bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 18
1 Kings 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 19 →
1
Bwe waayitawo ennaku eziwera, Mukama n'agamba Eliya, mu mwaka ogwokusatu ogw'ekyeya nti: “Genda weeyanjule ewa Ahabu. Nze nja kutonnyesa enkuba ku nsi.”
2
Awo Eliya n'agenda okweyanjula ewa Ahabu. Olwo enjala yali enyiikidde nnyo mu Samariya.
3
Awo Ahabu n'ayita Obadiya eyali alabirira olubiri Obadiya oyo yali assaamu nnyo Mukama ekitiibwa.
4
Yezebeeli bwe yali ng'atta abalanzi ba Mukama, Obadiya yatwala abalanzi kikumi, n'abakweka, ataano ataano mu mpuku, n'abafuniranga emmere n'amazzi.
5
Ahabu n'agamba Obadiya nti: “Genda otuuke ku nzizi zonna ez'amazzi, ne ku bugga bwonna mu nsi eno, mpozzi twandizuulayo omuddo, ne tuwonya embalaasi n'ennyumbu okufa, tuleme kubaako nsolo ze tufiirwa.”
6
Awo ne bakkaanya bombi ekitundu ky'ensi buli omu ky'anaalambula. Ahabu n'akwata ekkubo erirye, ne Obadiya n'akwata erirye.
7
Awo Obadiya bwe yali mu kkubo ng'atambula, Eliya n'amusisinkana. Obadiya n'amutegeera, n'avuunama n'agamba nti: “Ggwe wuuyo, mukama wange Eliya?”
8
Eliya n'addamu nti: “Nze nzuuno. Genda otegeeze mukama wo kabaka nti ndi wano.”
9
Obadiya n'agamba nti: “Nzizizza musango ki kw'osinziira okwagala okumpaayo, nze omuweereza wo, mu mikono gya Kabaka Ahabu okunzita?
10
Mu mazima ga Mukama, Katonda wo, tewali ggwanga wadde obwakabaka, mukama wange gy'ataatuma okukunoonya. Era bwe baagambanga nti: ‘Tali wano,’ n'alayiza ab'obwakabaka obwo oba ab'eggwanga eryo bakakase nga tebaakulabye.
11
Kale kaakano ogambye nti ŋŋende ntegeeze mukama wange nti oli wano.
12
Naye nnaaba naakava w'oli, Mwoyo wa Mukama n'akutwala gye simanyi! Olwo bwe naatuuka ne ntegeeza Ahabu n'atayinza kukulaba, ajja kunzita, sso nga nze omuweereza wo, nzisaamu Mukama ekitiibwa okuviira ddala mu buto bwange.
13
Mukama wange, tebaakubuulira kye nakola, Yezebeeli bwe yali atta abalanzi ba Mukama, nga bwe nakweka abasajja kikumi ku balanzi ba Mukama abo, amakumi ataano ataano mu mpuku, ne mbawanga emmere n'amazzi?
14
Kale kaakano n'oŋŋamba nti: ‘Genda otegeeze mukama wo nti Eliya wuuno ali wano!’ Ajja kunzita.”
15
Eliya nagamba nti: “Mu mazima ga Mukama Omulamu ow'Obuyinza gwe mpeereza, siireme kweyanjula wa kabaka olwaleero.”
16
Awo Obadiya n'agenda okusisinkana Ahabu, n'amutegeeza. Ahabu n'agenda okusisinkana Eliya.
17
Awo Ahabu bwe yalaba Eliya, n'amugamba nti: “Ggwe wuuyo ateganya Yisirayeli?”
18
Eliya n'addamu nti: “Si nze nteganyizza Yisirayeli, wabula ggwe n'ab'ennyumba ya kitaawo, kubanga mwaleka ebiragiro bya Mukama, ggwe n'osinza Babbaali.
19
Kale kaakano, tumira Abayisirayeli bonna, bakuŋŋaanire we ndi ku Lusozi Karumeeli, n'abalaguzi ba Baali ebikumi ebina mu ataano, n'aba Asera ebikumi ebina, abaliira ku lujjuliro lwa Yezebeeli.”
20
Awo Ahabu n'atumya Abayisirayeli bonna, n'akuŋŋaanyiza n'abalaguzi ku Lusozi Karumeeli.
21
Awo Eliya n'ajja eri abantu abo bonna, n'agamba nti: “Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, gwe muba musinza. Kyokka oba Baali ye Katonda, kale gwe muba musinza.” Naye abantu ne batamuddamu kigambo.
22
Awo Eliya n'agamba abantu nti: “Nze mulanzi wa Mukama nzekka asigaddewo, naye abalaguzi ba Baali bali ebikumi bina mu ataano.
23
Kale batuwe ente bbiri, abalaguzi ba Baali beerondereko eneeba eyaabwe, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, naye tebakoleezaako muliro. Nange nja kubaaga ente eyookubiri, ngiteeke ku nku, nga sikoleezezzaako muliro.
24
Mmwe mukoowoole lubaale wammwe, nze nja kukoowoola Mukama. Kale oyo anaddamu n'aweereza omuliro, nga ye Katonda.” Abantu bonna ne baddamu nti: “Ky'ogambye kirungi.”
