bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 2
1 Kings 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 3 →
1
Awo Dawudi bwe yali ng'anaatera okufa, n'akuutira Solomooni mutabani we ng'amugamba nti:
2
“Ekiseera kyange eky'okufa ng'abantu bonna bwe bateekwa okufa, kituuse. Kale beera mugumu, weerage bw'oli omusajja,
3
era okolenga ebyo Mukama, Katonda wo by'akulagira, okwatenga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye, na byonna bye yakuutira, nga bwe byawandiikibwa mu Mateeka ga Musa, olyoke obenga n'omukisa mu byonna by'okola, yonna gy'onoogendanga,
4
Mukama alyoke atuukirize kye yansuubiza, bwe yagamba nti tewaabulengawo wa zzadde lyange afuga Yisirayeli, kasita ab'ezzadde lyange baneegenderezanga bye yalagira, ne babikwata n'omutima gwabwe gwonna, n'omwoyo gwabwe gwonna.
5
“N'ekirala, omanyi n'ekyo Yowaabu mutabani w'omukazi ayitibwa Zeruyiya kye yankola, bwe yatta abaduumizi b'eggye lya Yisirayeli ababiri Abuneeri mutabani wa Neeri, ne Amasa mutabani wa Yeteri. Yabatemulira mu biseera eby'emirembe, ng'awoolera eggwanga olw'abantu abattirwa mu ntalo, bw'atyo n'andeetera okuvunaanibwa ogw'okutta abantu abatalina musango.
6
Eky'okukola okimanyi. Tomulekanga kwefiira mirembe mu bukadde bwe.
7
“Naye oyisanga bulungi batabani ba Baruzillayi Omugileyaadi, era babenga mu abo b'onoowanga ebibayimirizaawo, kubanga bambudaabuda bwe nadduka Abusaalomu muganda wo.
8
“Era waliwo Simeeyi mutabani wa Geera Omubenyamiini ow'e Bahurimu, eyanvuma obubi ennyo, ku lunaku lwe nagenda e Mahanayimu. Kyokka bwe yajja okunsisinkana ku Mugga Yorudaani, namulayirira Mukama nga mmukakasa nti: ‘Sijja kukutta’
9
Kale nno tomusonyiwanga. Oli musajja mugezi, era omanyi eky'okumukolako. Tolemanga kumutta wadde akaddiye.”
10
Awo Dawudi n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi.
11
Yali afugidde Yisirayeli emyaka amakumi ana. Yafugira emyaka musanvu mu Heburooni, n'afugira emyaka amakumi asatu mu esatu mu Yerusaalemu.
12
Awo Solomooni n'asikira Dawudi kitaawe ku bwakabaka, obwakabaka ne bunywerera ddala.
13
Awo Adoniya, nnyina nga ye Haggiti, n'ajja eri Batuseba, nnyina Solomooni. Batuseba n'amubuuza nti: “Ozze lwa mirembe?” Adoniya n'addamu nti: “Yee, lwa mirembe.”
14
N'ayongerako nti: “Nnina kye njagala okukugamba.” Batuseba n'agamba nti: “Kyogere.”
15
Adoniya n'agamba nti: “Omanyi nga nze nali ow'okusikira obwakabaka, era abantu bonna mu Yisirayeli kye baali balindiridde. Naye muganda wange n'afuuka kabaka, kubanga Mukama bw'atyo bwe yayagala.
16
Kale kaakano nkusaba ekintu kimu, era nkwegayiridde tokinnyima.” Batuseba n'amugamba nti: “Kyogere.”
17
Adoniya n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, nsabira Kabaka Solomooni, kubanga ggwe tajja kukumma, ampe Abisaagi, omuwala eyava e Sunemu, abe mukazi wange.”
18
Batuseba n'agamba nti: “Kale nzikirizza. Nja kukwogererayo ewa kabaka.”
19
Awo Batuseba n'agenda eri Kabaka Solomooni okwogererayo Adoniya. Kabaka n'asituka okwaniriza nnyina era n'amuvuunamira. N'atuula ku ntebe ye. N'alagira ne baleetera nnyina entebe, nnyina n'atuula ku ludda lwa kabaka olwa ddyo.
20
Nnyina n'agamba nti: “Nnina akantu katono kamu ke njagala okukusaba. Tokannyima.” Kabaka n'amugamba nti: “Kansabe maama, sijja kukakumma.”
21
Batuseba n'agamba nti: “Adoniya muganda wo muwe Abisaagi eyava e Sunemu abe mukazi we.”
22
Kabaka Solomooni n'addamu nnyina nti: “Lwaki osabira Adoniya okuweebwa Abisaagi Omusunammu? Musabire nno n'obwakabaka, kubanga ye mukulu wange, ate nga ne Abiyataari kabona, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya, bali ku ludda lwe.”
23
Awo Kabaka Solomooni n'alayira Mukama nti: “Adoniya bw'atattibwe olw'ekyo ky'asabye, Katonda ambonereze n'obukambwe.
24
Ndayira Mukama omulamu annywezezza ku ntebe y'obwakabaka bwa kitange Dawudi, n'ampa obwakabaka, nze n'ab'ennyumba yange, mazima olwaleero Adoniya anattibwa.”
