima ga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, era Katonda omulamu gwe nsinza: tewaabenga musulo wadde enkuba mu myaka gino, wabula nga ŋŋambye nti bibeewo.”
2
Awo Mukama n'agamba Eliya nti:
3
“Va wano ogende ebuvanjuba, weekweke okumpi n'akagga Keriti, ebuvanjuba bwa Yorudaani.
4
Mu kagga mw'onoggyanga amazzi ag'okunywa, era ndagidde binnamuŋŋoona okukuleeteranga eyo ebyokulya.”
5
Eliya n'akola nga Mukama bwe yamulagira. N'agenda n'abeera okumpi n'akagga Keriti, ebuvanjuba bwa Yorudaani.
6
Binnamuŋŋoona ne bimuleeteranga emmere n'ennyama, era n'anywanga amazzi mu kagga.
7
Bwe waayitawo ekiseera, akagga ne kakalira, olw'enkuba obutatonnya mu nsi eyo.
8
Awo Mukama n'agamba Eliya nti:
9
“Situka ogende e Zarefaati eky'omu Sidoni, obeere eyo. Ndagidde omukazi nnamwandu okukuwa by'onoolyanga.”
10
Awo Eliya n'asituka, n'agenda e Zarefaati. Bwe yatuuka ku mulyango omunene ogw'ekibuga, n'asangawo omukazi nnamwandu ng'alonderera obuku. Eliya n'amuyita, n'agamba nti: “Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi mu bbakuli nnyweko.”
11
Omukazi bwe yali ng'agenda okugaleeta, Eliya n'amuyita n'amugamba nti: “Nkwegayiridde ndeeteraayo n'akatundu k'omugaati.”
12
Omukazi n'agamba nti: “Mu mazima ga Mukama, Katonda wo omulamu, sirinaayo mugaati wabula olubatu lw'obuwunga bw'eŋŋaano mu kabbo, n'otuzigo mu kasumbi. Era nzuuno nnondererayo ku buku, ŋŋende eka, nneefumbire akamere, nze n'omwana wange tukalye, n'oluvannyuma tufe enjala.”
13
Awo Eliya n'amugamba nti: “Totya. Genda okole nga bw'ogambye. Naye sooka onfumbireko akagaati okandeetere, n'oluvannyuma weefumbire ggwe n'omwana wo,
14
kubanga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti: ‘Obuwunga bw'eŋŋaano mu kabbo ako tebujja kuggwaamu, n'ensumbi y'omuzigo tejja kukalira, nga Ye Mukama tannatonnyesa nkuba ku nsi.’ ”
15
Awo omukazi n'agenda n'akola nga Eliya bw'amugambye, ye ne Eliya n'ab'awaka ne baba n'emmere okumala ekiseera kiwanvu.
16
Akabbo tekaggwaamu buwunga bwa ŋŋaano, n'akasumbi k'omuzigo tekaakalira. Ne biba nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Eliya.
17
Ebyo bwe byaggwa, omwana w'omukazi oyo nnannyini nnyumba, n'alwala. Obulwadde ne bunyiikirira ddala okumuluma, n'aggwaamu n'akassa.
18
Awo omukazi n'agamba Eliya nti: “Nakukola kabi ki ggwe omusajja wa Katonda? Wajja wano kunnumiriza bibi byange, na kutta mwana wange?”
19
Eliya n'amugamba nti: “Mpa eno omwana wo.” N'amuggya mu mikono gy'omukazi, n'amusitula n'amwambusa mu kisenge eky'omu kalinaabiri ye yennyini kye yasulangamu, n'amugalamiza ku kitanda kye.
20
Ne yeegayirira Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wange, otuusizza akabi ne ku nnamwandu ono ansuza, n'otta omwana we?”
21
Ne yeegolola ku mwana emirundi esatu. N'akoowoola Mukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wange, nkwegayiridde omwana ono addemu obulamu.”
22
Mukama n'akkiriza Eliya kye yasaba, omwana n'adda engulu, n'alamuka.
23
Awo Eliya n'akwata omwana n'amuggya mu kisenge ekya waggulu mu kalinaabiri, n'amuserengesa, n'amuwa nnyina, n'amugamba nti: “Omwana wo wuuno mulamu.”
24
Awo omukazi n'agamba Eliya nti: “Kaakano ntegeeredde ddala ng'oli musajja wa Katonda, era nga kyamazima Mukama ayogera ng'ayita mu ggwe.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22