bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 12
1 Kings 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 13 →
1
Awo Rehobowaamu n'agenda e Sekemu Abayisirayeli bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka.
2
Yerobowaamu mutabani wa Nebaati n'akiwulira ng'akyali mu Misiri gye yali addukidde okuwona Kabaka Solomooni, era nga gy'abeera.
3
Ne bamutumya ajje. Bwe yajja, ye n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne bagenda ne bagamba Rehobowaamu nti:
4
“Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito. Ggwe bw'onootuwewulira ku buzito obwo, n'otukendeereza ku kikoligo ekyo, tunaakuweerezanga.”
5
Rehobowaamu n'abagamba nti: “Mugende, mulikomawo nga wayiseewo ennaku ssatu.” Abantu ne bagenda.
6
Kabaka Rehobowaamu ne yeebuuza ku bantu abakulu, abaawanga Solomooni kitaawe amagezi ng'akyali mulamu. N'ababuuza nti: “Magezi ki ge mumpa? Abantu bano mbaddemu ntya?”
7
Ne bamuddamu nti: “Bw'onokkiriza okuba omuweereza w'abantu bano olwaleero, n'okkiriza okubagondera, n'obaddamu ng'okozesa ebigambo ebirungi, olwo banaabanga baweereza bo ennaku zonna.”
8
Kyokka Kabaka Rehobowaamu n'aleka amagezi g'abantu abakulu ge baamuwa, ne yeebuuza ku bavubuka abaakula naye era abaali bamuweereza.
9
N'ababuuza nti: “Magezi ki ge mumpa mmwe? Tuddemu tutya abantu bano abaŋŋambye nti: ‘Wewula ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ”
10
Awo abavubuka abaakula naye ne bamugamba nti: “Abantu abo abakugambye nti: ‘Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito, naye ggwe tukusaba okituwewuleko,’ bagambe nti: ‘Akagalo kange aka nasswi kanene okusinga ekiwato kya kitange.
11
Kale nno oba nga kitange yabassaako ekikoligo ekizito, nze nja kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko eyaabulijjo, naye nze nja kubakangavvulanga na mbooko eriko amalobo agasuna.’ ”
12
Ku lunaku olwokusatu Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Kabaka Rehobowaamu nga ye bwe yali abalagidde ng'agamba nti: “Muddanga gye ndi ku lunaku olwokusatu.”
13
Awo kabaka n'addamu abantu n'ebboggo, ng'avudde ku kiri abantu abakulu kye baamuwabulamu.
14
N'akolera ku magezi abavubuka ge baamuwa, n'agamba abantu nti: “Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze nja kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko eyaabulijjo, naye nze nja kubakangavvulanga na mbooko eriko amalobo agasuna.”
15
Bw'atyo kabaka n'atawuliriza bantu kye baagala. Mukama, Katonda, ekyo kye yayagala, alyoke atuukirize kye yagamba Yerobowaamu ng'ayita mu Ahiya Omusiilo.
16
Abayisirayeli bonna bwe baalaba nga kabaka tabawulirizza, ne bamuddamu nti: “Kiki kye tugabana ku Dawudi? Tetulina kye tusikira ku mutabani wa Yesse. Kale Abayisirayeli, tugende, buli muntu yeddireyo ewaabwe, n'ab'ennyumba ya Dawudi beerabirire.”
17
Rehobowaamu n'afuga Abayisirayeli abo bokka ab'omu kitundu ky'e Buyudaaya.
18
Awo Kabaka Rehobowaamu n'atuma mu Bayisirayeli Hadoraamu eyali akulira emirimu egy'obuwaze. Abayisirayeli ne bamukuba amayinja, ne bamutta. Kyokka ye kabaka n'ayanguwa okwesogga ekigaali kye, n'addukira e Yerusaalemu.
19
Okuva olwo Abayisirayeli ab'omu bitundu eby'omu bukiikakkono, ne bajeemera ab'ennyumba ya Dawudi n'okutuusa kati.
20
Awo ab'omu Yisirayeli yonna bwe baawulira nga Yerobowaamu akomyewo, ne bamutumya okujja eri ekibiina ky'abantu, ne bamufuula kabaka wa Yisirayeli yonna. Ekika kya Yuda kyokka kye kyanywerera ku b'ennyumba ya Dawudi.
21
Awo Rehobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemu, n'akuŋŋaanya mu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini abasajja abazira emitwalo kkumi na munaana, okulwanyisa Abayisirayeli okubakomyawo mu bwakabaka bwe.
22
Kyokka Katonda n'agamba musajja we Semaaya nti:
23
“Gamba Rehobowaamu mutabani wa Solomooni era kabaka wa Buyudaaya, n'ab'omu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini n'abantu bonna abalala nti:
24
‘Mukama agamba nti temulumba baganda bammwe, Bayisirayeli bannammwe, kubalwanyisa. Muddeeyo buli omu mu maka ge, kubanga ebyo ebyabaawo, Nze nayagala bibe bwe bityo.’ ” Awo ne bagondera ekiragiro kya Mukama, ne baddayo, nga Mukama bwe yabalagira.
25
Awo Yerobowaamu n'azimba buggya Ekibuga Sekemu mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi n'abeera omwo. N'ava eyo n'azimba buggya Ekibuga Penweli.
26
Yerobowaamu n'alowooza mu mutima nti: “Kaakano obwakabaka bwandiddamu okufugibwa ab'ennyumba ya Dawudi.
27
Abantu bano bwe banaayambukanga e Yerusaalemu okuwaayo ebitambiro eri Mukama mu Ssinzizo, omutima gwabwe gwandikyukira mukama waabwe Rehobowaamu kabaka wa Buyudaaya, nze banzite, badde gy'ali.”
28
Awo kabaka bwe yamala okukirowoolereza, n'akola ennyana bbiri eza zaabu, n'agamba abantu nti: “Mukaluubirirwa nnyo okwambukanga e Yerusaalemu. Abange Abayisirayeli, bano be balubaale bammwe abaabaggya mu nsi y'e Misiri.”
29
Ennyana emu n'agiteeka mu Beteli, endala n'agiteeka mu Daani.
30
Ekintu ekyo ne kireetera abantu okukola ekibi, kubanga baagendanga okusinziza ne mu maaso g'eyo eyali e Daani.
31
N'azimba amasabo mu bifo ebigulumivu eby'oku busozi, n'ateekawo bakabona ng'abaggya mu bantu bonna abatali ba mu Kika kya Leevi.
32
Yerobowaamu era n'ateekawo embaga, ebeerengawo mu mwezi ogw'omunaana, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano, nga gye baabanga nayo mu Buyudaaya. N'ayambuka ku alutaari e Beteli n'awaayo ebitambiro eri ennyana ze yakola.
33
Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omunaana, omwezi ye yennyini gwe yalonda ku lulwe, n'ayambuka ku alutaari gye yazimba e Beteli. N'ateerawo Abayisirayeli embaga, n'ayambuka ku alutaari, n'anyookeza obubaane.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22