bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 9
1 Kings 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 10 →
1
Awo olwatuuka, Solomooni bwe yamala okuzimba Essinzizo n'olubiri, era bwe yamala okutuukiriza byonna bye yayagala okukola,
2
Mukama n'amulabikira omulundi ogwokubiri, nga bwe yamulabikira e Gibiyoni.
3
Mukama n'amugamba nti: “Mpulidde by'onsabye, n'okwegayirira kwo ng'oli mu maaso gange. Ntukuzizza Essinzizo lino ly'onzimbidde, libe ery'okunsinzizangamu ennaku zonna. Nnaaliteekangako amaaso gange n'omutima gwange obutasalako.
4
Naawe bw'ononnywererangako, n'oba mwesigwa era ow'amazima nga kitaawo Dawudi bwe yali, n'ogonderanga amateeka gange, era n'otuukirizanga byonna bye nakulagira,
5
ndinyweza obwakabaka bwo emirembe gyonna, nga bwe nasuubiza kitaawo Dawudi, bwe namugamba nti: ‘Mu b'ezzadde lyo, toobulwengamu musajja atuula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli.’
6
Naye bwe mulinvaako, mmwe, oba abaana bammwe ne bazzukulu bammwe, ne mujeemera amateeka gange n'ebiragiro bye mbawadde, ne muweereza balubaale era ne mubasinza,
7
olwo ndiggya Abayisirayeli mu nsi gye mbawadde, era ndyabulira Essinzizo lino lye ntukuzizza bansinzizengamu. Yisirayeli erifuuka eky'okufumwako enfumo n'ekisekererwa mu mawanga gonna.
8
Essinzizo lino newaakubadde ligulumivu bwe liti, naye buli anaaliyitangako, aneewuunyanga n'akwata ku mumwa ne yeesooza. Era banaabuuzanga nti: ‘Lwaki Mukama yakola bw'atyo ensi eno n'Essinzizo lino?’
9
Abantu banaddangamu nti: ‘Kubanga baava ku Mukama, Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu nsi y'e Misiri, ne beewa balubaale ne babasinza era ne babaweereza. Mukama kyavudde abatuusaako akabi akenkanidde awo.’ ”
10
Awo olwatuuka, emyaka amakumi abiri Solomooni gye yazimbiramu ebizimbe byombi, Essinzizo n'olubiri lwe, bwe gyaggwaako,
11
Kabaka Solomooni n'awa Kabaka Hiraamu ebibuga amakumi abiri, mu kitundu ky'e Galilaaya. Hiraamu oyo kabaka w'e Tiiro ye yayamba Solomooni okufuna byonna bye yayagala okuzimbisa: emivule, n'emiberosi, ne zaabu.
12
Awo Hiraamu n'ava e Tiiro, n'agenda okulambula ebibuga Solomooni bye yamuwa, byamuwadde, n'atabisiima.
13
N'agamba Solomooni nti: “Bibuga nnabaki bino by'ompadde, muganda wange?” Okuva olwo ne biyitibwa “Kabuli” n'okutuusa kati.
14
Hiraamu yali aweerezza Kabaka Solomooni zaabu aweza talanta kikumi mu abiri.
15
Gino gye mirimu egy'obuwaze Kabaka Solomooni gye yakozesa abantu: okuzimba Essinzizo n'olubiri lwe, n'ekifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda ekiyitibwa Millo, n'okuzimba ekigo kya Yerusaalemu, n'okuzimba ebibuga Hazori ne Megiddo ne Gezeri.
16
Kabaka w'e Misiri yali alumbye Gezeri n'akiwamba, n'akyokya omuliro, n'atta Abakanaani abaakirimu, n'akiwa muwala we okuba omugabo gwe bwe yafumbirwa Solomooni.
17
Solomooni n'akizimba buggya. Era n'azimba Beti-Horoni ekyawansi,
18
ne Baalati ne Tamari mu nsi ey'eddungu eya Buyudaaya,
19
n'ebibuga eby'okuterekangamu ebintu, n'ebibuga by'amagaali ge, n'ebibuga by'abasajja be abeebagala embalaasi, n'ebyo byonna Solomooni bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemu ne mu Lebanooni, n'awalala mu matwale ge gonna.
20
Abantu bonna abaasigalawo ku Baamori, ne ku Bahiiti, ne ku Baperezi, ne ku Bahiivi, ne ku Bayebusi, kwe kugamba abo abatali Bayisirayeli,
21
bazzukulu baabwe abaabaddira mu bigere mu nsi eyo, Abayisirayeli be bataayinza kusaanyizaawo ddala, abo Solomooni be yakozesa emirimu egy'obuwaze, era be bagikola ne leero.
22
Naye Solomooni talina n'omu ku Bayisirayeli gwe yafuula muddu, wabula baabanga balwanyi mu ntalo, na baweereza be, na baami, na bakulu mu magye ge, na bafuzi ba magaali ge, era na basajja be abeebagala embalaasi.
23
Waaliwo abaami ebikumi bitaano mu ataano abaakuliranga abantu abaakolanga n'obuwaze emirimu gya Solomooni.
24
Muwala wa kabaka w'e Misiri bwe yamala okuva mu kibuga kya Dawudi n'ayambuka mu lubiri lwe, Solomooni lwe yamuzimbira, olwo Solomooni n'azimba ekifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Millo.
25
Emirundi esatu buli mwaka, Solomooni n'awangayo, ku alutaari gye yazimbira Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Era n'anyookerezanga obubaane ku alutaari eyali mu maaso ga Mukama. Bw'atyo bwe yamaliriza Essinzizo.
26
Kabaka Solomooni n'azimba empingu y'amaato mu Eziyonigeberi ekiriraanye Eloti, ku lubalama lw'Ennyanja Emmyufu, mu nsi y'e Edomu.
27
Kabaka Hiraamu n'aweereza abamu ku balunnyanja be abamanyi ennyo ennyanja bakolere wamu n'abasajja ba Solomooni.
28
Ne bagenda e Ofiri, ne baggyayo zaabu aweza talanta ebikumi bina mu abiri, ne bamuleeta eri Kabaka Solomooni.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22