bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 10
1 Kings 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 11 →
1
Awo kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yawulira ettutumu lya Solomooni eryamuweebwa Mukama, n'ajja amugeze ng'amubuuza ebibuuzo ebizibu.
2
Yajja e Yerusaalemu n'ekibiina ky'abaweereza be kinene nnyo, n'eŋŋamiya ezeetisse ebyakaloosa ne zaabu mungi nnyo, n'amayinja ag'omuwendo ennyo. Awo bwe yatuuka ewa Solomooni, n'amubuuza byonna bye yalina ku mutima gwe.
3
Solomooni n'amuddamu byonna bye yamubuuza. Tewali kintu na kimu kyakaluubirira Solomooni kunnyonnyola.
4
Kabaka omukazi ow'e Seeba bwe yamala okulaba amagezi ga Solomooni, n'olubiri Solomooni lwe yazimba,
5
n'emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye, n'entuula y'abakungu be, n'empeereza y'abaweereza be, ennyambala yaabwe, n'abasenero be, n'ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba bye yawangayo mu Ssinzizo, ne yeewuunya nnyo n'awuniikirira.
6
N'agamba kabaka nti: “Bye nawulira nga ndi mu nsi yange ku bikolwa byo ne ku magezi go, byali bituufu.
7
Naye saabikkiriza, okutuusa lwe nzize ne mbyerabirako n'agange. Era ddala bye nawulira tebyenkana wadde ekimu ekyokubiri eky'ebyo bye ndabye. Amagezi n'obugagga by'olina bisinga ettutumu lye nawulira ku byo.
8
Abasajja bo nga balina omukisa! Abaweereza bo nga beesiimye, ababeera bulijjo mu maaso go, ne bawulira eby'amagezi by'oyogera!
9
Mukama, Katonda wo atenderezebwe, eyalaga bw'akusiimye, n'akufuula kabaka wa Yisirayeli. Kubanga Mukama yayagala nnyo Yisirayeli, kyeyava akufuula kabaka, olamulenga mu mazima ne mu bwenkanya.”
10
Awo n'atonera kabaka zaabu aweza talanta kikumi mu abiri. N'amutonera n'ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n'amayinja ag'omuwendo ennyo. Era tewaddayo kubaawo byakaloosa byenkana awo obungi ng'ebyo kabaka omukazi ow'e Seeba bye yatonera Kabaka Solomooni.
11
N'empingu ya Hiraamu eyaleeta zaabu okuva mu Ofiri, n'ereeta embaawo ez'emitoogo, n'amayinja ag'omuwendo ennyo.
12
Kabaka n'akozesa embaawo ezo okuzimba obukomera ku madaala ag'omu Ssinzizo, n'ag'omu lubiri lwe. Era n'azikolamu ennanga n'entongooli z'abayimbi. Tewaayongera kujja mbaawo za mitoogo ziri ng'ezo, wadde okulabibwako mu Yisirayeli n'okutuusa kati.
13
Awo Kabaka Solomooni n'awa kabaka omukazi ow'e Seeba byonna kabaka oyo omukazi bye yayagala, na buli kye yasaba, nga tobaliddeeko ebyo Kabaka Solomooni bye yayiiya ku bubwe okumuwa. Olwo kabaka oyo omukazi ow'e Seba n'asiibula, n'addayo mu nsi ye, wamu n'abaweereza be.
14
Zaabu Solomooni gwe yafunanga omwaka, yawezanga kilo ng'emitwalo ebiri mu enkumi ssatu,
15
nga tobaliddeeko oyo ow'omusolo ogusasulibwa abasuubuzi, n'empooza ku bitundibwa, n'oyo eyavanga mu bakabaka bonna ab'e Buwarabu, ne mu bafuzi b'ebitundu mu Yisirayeli.
16
Kabaka Solomooni n'aweesesa engabo ennene ebikumi bibiri enkubireko zaabu, nga buli ngabo egendako zaabu azitowa kilo nga musanvu.
17
N'aweesesa n'engabo entono ebikumi bisatu enkubireko zaabu, nga buli emu egendako zaabu azitowa kilo nga bbiri. Zonna n'aziteeka mu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni.
18
Kabaka era ne yeekolera entebe ey'obwakabaka ennene ey'amasanga, n'agabikkako zaabu omulungi ennyo.
19
Waaliwo amadaala mukaaga okutuuka ku ntebe eyo ey'obwakabaka, era yali nneekulungirivu waggulu ekyesigamibwako gye kikoma. Yaliko ekiteekebwako emikono eruuyi n'eruuyi, nga ku buli ludda lw'ekiteekebwako emikono, waliwo ekifaananyi ky'empologoma eyimiridde.
20
Waaliwo n'ebifaananyi ebirala, eby'empologoma kkumi na bbiri eziyimiridde, emu emu ku nkomerero ya buli ddaala erudda n'erudda w'amadaala ago omukaaga. Mu bwakabaka obulala bwonna, tewaaliyo ntebe ya bwakabaka eyakolebwa ng'efaanana ng'eyo.
21
Ebintu byonna ebya Kabaka Solomooni eby'okunyweramu, byali bya zaabu. Era ebintu byonna eby'omu kisenge ekiyitibwa Ekibira kya Lebanooni, byali bya zaabu omulongoose. Tewaaliyo bya ffeeza. Mu biseera bya Solomooni, ffeeza teyayitibwanga kintu kya muwendo.
22
Kabaka yalina ku nnyanja, empingu y'amaato eyagendanga e Tarusiisi n'empingu ya Hiraamu. Empingu eyo, buli myaka esatu yavanga e Tarusiisi ng'ereeta zaabu ne ffeeza n'amasanga, n'enkobe n'ennyonyi eziyitibwa muzinge.
23
Bw'atyo Kabaka Solomooni n'asinga bakabaka bonna ku nsi obugagga n'amagezi.
24
Ab'omu nsi yonna ne baagalanga okujja awali Solomooni okuwulira ebigambo eby'amagezi ge, Katonda ge yamuwa.
25
Buli omu eyajjanga, ng'aleeta amakula: ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu, ebyambalo n'ebyokulwanyisa n'ebyakaloosa, embalaasi n'ennyumbu. Ebyo byaleetebwanga buli mwaka.
26
Solomooni n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagazi b'embalaasi. Yalina amagaali lukumi mu bina, n'abeebagazi b'embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga ebikuumirwamu amagaali, ne mu Yerusaalemu, ye yennyini kabaka mwe yali.
27
Mu biseera bye, ffeeza yayala mu Yerusaalemu, n'aba mungi ng'amayinja, n'emivule ne giba mingi ng'emiti emisikamoreya mu biwonvu.
28
Embalaasi Solomooni ze yalina, zaggyibwanga mu Misiri, era abasuubuzi be baazifunangayo mu magana, nga buli ggana ligula omuwendo gwalyo.
29
Eggaali erimu lyaggyibwanga mu Misiri ku bitundu lukaaga ebya ffeeza, n'embalaasi emu ku bitundu kikumi mu ataano. Bakabaka bonna ab'Abahiiti n'ab'e Siriya baazigulanga ku basuubuzi ba Solomooni abo.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22