bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 4
1 Kings 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 5 →
1
Awo Solomooni n'aba kabaka wa Yisirayeli yonna,
2
era bano be bakungu abakulu be yalina: Azariya mutabani wa Zaddooki ye yali kabona.
3
Elihoorefu ne Ahiya batabani ba Sisa be baali abawandiisi abakulu. Yehosafaati mutabani wa Ahiluudi ye yali omuwandiisi w'ebibaawo.
4
Benaaya mutabani wa Yehoyaada ye yali omukulu w'eggye. Zaddooki ne Abiyataari be baali bakabona.
5
Azariya mutabani wa Natani, ye yali akulira abaami. Zaabuudi mutabani wa Natani, yali kabona era mukwano gwa kabaka.
6
Ahisaari ye yali akulira abaweereza b'omu lubiri. Adoniraamu mutabani wa Abude ye yali nnampala w'abakozesebwa n'obuwaze.
7
Kabaka Solomooni yalina abaami kkumi na babiri nga be bakulira Yisirayeli yonna. Be baalabiranga kabaka n'ab'omu lubiri lwe ebyokulya, buli omu ku bo ng'asolooza ebyokulya bya mwezi gumu buli mwaka.
8
Gano ge mannya gaabwe: Beenihuri, eyalabiriranga ensi ya Efurayimu ey'ensozi,
9
Beenidekeri eyalabiriranga ebibuga Maakazi, ne Saalubimu ne Betisemesi, ne Eloni, ne Beeti Hanani.
10
Beenihesedi eyalabiriranga ebibuga Arubooti ne Sooko, n'ensi yonna ey'e Heferi.
11
Beenabinaadabu eyawasa Taafati muwala wa Solomooni, ye yali alabirira ekitundu kyonna ekigulumivu eky'e Doori.
12
Baana mutabani wa Ahiluudi ye yalabiriranga Taanaki e Megiddo, n'ekitundu kyonna eky'e Beeti Seyani ekiriraanye ekibuga Zaretaani, mu bukiikaddyo bw'ekibuga Yezireeli, era okuva e Beeti Seyani okutuuka ku kibuga Abeeli Mehola n'okuyisa ekibuga Yokumeyaamu.
13
Beenigeberi ye yalabiriranga ekibuga Ramoti mu Gileyaadi n'ebyalo bya Yayiri mutabani wa Manasse ebiri mu Gileyaadi, n'ekitundu ky'e Arugobu mu Basani, ebibuga nkaaga ebiriko ebigo ebigumu era n'ebisiba enzigi eby'ekikomo.
14
Ahinadaabu mutabani wa Yiddo ye yalabiriranga ebitundu by'e Mahanayimu.
15
Ahimaazi eyawasa Basemati, omulala ku bawala ba Solomooni, ye yalabiriranga ekitundu ky'e Nafutaali.
16
Baana mutabani wa Husaayi, ye yalabiriranga ekitundu ky'e Aseri n'ekibuga Beyalooli.
17
Yehosafaati mutabani wa Paruwa ye yalabiriranga ekitundu ky'e Yissakaari.
18
Simeeyi mutabani wa Ela ye yalabiriranga ekitundu ky'e Benyamiini.
19
Geberi mutabani wa Wuri ye yalabiriranga Gileyaadi eyali ensi ya Sihoni kabaka w'Abaamori ne Ogi kabaka w'e Basani. Era waaliwo omwami omu alabirira Buyudaaya yonna.
20
Abantu mu Buyudaaya ne mu Yisirayeli baali bangi nnyo ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Baabanga balya, nga banywa era nga basanyuka.
21
Awo Solomooni n'afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Ewufuraate okutuuka ku nsi y'Abafilistiya n'okutuuka ku nsalo ne Misiri. Baamuwanga omusolo, era nga bamuweereza mu bbanga ery'obulamu bwe bwonna.
22
Ebyokulya bye baasoloolezanga Solomooni ebyetaagibwanga buli lunaku, byabanga kilo kakaaga mu lukaaga ez'obuwunga bw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, ne kilo omutwalo gumu mu enkumi ssatu mu bibiri ez'obuwunga obulala,
23
ente kkumi ezassava, n'ente amakumi abiri ez'omu ddundiro eryabulijjo, n'endiga kikumi, nga tobaliddeeko njaza na mpeewo na nnangaazi n'enkoko ensava.
24
Solomooni yafuganga ensi yonna ey'ebugwanjuba bw'Omugga Ewufuraate, okuva ku Tifusa okutuuka e Gaaza, ng'afugiramu ne bakabaka baamu, era yali mirembe n'ensi zonna ezimwetoolodde.
25
Mu bbanga ery'obulamu bwe, abantu bonna mu Buyudaaya ne mu Yisirayeli, baali mirembe okuva e Daani okutuuka e Betuseba, buli omu ng'alina ennimiro ye ey'emizabbibu n'ey'emitiini.
26
Solomooni yalina embalaasi emitwalo ena mu bisibo bye, ez'okusika amagaali ge. Yalina n'abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri abeebagala embalaasi.
27
Abaami be abo ekkumi n'ababiri buli omu mu mwezi ogwamuweebwa, be baalabiranga Kabaka Solomooni emmere gye yeetaaga ye n'abo bonna abaalyanga ku lujjuliro lwe. Tebaaganyanga kintu na kimu kubulawo.
28
Baaleetanga ne bbaale n'omuddo eby'embalaasi zonna n'eby'ezo ez'okudduka embiro, wonna we byabanga byetaagibwa, buli omu nga bwe yabanga alagiddwa.
29
Katonda n'awa Solomooni amagezi n'okutegeera mu ngeri esukkiridde era eteyinza kugeraageranyizika.
30
Amagezi ga Solomooni ne gasinga amagezi gonna ag'abantu b'Ebuvanjuba n'ag'abagezi ab'e Misiri.
31
Solomooni ye yali asinga abantu bonna okuba omugezi. Yasinga Etani Omwezera ne Hemani, ne Kalukoli, ne Daruda, batabani ba Mahooli, n'ayatiikirira mu mawanga gonna ageetooloddewo.
32
Yayiiya engero enkumi ssatu, n'ennyimba lukumi mu ttaano.
33
N'ayogera ku miti n'ebimera, okuva ku muvule ogw'oku Lebanooni, okutuuka ku yisopu, akamera ku bisenge. Yayogera ne ku nsolo, ne ku binyonyi, ne ku byewalula era ne ku byennyanja.
34
Bakabaka ab'ensi zonna ne bawulira ku magezi ge, ne batuma abantu okumuwuliriza.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22