bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 11
1 Kings 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 12 →
1
Kabaka Solomooni n'ayagala abakazi bangi abagwira, omwali ne muwala wa kabaka w'e Misiri, n'abakazi Abamowaabu, n'Abammoni, n'Abeedomu, n'Abasidoni, n'Abahiiti.
2
Ku b'amawanga ago, Mukama yali agambye Abayisirayeli nti: “Temuufumbiriganwenga nabo, kubanga tebalirema kuwugula mitima gyammwe kusinza balubaale baabwe.” Solomooni ne yeegatta nabo, n'abaagala.
3
Yalina abakazi lusanvu bakyala be, ne baganzi be ebikumi bisatu. Bakazi be abo ne bawugula omutima gwe.
4
We yakaddiyira nga bakazi be bawugudde omutima gwe okusinza balubaale, ne gutanywerera ku Mukama, Katonda we, ng'ogwa Dawudi kitaawe bwe gwamunywererako.
5
Kubanga Solomooni yasinza Asitoreeti lubaale omukazi ow'Abasidoni, ne Milukomu lubaale w'Abammoni eyeenyinyalwa.
6
Solomooni n'akola ekibi n'anyiiza Mukama, n'atanywerera ku Mukama nga Dawudi kitaawe bwe yakola.
7
Awo Solomooni n'azimba ku lusozi olwolekedde Yerusaalemu ekifo ekigulumivu eky'okusinzizaamu Kemosi lubaale w'Abamowaabu eyeenyinyalwa, n'ekya Moleki lubaale w'Abammoni era eyeenyinyalwa.
8
Era bw'atyo bwe yakolera bakazi be bonna abagwira abaayoterezanga obubaane, era abaawangayo ebitambiro eri balubaale baabwe.
9
Mukama n'asunguwalira Solomooni, kubanga Solomooni oyo yeggya ku Mukama, Katonda wa Yisirayeli, eyamulabikira emirundi ebiri,
10
n'amukuutira alemenga kusinza balubaale, wabula Solomooni n'atakwata ekyo Mukama kye yamukuutira.
11
Mukama kyeyava agamba Solomooni nti: “Nga bw'okoze ekyo n'ogaana okukuuma endagaano gye nakola naawe, era n'ojeemera amateeka ge nakuteerawo, mazima ndikuggyako obwakabaka ne mbuwa omu ku baweereza bo.
12
Naye ku lwa kitaawo Dawudi, ekyo sirikikola ng'okyali mulamu, wabula ndibuggya ku mwana wo.
13
Kyokka sirimuggyako bwakabaka bwonna, wabula ndimulekera Ekika kimu ku lwa Dawudi omuweereza wange, ne ku lwa Yerusaalemu, ekibuga kye neeroboza.”
14
Awo Mukama n'ayimusiza Solomooni omulabe ayitibwa Hadadi, omulangira w'e Edomu.
15
Emabegako, Dawudi bwe yali mu Edomu, Yowaabu omuduumizi w'eggye n'agenda okuziika abattibwa, era n'atta buli musajja mu Edomu.
16
Yowaabu n'Abayisirayeli bonna be yali nabo, baamalayo emyezi mukaaga, era mu kiseera ekyo, mwe battira buli musajja na buli mwana ow'obulenzi mu Edomu,
17
okuggyako Hadadi n'abamu ku baweereza Abeedomu aba kitaawe, abadduka ne bagenda mu Misiri. Hadadi yali akyali mwana muto.
18
Ne bava mu Midiyaani ne bagenda e Parani, gye baggya abasajja abamu, ne bagenda nabo e Misiri. Ne batuuka eri kabaka waayo. Ye n'awa Hadadi ekibanja n'ennyumba, era n'alagira bamuwenga ebyokulya.
19
Hadadi n'aganja nnyo ewa kabaka w'e Misiri, era kabaka oyo n'awa Hadadi omukazi ow'okuwasa, nga ye muganda wa mukazi we yennyini, Nnaabagereka Tapaneesi.
20
Muganda wa Tapaneesi n'azaalira Hadadi omwana ow'obulenzi Genubati. Tapaneesi n'akolera mu lubiri omukolo ogw'oku muggya ku mabeere. Genubati n'abeera mu lubiri lwa kabaka w'e Misiri wamu n'abaana ba kabaka.
21
Awo Hadadi bwe yawulira mu Misiri nga Dawudi akisizza omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, era nga ne Yowaabu omuduumizi w'eggye afudde, n'agamba kabaka w'e Misiri nti: “Ka ŋŋende, nzireyo mu nsi y'ewaffe.”
22
Kabaka n'amubuuza nti: “Kiki ky'ojula ng'oli nange, ekikwagaza okuddayo mu nsi y'ewammwe?” Hadadi n'addamu nti: “Tewali, naye era ndeka ŋŋende.”
