bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 7
1 Kings 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 8 →
1
Solomooni ne yeezimbira olubiri, olwo ne lumutwalira emyaka kkumi n'esatu okulumaliriza.
2
Yazimba ennyumba eyitibwa Ekibira kya Lebanooni, nga ya mita amakumi ana mu ttaano obuwanvu, mita amakumi abiri mu bbiri n'ekitundu obugazi, ne mita kkumi na ssatu n'ekitundu obugulumivu. Yagizimbira ku mbu ssatu ez'empagi ez'emivule, okuteekeddwa emikiikiro era egy'omuvule.
3
Waggulu w'ebisenge ebyazimbibwa ku mpagi amakumi ana mu ettaano, kkumi na ttano mu buli lubu, ne wabikkibwako embaawo ez'omuvule.
4
Embu z'amadirisa zaali ssatu nga gatunuuliganye, era nga gali mu nnyiriri ssatu.
5
Emiryango gyonna n'emyango gyazo gyali gya njuyi nnya nnya ezenkanankana, n'amadirisa gaali mu nnyiriri ssatu, nga buli ddirisa ery'oludda olumu litunudde mu ddirisa ery'oludda olulala.
6
N'azimba ennyumba eyayitibwa Ennyumba Ey'empagi, nga ya mita amakumi abiri mu bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne mita kkumi na ssatu n'ekitundu obugazi, ng'erina ekisasi ekisereke, ekiwaniriddwa empagi.
7
N'azimba Ennyumba y'Entebe y'Obwakabaka, era eyatuumibwa Ekitawuluzi mw'aba asaliranga emisango. Nagibikkako embaawo ez'omuvule wonna wonna munda.
8
Ennyumba Solomooni mwe yasulanga yali mu luggya lulala olwali emmanju w'Ekitawuluzi. Enzimba yaayo yali ye emu n'ey'Ennyumba y'Emisango. Solomooni n'azimbira ne mukazi we, muwala wa kabaka w'e Misiri, ennyumba efaanana ng'eyo.
9
Amayumba ago gonna ng'otwaliddemu n'oluggya olunene, gaazimbibwa na mayinja amalungi ddala, okuva mu musingi okutuukira ddala waggulu ebisenge gye bikoma. Gaasalwa n'emisumeeno mu kigero kyago kye baagapimira, ne gayooyootebwa ku ludda olwomunda n'olw'ebweru.
10
Omusingi nagwo gwazimbibwa n'amayinja amalungi ddala, era agamu nga ga mita nnya n'ekitundu, amalala nga ga mita ssatu n'obutundu mukaaga.
11
Kungulu w'amayinja ago, kwaliko amayinja amalala era amalungi ddala amakomole mu bipimo byago, era n'embaawo ez'emivule.
12
Oluggya olunene lwali lwetooloddwa ekigo ekizimbiddwa mu mbu ssatu ez'amayinja amakomole, n'olubu lumu olw'embaawo ez'omuvule. N'oluggya olwomunda olw'Essinzizo, n'ekisasi kyalyo, bwe byazimbibwa bwe bityo.
13
Kabaka Solomooni n'atumya Hiraamu, ne bamuggya e Tiiro.
14
Hiraamu oyo yali musajja mugezi era nga mukugu, amanyi okutetenkanya mu mirimu gyonna egy'okuweesa ekikomo. Yali mutabani wa nnamwandu ow'omu Kika kya Nafutaali. Kitaawe yali mutuuze w'e Tiiro, era nga muweesi wa bintu eby'ekikomo. Hiraamu oyo n'akkiriza n'ajja eri Kabaka Solomooni, n'amukolera omulimu gwe gwonna.
15
Hiraamu n'aweesa empagi bbiri ez'ekikomo nga buli emu epimwako omuguwa gwa mita ttaano n'obutundu buna okugyetooloola.
16
N'akola emitwe ebiri egy'ekikomo ekisaanuuse, egy'okuteeka ku ntikko z'empagi ezo ebbiri, nga buli mutwe obugulumivu bwagwo bwa mita bbiri n'obutundu nga bubiri.
17
Ku mutwe ogwali ku ntikko ya buli mpagi, n'akolako ebifaananyi musanvu eby'emikuufu egirukiddwa ng'akatimba,
18
era n'akolako n'embu bbiri ez'ebifaananyi by'amakomamawanga.