25
Awo Kabaka Solomooni n'atuma Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'agenda n'atta Adoniya.
26
Kabaka Solomooni n'agamba Abiyataari kabona nti: “Genda e Anatooti mu byalo byo. Osaanidde okuttibwa. Naye sijja kukutta kaakano, kubanga walabiriranga Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano bwe wali ne kitange Dawudi, era kubanga wabonyaabonyezebwa wamu naye.”
27
Awo Solomooni n'agoba Abiyataari ku mulimu gw'okuweereza Mukama mu bwakabona, bw'atyo n'atuukiriza ekyo Mukama kye yagamba ku b'ennyumba ya Eli mu Siilo.
28
Awo amawulire ago ne gatuuka ku Yowaabu, eyali akyuse n'agoberera Adoniya, wadde nga yali teyeegasse na Abusaalomu. Yowaabu n'addukira mu Weema ya Mukama, ne yeekwata ku mayembe g'alutaari.
29
Ne babuulira Kabaka Solomooni nti: “Yowaabu addukidde mu Weema ya Mukama, era wuuli ali ku alutaari.” Awo Solomooni n'atuma Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'amugamba nti: “Genda omutte.”
30
Benaaya n'atuuka ku Weema ya Mukama, n'agamba Yowaabu nti: “Kabaka akulagidde nti: ‘Fuluma.’ ” Yowaabu n'agamba nti: “Nedda, ka nfiire wano.” Benaaya n'addiza kabaka obubaka nti: “Agambye bw'atyi ne bw'atyi. Ddala bw'atyo bw'anzizeemu.”
31
Awo kabaka n'agamba Benaaya nti: “Kola nga bw'agambye. Mutte, omuziike, nze n'ab'ennyumba ya kitange tuleme kuvunaanibwa lwa bantu Yowaabu be yatta nga tebalina musango.
32
Mukama awoolere eggwanga ku ye, kubanga yakuba abasajja babiri, abaali abantu abalungi era abaalina ebisaanyizo okumusinga, abasajja abo, Abuneeri mutabani wa Neeri era omuduumizi w'eggye lya Yisirayeli, ne Amasa mutabani wa Yeteri era omuduumizi w'eggye lya Buyudaaya, n'abatta nga kitange Dawudi tategedde.
33
Okuttibwa kwabwe kunaavunaanibwanga Yowaabu oyo n'ezzadde lye ennaku zonna. Naye Dawudi n'ezzadde lye, n'abasika be ku ntebe ye ey'obwakabaka, Mukama anaabawanga emirembe ennaku zonna.”
34
Awo Benaaya mutabani wa Yehoyaada n'agenda n'akuba Yowaabu n'amutta, ne bamuziika ewuwe mu nsi ey'eddungu.
35
Awo kabaka n'assaawo Benaaya mutabani wa Yehoyaada okuba omuduumizi omukulu ow'eggye mu kifo kya Yowaabu. Kabaka era n'assaawo Zaddooki kabona mu kifo kya Abiyataari.
36
Awo kabaka n'atumya Simeeyi, n'amugamba nti: “Weezimbire ennyumba wano mu Yerusaalemu, obeere omwo. Togezanga n'ova mu kibuga, n'obaako awalala wonna w'olaga.
37
Kimanye awatali kubuusabuusa nti k'olivaayo n'osomoka Akagga Kidurooni, tolirema kuttibwa, era ggwe oliba weereetedde wekka okufa.”
38
Simeeyi n'agamba kabaka nti: “Ky'ogambye kirungi, ayi Ssaabasajja. Nga bw'ogambye, nange omuweereza wo bwe nnaakola.” Bw'atyo Simeeyi n'abeera mu Yerusaalemu ebbanga ggwanvu.
39
Naye bwe waayitawo emyaka esatu, babiri ku baddu be ne batoloka, ne bagenda eri Akisi mutabani wa Maaka, kabaka w'e Gaati. Abantu ne babuulira Simeeyi nti: “Abaddu bo babalabye, bali Gaati.”
40
Simeeyi n'asituka, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agenda e Gaati ewa Akisi okunoonya abaddu be. Bwe yatuukayo, n'abaggyayo.
41
Abantu ne babuulira Solomooni nti Simeeyi yava e Yerusaalemu n'agenda e Gaati era yakomawo.
42
Kabaka n'atumya Simeeyi, n'amugamba nti: “Saakulayiza Mukama, ne nkulumiriza nga ŋŋamba nti k'oliva e Yerusaalemu n'obaako awalala wonna w'olaga, kimanye awatali kubuusabuusa nga tolirema kufa? Tewakkiriza, n'oŋŋamba nti ky'owulidde kirungi?
43
Kale lwaki tokuumye kye walayirira Mukama, era lwaki omenye ekiragiro kye nakulagira?”
44
Kabaka n'ayongera okugamba Simeeyi nti: “Omanyi bulungi ebisobyo byonna bye wakola kitange Dawudi, Mukama kyanaava akubonereza.
45
Kyokka nze Solomooni, Mukama ajja kumpa omukisa, era ajja kunyweza mu maaso ge obwakabaka bwa Dawudi ennaku zonna.”
46
Awo kabaka n'alagira Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'afuluma n'akuba Simeeyi, n'amutta. Olwo Solomooni n'anywerera ddala ku bwakabaka.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22