bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 20
1 Kings 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 21 →
1
Awo Benihadadi, kabaka wa Siriya, n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna, ne yeegattibwako bakabaka abalala amakumi asatu mu babiri, nga balina embalaasi n'amagaali, n'ayambuka n'azingiza Samariya, n'akirwanyisa.
2
N'atumira Ahabu, kabaka wa Yisirayeli ababaka mu kibuga okumugamba nti: “Kabaka Benihadadi agamba nti:
3
‘Ffeeza ne zaabu wo wange, ne bakazi bo n'abaana bo abasinga obulungi, bange.’ ”
4
Awo Kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Weewaawo, mukama wange, ayi kabaka, nze ndi wuwo ne byonna bye nnina bibyo, nga bw'ogambye.”
5
Awo ababaka ne bakomawo eri Ahabu ne bagamba nti: “Benihadadi agamba nti: ‘Kyamazima nakutumira nga ŋŋamba nti ojja kumpa ffeeza wo ne zaabu wo, ne bakazi bo n'abaana bo.
6
Naye enkya, mu budde nga buno, nja kukutumira abakungu bange, baaze olubiri lwo n'amaka g'abakungu bo, era bwe banaatuuka, buli ekikusanyusa kye banaakwatako engalo, bajja kukitwala.’ ”
7
Awo kabaka wa Yisirayeli n'ayita abakulembeze bonna mu ggwanga, n'abagamba nti: “Abange, mutegeere era mulabe ng'omusajja ono alina ky'atunoonyaako, kubanga yantumira nti mmuwe abakazi bange, n'abaana bange, ffeeza wange, ne zaabu wange, ne sibaako kye ŋŋaana kumuwa.”
8
Abakulembeze bonna era n'abantu bonna ne bamuddamu nti: “Towuliriza ebyo, era tokkiriza.”
9
Awo Ahabu n'agamba ababaka ba Benihadadi nti: “Mugambe mukama wange kabaka nti: ‘Byonna bye wasooka okuntumira, nze omuweereza wo, nja kubikola, naye kino siyinza kukikola.’ ” Ababaka ne bagenda ne baddiza Benihadadi obubaka.
10
Awo Benihadadi n'amutumira ng'agamba nti: “Nja kuleeta basajja bange bazikirize Samariya, bakifuule nfuufu, ereme na kubabuna buli omu okuyoolayo olubatu. Ekyo bwe siikituukirize, balubaale bambonereze n'obukambwe.”
11
Kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Mumugambe nti: ‘Oyo abagalira ebyokulwanyisa okugenda mu lutalo, aleme kwenyumiriza ng'oyo abiwummuza ng'aluwangudde.’ ”
12
Obubaka obwo Benihadadi yabuwulira nga ye ne bakabaka abo abaamwegattako bali mu nsiisira zaabwe banywa omwenge. N'alagira basajja be nti: “Mweteeketeeke!” Ne beeteekateeka okulumba ekibuga.
13
Mu kiseera ekyo ne wabaawo omulanzi eyajja eri Ahabu kabaka wa Yisirayeli, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Olabye eggye eryo lyonna eddene? Nja kuliwaayo mu mikono gyo olwaleero, olyoke omanye nga Nze Mukama.’ ”
14
Ahabu n'abuuza nti: “Baani abanaalirumba?” Omulanzi n'addamu nti: “Mukama agamba nti: ‘Abavubuka, abaweereza b'abafuzi b'ebitundu.’ ” Kabaka n'abuuza nti: “Ani anaasooka okulumba mu lutalo?” Omulanzi n'addamu nti: “Ggwe.”
15
Awo Kabaka Ahabu n'abala mu bavubuka abaweereza b'abafuzi b'ebitundu, okumanya b'alinawo, ne baba ebikumi bibiri mu asatu mu babiri. N'oluvannyuma n'abala mu b'eggye lya Yisirayeli bonna, nga bawera kasanvu.
16
Ne balumba mu ttuntu, nga Benihadadi ne bakabaka amakumi asatu mu ababiri abajja okumuyamba mu lutalo, bali mu nsiisira banywa, beggweera!
17
Abavubuka, abaweereza b'abafuzi b'ebitundu, ne basooka okulumba. Benihadadi n'atuma abakessi, ne bamubuulira nti waliwo abasajja abavudde mu Samariya.
18
N'alagira nti: “Ne bwe banaaba bazze kusaba mirembe, mubawambe mubaleete nga balamu, ne bwe banaaba bazze kulwana, era mubawambe mubaleete nga balamu.”
19
Kale abavubuka, abaweereza b'abafuzi b'ebitundu ne bafuluma ekibuga, n'eggye ne libagoberera.
20
Buli omu ku bo n'atta omuntu gwe yalwanyisa. Abasiriya ne badduka, Abayisirayeli ne babawondera. Benihadadi kabaka wa Siriya n'awona ng'addukidde ku mbalaasi, awamu n'ab'eggye lye abeebagala embalaasi.
21
Kabaka wa Yisirayeli n'agenda ne yeetaba mu lutalo, n'azikiriza embalaasi n'amagaali, n'atta Abasiriya bangi nnyo.
22
Awo omulanzi oli n'agenda eri kabaka wa Yisirayeli, n'amugamba nti: “Genda weenyweze, weetegereze olabe ky'onookola, kubanga omwaka bwe gunaaba gutandika, kabaka wa Siriya ajja kudda akulumbe.”
23
Awo abakungu ba kabaka wa Siriya ne bamugamba nti: “Lubaale w'Abayisirayeli, lubaale wa ku nsozi, kyebaava batusinga amaanyi. Naye tubalwanyisize mu lusenyi, olwo mazima tujja kubasinga amaanyi.