25
Awo Eliya n'agamba abalaguzi ba Baali nti: “Mulondeko ente emu eneeba eyammwe. Mmwe muba musooka okubaaga, kubanga muli bangi. Mukoowoole lubaale wammwe, kyokka temukoleezaako muliro.”
26
Abalaguzi ba Baali ne batwala ente gye baaweebwa, ne bagibaaga. Ne bakoowoola lubaale Baali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu, nga bagamba nti: “Ayi Baali, otwanukule.” Kyokka ne wataba ddoboozi, wadde addamu n'omu. Ne bazina nga babuukirabuukira awali alutaari eyakolebwa.
27
Mu ttuntu, Eliya n'abakudaalira n'agamba nti: “Mukoowoole nnyo, anti lubaale. Yandiba ng'aliko ky'afumiitiriza, oba ng'agenze kweteewuluzaako, oba ng'aliko gy'alaze mu lugendo. Ayinza n'okuba nga yeebase, nga kyetaagisa kumuzuukusa.”
28
Abalaguzi ba Baali ne bakoowoola nnyo, ne beesala n'obwambe era n'amafumu nga bwe baali bamanyidde okukola, okutuusa omusaayi okukulukuta.
29
Ettuntu bwe lyamenyeka, ne baleekaana ng'abalalu okutuusa ekiseera eky'okuwaayo ekitambiro eky'akawungeezi. Naye ne watabaawo kanyego, wadde abaanukula n'omu, oba abafaako.
30
Awo Eliya n'agamba abantu bonna nti: “Musembere we ndi.” Abantu bonna ne basembera w'ali. N'azimba buggya alutaari ya Mukama eyali emenyeddwa.
31
N'atwala amayinja kkumi n'abiri, ng'omuwendo bwe guli ogw'Ebika by'abasibuka mu Yakobo, Yakobo oyo Mukama gwe yagamba nti: “Erinnya lyo onooyitibwanga Yisirayeli.”
32
Amayinja ago n'agazimbisa alutaari ey'okusinzizaako Mukama. N'asima olusalosalo okugyetoolooza, olugyamu ensuwa nga bbiri ez'amazzi.
33
N'atindikira enku ku alutaari, n'atemaatema ente, n'agiteeka ku nku ezo. N'agamba nti: “Mujjuze ensuwa nnya amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ne ku nku.” Ne bakikola.
34
N'agamba nti: “Mukole bwe mutyo omulundi ogwokubiri.” Ne bakikola. Era n'agamba nti: “Mukole bwe mutyo n'omulundi ogwokusatu.”
35
Amazzi ne gakulukuta okwetooloola alutaari, ne gajjuza n'olusalosalo.
36
Ekiseera eky'okuwaayo ekitambiro eky'akawungeezi bwe kyatuuka, Eliya omulanzi n'asemberera alutaari, n'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Aburahamu, owa Yisaaka ne Yasirayeli, olwaleero ka kimanyibwe nga Ggwe Katonda mu Yisirayeli, era nga nze ndi muweereza wo, era nga nkoze bino byonna nga Ggwe ondagidde.
37
Nnyanukula, ayi Mukama, nnyanukula, abantu bano balyoke bamanye nga Ggwe, Mukama, Ggwe Katonda, era ng'okyusizza emitima gyabwe okugizza gy'oli.”
38
Awo Katonda n'asindika omuliro ne gwokya ekitambiro, n'enku, n'amayinja, ne gukomba ettaka, ne gukaliza amazzi agaali mu lusalosalo.
39
Abantu bonna bwe baalaba ekyo, ne bavuunama, ne bagamba nti: “Mukama ye Katonda! Mukama ye Katonda!”
40
Awo Eliya n'abagamba nti: “Mukwate abalaguzi ba Baali, waleme kutolokako n'omu!” Ne babakwata. Eliya n'abaserengesa ku kagga Kisoni, n'abattira eyo.
41
Awo Eliya n'agamba Ahabu nti: “Genda olye, onywe, mpulira okuwuuma kw'enkuba ennyingi.”
42
Ahabu n'agenda okulya n'okunywa. Eliya n'ayambuka ku ntikko y'Olusozi Karumeeli, n'avuunama ku ttaka, n'ateeka amaaso ge wakati w'amaviivi ge.
43
N'agamba omuweereza we nti: “Genda olengere ku ludda lw'ennyanja.” Omuweereza n'agenda, n'alengera, n'agamba nti: “Tewali kantu.” Eliya n'amugamba nti: “Ddayo emirundi musanvu.”
44
Ku mulundi ogw'omusanvu, omuweereza n'agamba nti: “Akale akatono ng'ekibatu ky'omuntu, kaakano kambuka nga kava mu nnyanja.” Eliya n'agamba omuweereza we nti: “Genda ogambe Kabaka Ahabu nti: ‘Yingira mu ggaali lyo, oddeyo eka, enkuba ereme kukuziyiza.’ ”
45
Mu kaseera katono, eggulu ne liddugala ebire, embuyaga n'etandika okukunta, enkuba n'eyiika nnyingi. Ahabu n'alinnya mu ggaali, n'agenda e Yezireeli.
46
Mukama n'awa Eliya amaanyi agenjawulo, ne yeesiba ekimyu n'adduka ng'akulembeddemu Ahabu okutuuka awayingirirwa e Yezireeli.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22