23
Awo Katonda era n'ayimusiza Solomooni omulabe omulala, Rezoni mutabani wa Eliyaada. Rezoni oyo yali adduse ku mukama we Hadadezeri, kabaka we Zoba.
24
Dawudi bwe yatta ab'omu Zoba, Rezoni n'akuŋŋaanya abasajja, n'aba omukulu w'ekibinja kyabwe. Ne bagenda ne bamufuula kabaka mu Damasiko.
25
N'aba mulabe wa Yisirayeli mu mulembe gwa Solomooni gwonna. Okwo kw'ogatta eby'obulabe Hadadi bye yakolanga, Rezoni n'akyawa Yisirayeli, ng'olwo ye kabaka wa Siriya.
26
Ne Yerobowaamu mutabani wa Nebaati ow'e Zereda mu Efurayimu, nnyina nga nnamwandu erinnya lye Zeruuwa, naye n'ajeemera Kabaka Solomooni, mukama we.
27
Ekyaviirako Yerobowaamu okujeema kye kino: Kabaka Solomooni yazimba ebbibiro eriyitibwa Millo, n'aziba omuwaatwa ogwali mu kisenge ky'ekibuga kya Dawudi kitaawe.
28
Omusajja oyo Yerobowaamu yali wa maanyi. Solomooni bwe yalaba ng'omuvubuka oyo akola na maanyi, n'amuwa okulabirira omulimu gwonna ogw'ab'ennyumba ya Yosefu.
29
Awo olwatuuka, mu kiseera ekyo, Yerobowaamu bwe yali atambulako ng'ava e Yerusaalemu, omulanzi Ahiya ow'e Siilo n'amusanga mu kkubo, bombi ne baba bokka mu ttale. Ahiya yali ayambadde omunagiro omuggya.
30
Awo Ahiya n'akwata omunagiro omuggya gwe yali asuulidde, n'aguyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri.
31
N'agamba Yerobowaamu nti: “Weetwalireko ebitundu kkumi, kubanga Mukama, Katonda wa Yisirayeli, akugamba nti: ‘Ndiggya obwakabaka ku Solomooni, ne nkuwa ggwe ebika kkumi.
32
Solomooni alisigaza Ekika kimu ku lw'omuweereza wange Dawudi, ne ku lwa Yerusaalemu, ekibuga kye neeroboza mu nsi omuli Ebika bya Yisirayeli byonna.
33
Ekyo kiriba bwe kityo, kubanga banvaako ne basinza Asitoreeti lubaale omukazi ow'Abasidoni, ne Kemosi, lubaale wa Mowaabu, ne Milukomu, lubaale w'Abammoni, ne batannywererako kukola bye nsiima, n'okukwata amateeka gange n'ebiragiro byange nga Dawudi kitaawe wa Solomooni bwe yakolanga.
34
Kyokka siriggya ku Solomooni bwakabaka bwe bwonna, era ndimuleka n'afuga okutuusa lw'alikisa omukono, ku lwa Dawudi omuweereza wange gwe neeroboza, era eyakwata ebiragiro byange n'amateeka gange.
35
Wabula ndiggya obwakabaka ku mutabani wa Solomooni, ne nkuwa ggwe Ebika kkumi.
36
Mutabani we ndimulekera Ekika kimu, ndyoke mbenga bulijjo n'ow'ezzadde lya Dawudi omuweereza wange, afuga mu Yerusaalemu, ekibuga kye neeroboza okuba ekifo mwe banansinzizanga.
37
Ggwe ndikutwala n'oba kabaka wa Yisirayeli, n'ofuga nga bw'oyagala.
38
Bw'onossangayo omwoyo ku byonna bye nkulagira, n'onnywererako, n'okola bye nsiima, n'okwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange nga Dawudi omuweereza wange bwe yakolanga, nnaabeeranga wamu naawe. Ndikuwa okufuga Yisirayeli, ne nnyweza ab'ennyumba yo ku bufuzi, nga bwe nakola ku Dawudi.
39
Era ndibonereza ab'ezzadde lya Dawudi olw'ebibi bya Solomooni, naye siribabonereza nnaku zonna.’ ”
40
Solomooni bwe yamanya ebyo, n'asala amagezi okutta Yerobowaamu, kyokka Yerobowaamu n'addukira e Misiri ewa Sisaki kabaka waayo, n'abeera eyo okutuusa nga Solomooni amaze okufa.
41
Ebirala byonna ebyogerwa ku Solomooni, ne byonna bye yakola, era n'amagezi ge, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebikolwa bya Solomooni.
42
Ebbanga Solomooni lye yafugira Yisirayeli yonna mu Yerusaalemu lyali emyaka amakumi ana.
43
Awo Solomooni n'akisa omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, kitaawe. Mutabani we Rehobowaamu n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22