19
Emitwe ku ntikko z'empagi ez'omu kisasi gyali gifaanana ng'ebimuli by'amalanga, era obugulumivu bwagyo nga bwa mita emu n'obutundu munaana,
20
ng'emitwe egyo giteereddwa mu kitundu ekyekulungirivu ku mpagi zombi waggulu w'ekifaananyi eky'akatimba. Ku buli mutwe kwaliko ebifaananyi by'amakomamawanga ebikumi bibiri mu mbu bbiri.
21
Hiraamu n'asimba empagi ezo zombi mu maaso g'ekisasi ky'Essinzizo. N'asimba ey'oku ludda olwa ddyo, n'agituuma erinnya Yakini, n'asimba ey'oku ludda olwa kkono, n'agituuma erinnya Bowaazi.
22
Ku ntikko z'empagi ezo kwali kukoleddwako ebifaananyi by'ebimuli by'amalanga. Bwe gutyo omulimu ogw'okukola empagi ne gumalirizibwa.
23
Hiraamu n'aweesa ogutanka gw'amazzi ogunene ogwekulungirivu ogw'ekikomo, nga gwa mita nnya n'ekitundu obukiika okuva ku mugo okutuuka ku mugo. Obugulumivu bwagwo bwali mita bbiri n'obutundu nga busatu, era nga guweza mita kkumi na ssatu n'ekitundu okugwetooloola.
24
Wansi w'omugo gw'ogutanka ogwo, waaliwo embu bbiri ez'ebifaananyi by'ekiryo ezaaweesebwa awamu n'ogutanka, obuwanvu bwazo mita nnya n'ekitundu okugwetooloola.
25
Ogutanka ogwo ogunene gwatuuzibwa ku bifaananyi by'ente kkumi na bibiri eby'ekikomo, ebitunuulidde ebweru: ebisatu nga bitunuulidde mu bukiikakkono, ebisatu ebugwanjuba, ebisatu mu bukiikaddyo, n'ebisatu ebuvanjuba, emikira gyabyo nga giri munda.
26
Omubiri gw'ogutanka ogunene gwali gwa luta lumu. Omugo gwagwo gwali gukoleddwa ng'ogw'ekibya era ng'ekimuli ky'amalanga. Ogutanka ogwo gwali gugyamu lita emitwalo ng'ena mu enkumi nnya.
27
Hiraamu n'akola ebituuti kkumi eby'ekikomo nga buli kimu kya buwanvu bwa mita emu n'obutundu munaana, obugazi bwa mita emu n'obutundu munaana n'obugulumivu bwa mita emu n'obutundu busatu.
28
Byali bikoleddwa mu mbaati ezenkanankana enjuyi zonna ennya, nga ziteekeddwa mu fuleemu.
29
Ku mbaati ezo ezaali mu fuleemu, kwaliko ebifaananyi by'empologoma n'ente ne bakerubi. Ne ku fuleemu kwaliko waggulu ekitereezebwako ebintu, ne wansi w'ebifaananyi by'empologoma n'ente waaliwo emige gy'ebimuli egireebeeta.
30
Buli kituuti kyalina nnamuziga nnya ez'ekikomo, n'ebyuma kwe zeetooloolera, nga bya kikomo. Ku nsonda zaakyo ennya, kwaliko ekitereezebwako ebbenseni. Ebyo ebitereezebwako ebbenseni byali byoleddwako ebifaananyi by'emige gy'ebimuli.
31
Waggulu ku mutwe, waaliwo ekituli ekitereezebwamu ebbenseni, nga kya sentimita amakumi ana mu ttaano obugulumivu, ne sentimita kkumi na munaana obwekulungirivu. Kyaliko enjola okwetooloola akamwa kaakyo. Embaati zaakyo zaalina enjuyi nnya ezenkanankana, nga si nneekulungirivu.
32
Nnamuziga ennya zaali wansi w'embaati, ng'ebyuma kwe zeetooloolera biweeseddwa nga tebyawuddwa ku bikondo. Obugulumivu bwa nnamuziga, bwali sentimita nkaaga mu musanvu n'obutundu butaano.
33
Nnamuziga ezo zaali zikoleddwa nga nnamuziga z'ebigaali ebikozesebwa mu ntalo. Ebyuma kwe zeetooloolera, n'empanka zaazo, n'empagi zaazo, n'emisingi gyazo, byonna byali bya kikomo.
