bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 22
1 Kings 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
1
Awo ne bamala emyaka esatu nga tewali lutalo wakati wa Siriya ne Yisirayeli.
2
Naye mu mwaka ogwokusatu, Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya n'agenda ewa kabaka wa Yisirayeli.
3
Awo kabaka wa Yisirayeli n'agamba abakungu be nti: “Mumanyi nga Ramoti-Gileyaadi kyaffe. Naye lwaki tusirise ne tutakiggya mu mikono gya kabaka wa Siriya?”
4
N'abuuza Yehosafaati nti: “Onoogenda nange e Ramoti-Gileyaadi okulwana olutalo?” Yehosafaati n'amuddamu nti: “Nze naawe ffe bamu. Abantu bange be bamu n'ababo, era n'embalaasi zange ze zimu n'ezizo.”
5
Kyokka Yehosafaati era n'agamba kabaka wa Yisirayeli nti: “Nsaba omale kwebuuza ku Mukama, owulire ky'agamba.”
6
Awo kabaka wa Yisirayeli n'akuŋŋaanya abalanzi abasajja ng'ebikumi bina, n'ababuuza nti: “Nnumbe Ramoti-Gileyaadi oba sikirumba?” Ne baddamu nti: “Genda okirumbe, Mukama ajja kukikuwa okiwangule.”
7
Naye Yehosafaati n'agamba nti: “Tewakyaliwo wano mulanzi wa Mukama tumwebuuzeeko?”
8
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Wakyaliwo omusajja omu gwe tuyinza okuyitamu okwebuuza ku Mukama. Oyo ye Mikaaya, mutabani wa Yimula. Kyokka simwagala, kubanga talangangako birungi ku nze, wabula ebibi.” Yehosafaati n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, toyogera bw'otyo.”
9
Awo kabaka wa Yisirayeli n'ayita omukungu we, n'amugamba nti: “Yanguwa oleete wano Mikaaya mutabani wa Yimula.”
10
Kabaka wa Yisirayeli, ne Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya, nga bambadde ebyambalo byabwe eby'obwakabaka ne batuula buli omu ku ntebe ye ey'obwakabaka, mu mbuga eri okumpi n'omulyango omunene ogwa Samariya. Abalanzi bonna ne balanga mu maaso gaabwe.
11
Awo Zeddeekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ekyuma, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Amayembe gano g'oneeyambisa okulwanyisa Abasiriya okutuusa lw'olibasaanyaawo.’ ”
12
N'abalanzi abalala bonna ne balanga bwe batyo, nga bagamba nti: “Genda olumbe Ramoti-Gileyaadi, okiwangule. Mukama ajja kukikuwa okiwangule.”
13
Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'agamba Mikaaya nti: “Abalanzi abalala bonna ebigambo bye boogedde ku kabaka birungi. Balanze nti kabaka ajja kuwangula. Nkwegayirirdde naawe ekigambo ky'onooyogera kibe ng'ebyabwe, oyogere birungi.”
14
Kyokka Mikaaya n'agamba nti: “Mu mazima nga Mukama bw'ali omulamu, nja kwogera ekyo Mukama ky'anaŋŋamba okwogera.”
15
Mikaaya bwe yatuuka mu maaso ga kabaka, kabaka n'amubuuza nti: “Mikaaya, tulumbe Ramoti-Gileyaadi tukirwanyise, oba tulekeyo?” Mikaaya n'amuddamu nti: “Lumba, ojja kuwangula, Mukama ajja kukiwaayo mu mikono gyo, ayi Ssaabasajja!”
16
Awo kabaka n'amugamba nti: “Nnaakulayiza emirundi emeka obutambuulira kirala kyonna wabula amazima mu linnya lya Mukama?”
17
Mikaaya n'agamba nti: “Ndabye abaserikale ba Yisirayeli bonna nga basaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba, Mukama n'agamba nti: ‘Abantu abo tebalina mukulembeze, buli omu addeyo mirembe mu maka ge.’ ”
18
Awo kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Saakugambye nti taalange birungi ku nze, wabula ebibi?”
19
Mikaaya ne yeeyongera okugamba nti: “Kale wulira ekigambo kya Mukama. Ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye ey'obwakabaka, ng'eggye lyonna ery'omu ggulu liyimiridde ku ludda lwe olwa ddyo n'olwa kkono.
20
Mukama n'abuuza nti: ‘Ani anaasendasenda Ahabu ayambuke e Ramoti-Gileyaadi attibwe?’ Omu n'ayogera kino, omulala n'ayogera kiri.
21
Awo ne wavaayo omwoyo, ne guyimirira mu maaso ga Mukama, ne gugamba nti: ‘Nze nja kumusendasenda.’
22
Mukama n'agubuuza nti: ‘Mu ngeri ki?’ Ne guddamu nti: ‘Nja kugenda njogeze abalanzi be bonna eby'obulimba.’ Mukama n'agamba nti: ‘Ojja kusobola okumusendasenda. Genda okole bw'otyo.’ ”
23
Mikaaya n'afundikira ng'agamba nti: “Kale nno Mukama atadde omwoyo ogw'obulimba mu kamwa k'abalanzi bo bonna, era ggwe akwogeddeko bya kabi.”
24
Awo Zeddeekiya mutabani wa Kenaana, n'asemberera Mikaaya, n'amukuba oluyi n'amugamba nti: “Mwoyo wa Mukama yampitako atya n'ayogera naawe?”
25
Mikaaya n'addamu nti: “Ddala, ekyo olikimanya ku lunaku lw'oliyingirirako mu kisenge ekyomunda okwekweka.”
