bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 8
1 Kings 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 9 →
1
Awo Kabaka Solomooni n'ayita abakulembeze b'omu Yisirayeli, abakulu b'ebika, n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, okujja gy'ali e Yerusaalemu, bagende baggye Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Siyooni.
2
Abasajja Abayisirayeli bonna ne bakuŋŋaanira ewa Kabaka Solomooni ku Mbaga ey'Ensiisira, mu mwezi Etaniimu, gwe mwezi ogw'omusanvu.
3
Abakulu b'omu Yisirayeli bonna bwe bajja, bakabona ne basitula Essanduuko ey'Endagaano,
4
ne bagitwala mu Ssinzizo. Bakabona n'Abaleevi, Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama nayo ne bagitwala mu Ssinzizo, awamu n'ebintu byonna ebitukuvu ebyagirimu.
5
Kabaka Solomooni n'Abayisirayeli bonna abaali bakuŋŋaanidde w'ali ne babeera mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, ne batambira ente n'endiga nnyingi nnyo, ezitayinza kubalika.
6
Awo bakabona ne baleeta mu Ssinzizo, Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano, ne bagiteeka mu kifo kyayo munda mu Ssinzizo, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.
7
Ebiwaawaatiro bya bakerubi ebyagaagavu, ne bibikka Essanduuko n'emiti kw'esitulirwa.
8
Emiti egyo gyali miwanvu, ng'omuntu ayimiridde munda mu Ssinzizo, mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu Ennyo, asobola okulaba entwe zaagyo, naye nga tezirabibwa ali bweru. Emiti egyo gikyaliyo n'okutuusa kati.
9
Mu Ssanduuko ey'Endagaano temwalimu kintu kirala, wabula ebipande by'amayinja ebibiri, Musa bye yateekeramu ku Lusozi Horebu, Mukama bwe yakola endagaano n'Abayisirayeli, nga bavudde mu nsi y'e Misiri.
10
Awo bakabona bwe baamala okuva mu Kifo Ekitukuvu, ekire ne kijjula mu Ssinzizo,
11
bakabona ne batayinza kuyingiramu okuweereza olw'ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjuza Essinzizo.
12
Awo Solomooni n'agamba nti: “Mukama yagamba nti anaabeeranga mu kizikiza ekikutte.
13
Mazima nkuzimbidde Essinzizo ery'ekitiibwa libe ekifo mw'onoobeeranga ennaku zonna.”
14
Awo kabaka n'akyuka, n'atunuulira ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ekyali kiyimiridde awo, n'akisabira omukisa.
15
N'agamba nti: “Mutendereze Mukama, Katonda wa Yisirayeli atuukirizza kye yasuubiza kitange Dawudi, bwe yagamba nti:
16
‘Kasookedde nzigya bantu bange Abayisirayeli mu Misiri, seerobozanga mu bika bya Yisirayeli byonna kibuga na kimu mwe bananzimbira Ssinzizo. Naye neeroboza Dawudi akulembere abantu bange Abayisirayeli.’
17
“Kitange Dawudi yalowooza okuzimbira Mukama, Katonda wa Yisirayeli Essinzizo.
18
Kyokka Mukama n'agamba kitange Dawudi nti: ‘Wakola bulungi okulowooza okunzimbira Essinzizo.
19
Naye si ggwe ojja okulizimba, wabula mutabani wo, ggwe wennyini gw'ozaala, ye alinzimbira Essinzizo.’
20
“Kaakano Mukama atuukirizza ekigambo kye, kye yayogera, kubanga nsikidde kitange Dawudi, ne ntuula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Mukama, Katonda wa Yisirayeli, Essinzizo.
21
Nditaddemu ekifo ky'Essanduuko erimu Endagaano, Mukama gye yakola ne bajjajjaffe, bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri.”
22
Solomooni n'ayimirira mu maaso ga alutaari ya Mukama, ng'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli kiri awo, n'agolola emikono gye eri eggulu,
23
n'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, mu ggulu ne mu nsi tewaliiyo Lubaale ali nga ggwe, akuuma endagaano gy'okola n'abantu bo, era abakwatirwa ekisa bwe bakunywererako n'omutima gwabwe gwonna.
24
Wakuuma ekyo kye wasuubiza omuweereza wo kitange Dawudi. Ggwe wakimusuubiza wennyini, era olwaleero okituukirizza.
25
Kale kaakano Mukama, Katonda wa Yisirayeli, kuuma kye wasuubiza omuweereza wo kitange Dawudi, bwe wagamba nti: ‘Mu b'ezzadde lyo, toobulwengamu musajja gwe nteekawo okutuula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli, kasita ab'ezzadde lyo abo, banassangayo omwoyo okuyisa obulungi, ne bannywererako, nga ggwe bwe wakola.’
