bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 14
1 Kings 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 15 →
1
Mu biro ebyo, Abiya mutabani wa Yerobowaamu n'alwala.
2
Yerobowaamu n'agamba mukyala we nti: “Situka, weebuzeebuze oleme kumanyika nti ggwe muka Yerobowaamu, ogende e Siilo. Eyo ye wali Ahiya, omulanzi eyaŋŋamba nti ndiba kabaka w'abantu bano.
3
Otwale emigaati kkumi, ne capati, n'eccupa y'omubisi gw'enjuki, ogende gy'ali. Anaakubuulira omwana bw'anaabeera.”
4
Awo muka Yerobowaamu n'akola bw'atyo, n'asituka n'agenda e Siilo, n'ayingira mu nnyumba ya Ahiya. Ahiya yali takyayinza kulaba. Amaaso ge gaali gayimbadde olw'obukadde.
5
Mukama n'agamba Ahiya nti: “Muka Yerobowaamu wuuyo ajja okukwebuuzaako mutabani we bw'anaabeera, kubanga mulwadde. Ojja kumugamba bw'oti ne bw'oti, kubanga bw'anaatuuka, ajja kwefuula omukazi omulala.”
6
Awo Ahiya bwe yawulira enswagiro z'ebigere bya muka Yerobowaamu ng'atuuse ku mulyango ayingire, n'agamba nti: “Yingira ggwe muka Yerobowaamu. Lwaki weefuula omuntu omulala? Bye ntumiddwa okukugamba si birungi.
7
Genda otegeeze Yerobowaamu nti Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nakugulumiza, ne nkuggya mu bantu abaabulijjo, ne nkufuula omufuzi w'abantu bange Abayisirayeli.
8
Naggya obwakabaka ku b'ennyumba ya Dawudi, ne mbuwa ggwe. Naye tobadde ng'omuweereza wange Dawudi, eyakwata ebiragiro byange, n'annywererako n'omutima gwe gwonna, n'akolanga ebyo byokka bye nsiima.
9
Ggwe okoze ebibi okusinga bonna abaakusooka okufuga. Onkubye amabega n'ogenda weekolera balubaale, n'ebifaananyi mu bintu ebisaanuuse, n'osinza ebyo, n'onsunguwaza.
10
N'olwekyo nja kutuusa akabi ku b'ennyumba yo ggwe Yerobowaamu, mmalirewo ddala mu Yisirayeli buli wa lulyo lwo ow'obulenzi, omuto n'omukulu, era ndyererawo ddala ab'ennyumba yo, ggwe Yerobowaamu, ng'omuntu bw'ayerawo obusa okutuusa lwe buggwaawo bwonna.
11
Owuwo ggwe Yerobowaamu anaafiira mu kibuga, embwa zinaamulya, n'anaafiira ku ttale ebinyonyi binaamulya. Mukama ye ayogedde.’
12
“Kale situka oddeyo eka. Ggwe olunaatuuka bw'oti mu kibuga, omwana ajja kufa.
13
Abantu bonna mu Yisirayeli bajja kumukungubagira, bamuziike. Ku ba Yerobowaamu, oyo yekka ye ajja okuziikibwa kubanga mu nnyumba ya Yerobowaamu, oyo ye asangiddwamu akalungi akasiimibwa Mukama, Katonda wa Yisirayeli.
14
Mukama agenda kweteerawo kabaka okufuga Yisirayeli. Kabaka oyo alimalawo ab'ennyumba ya Yerobowaamu ku lunaku olwo. Naye omanyi? Ne kaakano
15
Mukama ajja kubonereza Yisirayeli ng'engezi bw'enyeenya ekitoogo mu mazzi, era aliggya Abayisirayeli mu nsi eno ennungi gye yawa bajjajjaabwe, abasaasaanyize emitala w'Omugga Ewufuraate, kubanga bamusunguwazizza nga beekolera ebifaananyi bya Asera, lubaale omukazi.
16
Mukama ajja kwabulira Yisirayeli olw'ebibi bya Yerobowaamu bye yakola, ne bye yakozesa Abayisirayeli.”
17
Awo muka Yerobowaamu n'asituka n'agenda, n'atuuka e Tiruza. Bwe yali ayingira bw'ati mu mulyango gw'ennyumba, omwana n'afa.
18
Ne bamuziika. Yisirayeli yonna n'emukungubagira nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu muweereza we Ahiya omulanzi.
19
N'ebirala byonna Yerobowaamu bye yakola, entalo ze yalwana, n'engeri gye yafugamu, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
20
Ekiseera Yerobowaamu kye yafugira, kyali emyaka amakumi abiri mu ebiri, n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, Nadabu mutabani we n'amusikira.
21
Rehobowaamu mutabani wa Solomooni yafuuka kabaka wa Buyudaaya nga wa myaka amakumi ana mu gumu, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemu, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bibuga byonna eby'Ebika bya Yisirayeli okumusinzizangamu. Nnyina Rehobowaamu yali Naama, nga Mwammoni.
22
Ab'omu Buyudaaya ne bakola ebibi ebisinga ebya bajjajjaabwe bonna bye baakola, ne banyiiza Mukama, ne bamusunguwaza.
23
Nabo beezimbira ku buli lusozi oluwanvu, ne wansi wa buli muti ogw'ekisiikirize, ebifo ebigulumivu eby'okusinzizangamu balubaale, n'empagi ez'amayinja era n'ebifaananyi bya Asera, lubaale omukazi.
24
Era mu nsi eyo mwalimu abasajja abaakolanga ebibi by'obwamalaaya ku basajja bannaabwe. Ne bakolanga byonna ebyenyinyalwa eby'ab'amawanga amalala Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli bajja okugibeeramu.
25
Awo mu mwaka ogwokutaano ogw'obwakabaka bwa Rehobowaamu, Sisaki kabaka w'e Misiri n'ajja n'alumba Yerusaalemu.
26
N'anyaga ebyobugagga eby'omu Ssinzizo n'eby'omu lubiri lwa kabaka, byonna n'abitwala. N'atwala n'engabo zonna eza zaabu, Solomooni ze yali aweesezza.
27
Kabaka Rehobowaamu n'aweesa engabo ez'ekikomo okudda mu kifo ky'ezo, n'azikwasa abakulu b'abaggazi, abaakuumanga wankaaki w'olubiri lwe.
28
Kabaka buli lwe yayingiranga mu Ssinzizo, abakuumi nga bazikwata ne bazisitula, n'oluvannyuma ne bazizzaayo mu nnyumba yaabwe.
29
N'ebirala byonna Rehobowaamu bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo eky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
30
Ekiseera kyonna, waabangawo entalo wakati wa Rehobowaamu ne Yerobowaamu.
31
Rehobowaamu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe, mu Kibuga kya Dawudi. Nnyina Rehobowaamu yali Naama, nga Mwammoni. Mutabani we Abiyaamu n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22