34
Mu nsonda zonna ennya eza buli kikondo, mwalimu emiziziko ena kwe kinywerera, nga giweeseddwa nga tegyawuddwa ku kituuti kyennyini.
35
Ku ntikko y'ekituuti kwaliko ekintu ekyekulungirivu, nga kya sentimita amakumi abiri n'ekitundu. Empagi zaakyo n'embaati zaakyo byali biweeseddwa nga tebyawuddwa ku kituuti kyennyini.
36
Ku bipande by'empagi zaakyo ne ku mbaati zaakyo, yayolako ebifaananyi bya bakerubi, n'empologoma, n'enkindu we bisobola okugya, n'emige gy'ebimuli okwetooloola wonna.
37
Bw'atyo bwe yakola ebituuti ekkumi. Byonna byali biweeseddwa mu kikomo ekisaanuusiddwa, nga bifaanana, era nga byenkana mu bipimo ne mu ndabika.
38
Hiraamu n'akola ebinaabirwamu kkumi eby'ekikomo, kimu kimu ku buli kituuti. Buli kinaabirwamu kyali kya mita emu n'obutundu munaana obukiika, okuva ku mugo okutuuka ku mugo, nga kigyamu lita nga lunaana mu kinaana.
39
N'ateeka ebituuti ebitaano ku ludda lw'Essinzizo olwa ddyo n'ebitaano ku ludda lwalyo olwa kkono. Ogutanka ogunene n'aguteeka mu nsonda y'Essinzizo ey'oku ludda olwa ddyo olw'ebuvanjuba.
40
Hiraamu n'akola ebbenseni, n'ebisena n'ebbakuli ezikozesebwa mu kumansira. Bw'atyo n'amaliriza omulimu gwonna gwe yakolera Kabaka Solomooni mu Ssinzizo:
41
empagi ebbiri, n'emitwe ebiri egikoleddwa ng'ebibya ku ntikko z'empagi ebbiri, n'ebifaananyi by'emikuufu egitimbiddwa ku ntikko ya buli mpagi,
42
n'ebifaananyi by'amakomamawanga ebikumi ebina ag'ekikomo, agateekeddwa mu mbu ebbiri okwetooloola emikuufu egyali ku mutwe ogwa buli mpagi,
43
ebituuti ekkumi n'ebbenseni ekkumi ku bituuti ebyo,
44
n'ogutanka ogunene, n'ebifaananyi by'ente ekkumi n'ebibiri kwe gutuuziddwa;
45
n'entamu, n'ebisena, n'ebbakuli ezikozesebwa mu kumansira. Ebintu ebyo byonna Hiraamu bye yakolera Kabaka Solomooni bikozesebwenga mu Ssinzizo, byali bya kikomo ekizigule.
46
Ebintu ebyo, kabaka yabiweeseza mu lusenyi lwa Yorudaani, awali ettaka ery'ebbumba, wakati w'ebibuga Sukkoti ne Zaretaani.
47
Ebintu ebyo byonna Solomooni teyabipima buzito, kubanga byali bingi nnyo. N'olwekyo obuzito bw'ekikomo ekyakozesebwa tebwamanyika.
48
Solomooni n'akola mu zaabu ebintu byonna eby'okukozesebwa mu Ssinzizo: alutaari n'emmeeza okuteekebwa emigaati egiweebwayo eri Katonda,
49
ebikondo by'ettaala ebiteekebwa mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu Ennyo, bitaano ku ludda olwa ddyo, n'ebitaano ku ludda olwa kkono, nga bya zaabu omulongoose; n'ebimuli, n'ettaala, ne makansi,
50
n'essowaani ennene, n'ebisalako ebisiriiza ku ttaala, n'ebbakuli ezikozesebwa mu kumansira, n'ebyoterezo n'ebyotereezebwamu obubaane, byali bya zaabu omulongoose, ne ppata z'enzigi ez'omu Kifo Ekitukuvu Ennyo, era n'ez'enzigi z'Essinzizo ez'ebweru, ebyo byonna byali bya zaabu.
51
Bwe gutyo omulimu gwonna Kabaka Solomooni gwe yakola mu Ssinzizo ne guggwa. Solomooni n'ayingiza mu mawanika g'Essinzizo ebintu byonna Dawudi kitaawe bye yawongera Mukama: ffeeza, ne zaabu, n'ebikozesebwa byonna.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22