26
Awo kabaka wa Yisirayeli n'alagira nti: “Mukwate Mikaaya mumutwale ewa Amoni omukulu w'ekibuga, n'omulangira Yowaasi,
27
mubagambe nti: ‘Kabaka alagidde nti akasajja ako mukateeke mu kkomera. Emmere n'amazzi mukawe mpa we bizira, okutuusa nga nkomyewo mirembe.’ ”
28
Awo Mikaaya n'agamba nti: “Bw'olikomawo emirembe, nga Mukama tayogeredde mu nze.” N'ayongerako nti: “Muwulire, abantu mwenna, kye njogedde.”
29
Awo kabaka wa Yisirayeli ne Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya, ne balumba ekibuga Ramoti-Gileyaadi.
30
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Okuyingira mu lutalo, nze nja kugenda nga nneebuzizzabuzizza nfaanane ng'omuntu omulala, naye ggwe ojja kwambala ebyambalo byo eby'obwakabaka.” Awo ne bagenda mu lutalo, nga kabaka wa Yisirayeli yeebuzaabuzizza afaanana muntu mulala.
31
Kabaka wa Siriya yali alagidde abaduumizi b'amagaali ge amakumi asatu mu abiri ag'entalo nti: “Temulwanyisa muntu mulala yenna, omuto oba omukulu, wabula kabaka wa Yisirayeli yekka.”
32
Awo abaduumizi b'amagaali bwe baalaba Yehosafaati ne balowooza nti ye kabaka wa Yisirayeli, ne bakyuka okumulwanyisa. Yehosafaati n'alaajana nnyo.
33
Abaduumizi b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Yisirayeli, ne balekera awo okumuwondera.
34
Kyokka ne wabaawo omusajja omu eyasika omutego gwe, n'amala galasa akasaale, ne kakwasa kabaka wa Yisirayeli, awo ekyambalo kye eky'ekyuma we kigattira mu kifuba. Kabaka n'agamba omugoba w'eggaali lye nti: “Kyusa eggaali onzigye mu lutalo, kubanga banfumise.”
35
Olutalo ne lunyinnyittira nnyo ku lunaku olwo. Kabaka wa Yisirayeli ne bamukwatirira mu ggaali lye okwolekera Abasiriya. Omusaayi ne guva mu kiwundu kye ne gukulukutira mu ggaali lye, n'akisa omukono akawungeezi ako.
36
Enjuba ng'eneetera okugwa, ne kirangirirwa mu ggye lyonna erya Yisirayeli nti: “Buli muntu addeyo mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu kibuga ky'ewaabwe.”
37
Bw'atyo Kabaka Ahabu n'akisa omukono, n'aleetebwa e Samariya, n'aziikibwa.
38
Ne booleza eggaali lye ku kidiba ky'e Samariya, embwa ne zikomba omusaayi gwe, ne bamalaaya ne banaabira eyo, nga Mukama bwe yagamba.
39
N'ebirala byonna Ahabu bye yakola, n'ennyumba gye yazimba n'agitimba n'amasanga, n'ebibuga byonna bye yazimba, byawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
40
Bw'atyo Ahabu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, Ahaaziya mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
41
Mu mwaka ogwokuna nga Ahabu ye kabaka wa Yisirayeli, Yehosafaati mutabani wa Asa n'afuuka kabaka wa Buyudaaya.
42
Yali wa myaka asatu mu etaano, era yafugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemu. Nnyina yali Azuba, muwala wa Siluhi.
43
Yehosafaati yali wa mpisa nnungi nga Asa kitaawe. N'atazivaamu, n'akolanga ebirungi Mukama by'asiima. Wabula ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu tebyaggyibwawo. Abantu baasigala bakyaweerayo ebitambiro era nga bakyayotereza obubaane mu bifo ebyo.
44
Era Yehosafaati n'akola endagaano ey'emirembe ne kabaka wa Yisirayeli.
45
N'ebirala byonna Yehosafaati bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, n'entalo ze yalwana, byawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
46
Yehosafaati n'amalirawo ddala mu nsi ye abasajja abaakolanga obwamalaaya ku basajja bannaabwe, abaali basigaddewo ku mulembe gwa Asa kitaawe.
47
Mu kiseera ekyo, ensi ya Edomu teyalina kabaka, wabula yafugibwanga musigire eyateekebwangawo kabaka wa Buyudaaya.
48
Yehosafaati n'akola empingu y'amaato agasobola ennyanja ennene, ag'okugendanga mu Ofiri okukimayo zaabu, kyokka ne gatagenda, kubanga gaamenyekera mu Eziyonigeberi.
49
Awo Ahaaziya mutabani wa Ahabu n'agamba Yehosafaati nti: “Abaweereza bange ka bagende wamu n'ababo mu mpingu z'amaato.” Kyokka Yehosafaati n'atakkiriza.
50
Yehosafaati n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe, mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe, mutabani we Yehoraamu n'amusikira ku bwakabaka.
51
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu nga Yehosafaati ye kabaka wa Buyudaaya, Ahaaziya n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira emyaka ebiri mu Samariya.
52
N'akola ebibi, n'anyiiza Mukama, ng'agoberera empisa embi eza Ahabu kitaawe n'eza Yezebeeli nnyina, n'eza Yerobowaamu mutabani wa Nebaati eyaleetera Yisirayeli okwonoona.
53
Ahaaziya n'afuuka omuweereza wa Bbaali era n'amusinzanga, n'asunguwaza Mukama, Katonda wa Yisirayeli, mu ngeri ye emu nga kitaawe bwe yakola.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22