26
Kale nno ayi Katonda wa Yisirayeli, nkwegayiridde, tuukiriza ekigambo kyo, kye wagamba omuweereza wo kitange Dawudi.
27
“Naye ddala, ayi Katonda, oyinza okubeera ku nsi? Olaba n'eggulu lyennyini liba ffunda n'otogyamu, kale onoogya otya mu Ssinzizo lino lye nzimbye!
28
Wabula, Katonda wange, ssaayo omwoyo ku kye nkusaba era wulira okwegayirira n'okukaaba kwange nze omuweereza wo, ompe kye nkusaba olwaleero.
29
Amaaso go togaggya ku Ssinzizo lino emisana n'ekiro, ekifo kye wayogerako nti: ‘Omwo mwe banansinzizanga.’ Owulirenga bye nnaakusabanga nze omuweereza wo, nga ntunuulidde Essinzizo lino.
30
Era owulirenga bye nkusaba nze omuweereza wo, era n'abantu bo Abayisirayeli bye banaakusabanga nga batunuulidde ekifo kino. Ddala otuwulire ng'osinziira mu ggulu eyo gy'obeera, era bw'owulira, osonyiwe.
31
“Omuntu bwe banaamulumirizanga nti yazza omusango ku munne, ne baagala okumulayiza okukakasa oba nga talina musango, omuntu oyo n'ajja n'alayirira wano mu maaso ga alutaari yo mu Ssinzizo lino,
32
mu ggulu eyo gy'oli, owuliranga n'olamula abaweereza bo, n'obonereza omusobya, ne wejjeereza atalina musango.
33
“Abantu bo Abayisirayeli bwe banaawangulwanga abalabe baabwe olw'okukunyiiza, naye ne badda gy'oli ne bakwenenyeza, ne basaba nga beegayirira mu maaso go mu Ssinzizo lino,
34
eyo gy'oli mu ggulu owuliranga, n'osonyiwa ebibi by'abantu bo Abayisirayeli, n'obakomyawo mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe.
35
“Eggulu bwe lineesibanga enkuba n'etetonnya kubanga abantu bakoze ebibi ne bakunyiiza, naye oluvannyuma ne bakwegayirira nga batunuulidde ekifo kino, ne bakwenenyeza, ne balekayo ebibi byabwe ng'omaze okubabonereza,
36
eyo gy'oli mu ggulu owuliranga n'osonyiwa ebibi by'abaweereza bo, era abantu bo Abayisirayeli, n'obayigirizanga okukola ebituufu. Olwo n'otonnyesa enkuba ku nsi yo eno, gye wawa abantu bo okuba eyaabwe emirembe gyonna.
37
“Mu nsi bwe munaagwangamu enjala, oba bwe munaabangamu endwadde ya kawumpuli, oba ebirime bwe binaagengewalanga, oba ne bikukula, oba ne byonoonebwa enzige oba ebisaanyi; oba abalabe bwe banaalumbanga abantu bo mu bibuga byabwe, oba bwe wanaabangawo endwadde yonna, oba okulumizibwa okwa buli ngeri,
38
abantu bo Abayisirayeli ne bakusaba era ne bakwegayirira buli omu ku lulwe, oba bonna awamu nga bakugololera emikono, gye boolekeza Essinzizo lino okusinziira ku bulumi ne ku buyinike bwe bawulira,
39
eyo mu ggulu gy'obeera, obawuliranga era obasonyiwanga. Buli omu omukoleranga ku bibye nga bw'asaanira, kubanga ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abantu,
40
balyoke bakussengamu ekitiibwa ebbanga lyonna lye balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
41
“Omugwira atabeera mu bantu bo Abayisirayeli, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala ng'awulidde obukulu bwo,
42
kubanga baliwulira obukulu bwo n'obuyinza bwo n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'akusinza ng'atunuulidde Essinzizo lino,
43
eyo mu ggulu gy'obeera, owuliranga by'akusaba okumukolera, olwo abantu bonna mu nsi balyoke bakumanye era bakuwulire ng'abantu bo Abayisirayeli bwe bakuwulira, era bamanye nti Essinzizo lino lye nzimbye kye kifo eky'okukusinzizangamu.
44
“Abantu bo bwe banaagendanga gy'onoobanga obatumye okulwanyisa abalabe baabwe, ne babaako kye bakusaba nga batunuulidde ekibuga kino kye weeroboza, era nga batunuulidde Essinzizo lino lye nkuzimbidde,
45
owuliranga bye bakusaba. Owuliranga okwegayirira kwabwe, n'obalwanirira ng'osinziira mu ggulu.