24
Era kino ky'oba okola: ggyawo bakabaka, buli omu mu kifo mw'obadde omutadde, mu kifo kyabwe oteekewo abaduumizi b'amagye.
25
Era bala oweze eggye eryenkanankana n'eggye lye wafiirwa: awaali embalaasi, ozzeewo embalaasi, n'awaali eggaali, ozzeewo eggaali, tubalwanyisize mu lusenyi, tetuuleme kubasinga maanyi.” Kabaka Benihadadi n'akkiriza amagezi ge baamuwa, n'agagoberera.
26
Omwaka bwe gwali nga gutandika, n'akuŋŋaanya Abasiriya, n'agenda nabo mu Afeki okulwanyisa Abayisirayeli.
27
N'Abayisirayeli ne bakuŋŋaanyizibwa, ne baweebwa entanda yaabwe ey'emmere, ne bagenda okulwanyisa Abasiriya abo. Abayisirayeli ne basiisira okuboolekera nga bali ng'obugana bw'embuzi obuto bubiri, naye Abasiriya nga babunye wonna.
28
Awo omusajja wa Katonda n'ajja n'agamba Ahabu kabaka wa Yisirayeli nti: “Mukama agamba nti: ‘Kubanga Abasiriya bagambye nti: Mukama lubaale wa ku nsozi, sso si wa mu biwonvu, eggye lyabwe lino lyonna eddene kyennaava ndiwaayo mu mikono gyo, mmwe mulyoke mumanye nga Nze Mukama.’ ”
29
Abasiriya n'Abayisirayeli ne basiisira nga boolekaganye okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olw'omusanvu, ne balumbagana. Mu lunaku lumu, Abayisirayeli ne batta mu ggye lya Siriya abaserikale emitwalo kkumi abatambula ku bigere.
30
Abaawonawo ne baddukira mu Kibuga Afeki. Eyo ate ekisenge ky'ekibuga ne kigwa ku batabaazi emitwalo ebiri mu kasanvu. Benihadadi n'adduka, n'atuuka mu kibuga, ne yeekweka mu kisenge ekyomunda.
31
Abakungu be ne bamugamba nti: “Tuwulidde nga bakabaka ba Yisirayeli baba ba kisa. Tusaba otukkirize twesibe ebikutiya mu biwato, n'emiguwa ku mitwe gyaffe, tugende eri kabaka wa Yisirayeli, oboolyawo anaawonya obulamu bwo.”
32
Awo ne beesiba ebikutiya mu biwato, ne batikkira emiguwa ku mitwe gyabwe, ne bajja eri kabaka wa Yisirayeli, ne bagamba nti: “Omuweereza wo Benihadadi agamba nti: ‘Nkwegayiridde, ndekera obulamu bwange.’ ” Ahabu n'addamu nti: “Akyali mulamu? Oyo muganda wange.”
33
Abasajja abo baali bafuba nnyo okwetegereza ky'anaayogera. Ahabu bwe yagamba nti: “Oyo muganda wange,” amangwago ne bakyesibako ne bagamba nti: “Weewaawo, Ssaabasajja, Benihadadi muganda wo.” Ahabu n'agamba nti: “Mugende mumuleete.” Benihadadi n'avaayo, n'ajja gy'ali. Ahabu n'amulinnyisa mu ggaali lye.
34
Awo Benihadadi n'amugamba nti: “Ebibuga kitange bye yaggya ku kitaawo, nze nja kubikuddiza, era bw'onooyagala oneezimbira obutale mu Damasiko, nga kitange bwe yeezimbira mu Samariya.” Ahabu n'agamba nti: “Ku kakalu ako, nja kukuta.” Awo n'akola naye endagaano, n'amuta.
35
Awo omusajja omu ku balanzi, nga Mukama ye amulagidde n'agamba munne nti: “Nkwegayiridde, nfumita.” Kyokka munne n'agaana.
36
Awo n'amugamba nti: “Nga bw'ojeemedde ekiragiro kya Mukama, bw'onooba nga kyojje ove we ndi, empologoma ejja kukutta.” Era bwe yali nga kyajje ave ono w'ali, empologoma n'emutta.
37
Awo omulanzi oyo n'asanga omusajja omulala, n'amugamba nti: “Nfumita, nkwegayiridde.” Omusajja n'amufumita, n'amuteekako ekiwundu.
38
Awo omulanzi ne yeebikka ekiremba ku maaso ne yeebuzaabuza, n'agenda n'alindirira kabaka ku kkubo.
39
Kabaka bwe yali ayitawo, omulanzi n'amukoowoola, n'agamba nti: “Nze omuweereza wo bwe nali mu lutalo mu ddwaniro, omutabaazi omu n'ava eri n'andeetera omusajja, era n'aŋŋamba nti: ‘Kuuma omusajja ono. Bw'alibomba, obulamu bwo bw'olisasulamu obubwe, oba oliriwa talanta nnamba eya ffeeza.’
40
Awo nze omuweereza wo, bwe nali nga ntawaana eno n'eri, omusajja n'abomba.” Kabaka wa Yisirayeli n'amugamba nti: “Omusango ggwe ogwesalidde ggwe wennyini.”
41
Awo omulanzi n'aggya mangu ekiremba ku maaso ge. Kabaka wa Yisirayeli bwe yamulaba, n'amutegeera nga ye omu ku balanzi.
42
Omulanzi n'agamba kabaka nti: “Mukama agamba nti: ‘Nga bwe wata omusajja gwe nalagira attibwe, n'omuleka n'agenda, obulamu bwo bw'onoosasuza obubwe, n'abantu bo be banadda mu kifo ky'abantu be.’ ”
43
Awo kabaka wa Yisirayeli n'addayo ewuwe ng'anyiikadde era ng'anyiize, n'agenda e Samariya.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22