bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 3
1 Kings 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 4 →
1
Awo Solomooni n'afuuka mukoddomi wa kabaka w'e Misiri, n'awasa muwala we, n'amuleeta mu kibuga kya Dawudi, okutuusa lwe yamala okuzimba olubiri olulwe, n'Essinzizo lya Mukama, n'ekigo okwetooloola Ekibuga Yerusaalemu kyonna.
2
Okutuusa mu kiseera ekyo, abantu baali bakyaweerayo ebitambiro mu bifo ebigulumivu eby'oku busozi, kubanga waali tewannazimbibwawo nnyumba ya kusinzizangamu Mukama.
3
Solomooni yayagalanga Mukama, ng'agoberera ebyo Dawudi kitaawe bye yamukuutira, wabula naye yaweerangayo ebitambiro era yanyookerezanga obubaane mu bifo ebigulumivu eby'oku busozi.
4
Awo kabaka n'agenda e Gibiyoni okuweerayo ebitambiro, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekigulumivu eky'oku kasozi ekikulu. Solomooni n'aweerayo ku alutaari y'omu kifo ekyo ebitambiro lukumi ebyokebwa nga biramba.
5
Bwe yali eyo e Gibiyoni, Mukama, Katonda n'amulabikira ekiro mu kirooto, n'amugamba nti: “Nsaba ky'oyagala, nkikuwe.”
6
Solomooni n'agamba nti: “Bulijjo walaganga bw'oyagala ennyo kitange Dawudi omuweereza wo, kubanga yali mulungi, mwesigwa, era mwesimbu mu kukolagana naawe. Era wayongera okulaga bw'omwagala ennyo ng'omuwa omwana ow'obulenzi afuga leero mu kifo kye.
7
Ayi Mukama, Katonda wange, nze omuddu wo onfudde kabaka mu kifo kya kitange Dawudi nga ndi mwana muto. Simanyi bya bukulembeze.
8
Nzuuno omuddu wo mu bantu bo be weeroboza, abantu abangi abatayinza na kubalika.
9
Kale mpa nze omuddu wo, amagezi ge neetaaga okulamulanga abantu bo mu bwenkanya, nsobolenga okwawula ekirungi n'ekibi. Oba si ekyo, ani ayinza okulamula eggwanga lino lyonna ekkulu bwe lityo?”
10
Mukama n'asanyuka okulaba nga Solomooni asabye ekyo.
11
Katonda n'amugamba nti: “Kubanga osabye ekyo, n'oteesabira kuwangaala oba obugagga, wadde okufa kw'abalabe bo, naye ne weesabira amagezi okulamulanga mu bwenkanya,
12
kale ky'osabye nkikuwadde: nkuwadde amagezi n'okutegeera, ebisinga omulala yenna bye yali afunye ku baakusooka okubaawo, era ebisinga omulala yenna by'alifuna mu balikuddirira.
13
Era nkuwadde n'ebyo by'otosabye: obugagga n'ekitiibwa mu bulamu bwo bwonna, ebisinga ebya kabaka omulala yenna.
14
Era bw'onoobanga omuwulize gye ndi, n'okwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange byonna, nga kitaawo Dawudi bwe yakolanga, ndikuwangaaza.”
15
Awo Solomooni n'azuukuka, n'amanya nti kibadde kirooto. N'ajja e Yerusaalemu, n'ayimirira mu maaso g'Essanduuko y'Endagaano ya Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana, n'akolera abaweereza be bonna embaga.
16
Lwali lumu abakazi bamalaaya babiri ne bajja eri Kabaka Solomooni ne beeyanjula mu maaso ge.
17
Omu ku bo n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, nze n'omukazi ono tusula mu nnyumba emu. Nazaala omwana nga ndi wamu n'omukazi ono mu nnyumba.
18
Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu nga mmaze okuzaala, omukazi ono naye n'azaala. Era twali wamu nga tewali muntu mulala, wabula ffe ffekka ababiri mu nnyumba.
19
Awo omwana w'omukazi ono n'afa ekiro, kubanga yamwebakira.
20
Omukazi ono n'azuukuka mu ttumbi, n'aggya omwana wange mu buliri bwange nga nze omuzaana wo ndi mu tulo, n'amuteeka mu kifuba kye, n'ateeka omwana we afudde mu kifuba kyange.
21
Bwe nazuukuka enkeera okuyonsa omwana wange, ne ndaba ng'afudde. Kyokka bwe namwekkaanya ng'obudde bukedde, ne ndaba nga si ye mwana owange gwe nazaala.”
22
Omukazi oli omulala n'agamba nti: “Nedda, omwana omulamu ye wange, omufu ye wuwo.” N'ono n'agamba nti: “Nedda, omufu ye mwana wo, omulamu ye mwana wange.” Ne bakaayana bwe batyo mu maaso ga kabaka.
23
Awo Kabaka Solomooni n'agamba nti: “Omu agamba nti: ‘Omwana omulamu ye wange, omufu ye wuwo.’ Omulala agamba nti: ‘Nedda, omwana omufu ye wuwo, omulamu ye wange.’ ”
24
Awo kabaka n'agamba nti: “Mundeetere ekitala!” Bwe baakireeta,
25
kabaka n'agamba nti: “Musalemu omwana omulamu, ekitundu mukiwe omu, n'ekitundu mukiwe omulala.”
26
Awo nnyina w'omwana omulamu omwoyo ne gumulumira omwana we, n'agamba kabaka nti: “Mukama wange, omwana temumutta. Mumuwe munnange.” Naye omukazi oli omulala n'agamba nti: “Temubaako n'omu ku ffe gwe mumuwa, mumusalemu.”
27
Awo kabaka n'agamba nti: “Omwana temumutta, mumuwe omukazi eyasoose, ye nnyina.”
28
Abayisirayeli bonna bwe baawulira Kabaka Solomooni bw'asaze omusango ogwo, ne bamussaamu nnyo ekitiibwa, kubanga baalaba nga Katonda yali amuwadde amagezi okusalanga emisango.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22