46
“Abantu bo bwe banaakolanga ebibi ne bakunyiiza, nga bwe watali atakola kibi, n'obasunguwalira era n'oleka abalabe baabwe okubawangula ne babatwala mu nsi eri okumpi oba ewala,
47
naye bwe baneerowoozanga nga bali eyo mu nsi gye batwaliddwa nga basibe, ne beenenya, ne bakwegayirira nga bagamba nti: ‘Twayonoona, twawaba, era twakola ebitasaana,
48
bwe baneenenyezanga ddala mu mazima nga bali eyo mu nsi y'abalabe baabwe abaabatwala nga basibe, ne babaako kye bakusaba nga batunuulidde ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe,’ era nga batunuulidde ekibuga kye weeroboza, era n'Essinzizo lino lye nkuzimbidde,
49
kale owuliranga bye bakusaba. Eyo mu ggulu gy'obeera, owuliranga okwegayirira kwabwe, n'obalwanirira,
50
n'osonyiwa abantu bo abakoze ebibi ne bakunyiiza, n'obawa okusaasirwa abo abaabatwala nga basibe, babakwatirwe ekisa,
51
kubanga be bantu bo, ababo ku bubwo, be waggya mu Misiri, mu kabiga k'omuliro, ak'ekyuma.
52
“Tunuulizanga bulijjo omuweereza wo, n'abantu bo Abayisirayeli amaaso ag'ekisa, era owulirenga okwegayirira kwabwe nga bakukoowoola okubayamba.
53
Kubanga wabaawula mu mawanga gonna ag'oku nsi, okuba ababo ku bubwo, nga bwe wagamba ng'oyita mu Musa omuweereza wo, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri, ayi Mukama, Katonda.”
54
Solomooni bwe yamala okusaba Mukama ebyo byonna n'okumwegayirira, n'asituka mu maaso ga alutaari ya Mukama, we yali afukamidde ng'agolodde emikono gye eri eggulu.
55
N'ayimirira, n'asabira ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli omukisa mu ddoboozi ery'omwanguka, ng'agamba nti:
56
“Mukama awadde abantu be Abayisirayeli emirembe nga bwe yasuubiza, atenderezebwe. Tewali na kimu kibuze ku birungi bye yasuubiza ng'ayita mu Musa omuweereza we.
57
Mukama, Katonda waffe abeerenga wamu naffe, nga bwe yabanga awamu ne bajjajjaffe, alemenga okutuleka, wadde okutwabulira.
58
Akyuse emitima gyaffe agizze gy'ali, tulyoke tumunywererengako bulijjo era tukuumenga amateeka ge n'ebiragiro bye ne by'akuutira, bye yawa bajjajjaffe.
59
Ebigambo byange bino bye njogedde nga neegayirira mu maaso ga Mukama, Mukama Katonda waffe abijjukirenga emisana n'ekiro, akwatirwenga abantu be Abayisirayeli n'omuweereza we kabaka waabwe, ekisa, mu byetaago byabwe buli lunaku,
60
abantu ab'omu mawanga gonna ku nsi balyoke bamanye nga Mukama ye Katonda yekka, tewali mulala.
61
Kale mmwe abantu be mubeerenga beesigwa eri Mukama, Katonda waffe, mukolerenga ku mateeka ge, era mukwatenga ebiragiro bye, nga bwe mukola kaakano.”
62
Awo Kabaka Solomooni wamu n'Abayisirayeli bonna abaali naye, ne bawaayo ebitambiro eri Mukama.
63
Solomooni n'awaayo ente emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, n'endiga emitwalo kkumi n'ebiri, okuba ekitambiro eky'ebiweebwayo olw'okutabagana.
64
Ku lunaku olwo, kabaka n'atukuza oluggya olwawakati olwali mu maaso g'Essinzizo, kubanga eyo gye yaweerayo ebitambiro ebyokebwa nga biramba, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'amasavu agaava ku biweebwayo olw'okutabagana. Ebitambiro ebyo yabiweerayo eyo, kubanga alutaari ey'ekikomo eyali mu maaso ga Mukama, yali ntono nnyo, ng'ebitambiro ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'amasavu g'ebiweebwayo olw'okutabagana, tebiyinza kugyako.
65
Mu kiseera ekyo, Solomooni ng'ali wamu n'Abayisirayeli bonna, n'akola embaga mu maaso ga Mukama, Katonda waffe, gye baamalako ennaku musanvu, n'ennaku endala musanvu, ze nnaku kkumi na nnya. Embaga eyo yaliko abantu bangi nnyo, abaava n'ewala ennyo, ng'eri awayingirirwa e Hamati mu bukiikakkono, ne ku Kagga ak'ensalo ne Misiri, mu bukiikaddyo.
66
Ku lunaku olw'omunaana, kabaka n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe. Abantu ne bamusabira omukisa, ne baddayo ewaabwe nga basanyufu, era nga bajaganya mu mitima gyabwe olw'ebirungi Mukama bye yali awadde Dawudi omuweereza we, n'abantu be Abayisirayeli.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22