bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 19
1 Kings 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 20 →
1
Awo Kabaka Ahabu n'abuulira mukazi we Yezebeeli byonna Eliya bye yakola, ne bwe yatta abalaguzi ba Baali bonna.
2
Awo Yezebeeli n'atuma omubaka eri Eliya ng'amugamba nti: “Balubaale bambonereze n'obukambwe singa enkya, mu budde nga buno, nnaaba sinnakutta, nga ggwe bwe wasse abantu abo.”
3
Awo Eliya n'atya, n'asituka n'adduka okuwonya obulamu bwe. N'agenda e Beruseba eky'omu Buyudaaya. N'aleka eyo omuweereza we.
4
Kyokka ye n'atambula mu ddungu olugendo lwa lunaku lumu, n'ajja n'atuula wansi w'omwoloola, ne yeesabira okufa. N'agamba nti: “Kimala! Kaakano, ayi Mukama, twala obulamu bwange, kubanga sirina kye ngasizza kisinga kya bajjajjange!”
5
N'agalamira, ne yeebaka wansi w'omwoloola. Awo malayika n'amukwatako, n'amugamba nti: “Golokoka olye.”
6
Eliya n'atunula eno n'eri n'amagamaga, n'alaba emitwetwe we omugaati ogukaliriddwa ku manda, era n'akasumbi k'amazzi. N'alya era n'anywa, n'addamu okugalamira.
7
Malayika wa Mukama n'ajja omulundi ogwokubiri, n'amukwatako, n'agamba nti: “Golokoka olye, sikulwa ng'olugendo lukulemerera, kubanga lukyali luwanvu.”
8
Eliya n'agolokoka, n'alya era n'anywa, ebyokulya ne bimuwa amaanyi, n'atambula ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, n'atuuka ku Horebu, Olusozi lwa Katonda.
9
Eliya bwe yatuuka ku Lusozi Horebu, n'ayingira mu mpuku, n'asula omwo. Awo Mukama n'ayogera naye, n'amubuuza nti: “Eliya okola ki wano?”
10
Eliya n'addamu nti: “Nnumirwa nnyo ekitiibwa kyo, ayi Mukama, Katonda Nnannyinimagye, kubanga Abayisirayeli bamenye endagaano gye wakola nabo, bamenyeewo zaalutaari zo, era basse abalanzi bo, nze nzekka nze nsigaddewo, ate nange baagala okunzita.”
11
Mukama n'agamba nti: “Fuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso gange.” Olwo Mukama n'ayitawo, embuyaga ey'amaanyi n'emenya ensozi, era n'eyasa enjazi ng'emukulembeddemu, kyokka Mukama nga tali mu mbuyaga. Embuyaga bwe yamala okuyita ne wabaawo okukankana kw'ensi, kyokka Mukama nga tali mu kukankana kwa nsi.
12
Okukankana kw'ensi bwe kwakoma, ne wabaawo omuliro, kyokka era Mukama nga tali mu muliro. Omuliro bwe gwavaawo, ne wabaawo akaloboozi akatono ak'ekimpowooze.
13
Awo Eliya bwe yawulira akaloboozi ako, ne yeebikka ku maaso omunagiro gwe, n'afuluma empuku, n'ayimirira ku mulyango gwayo. Olwo n'awulira eddoboozi nga limugamba nti: “Okola ki wano, Eliya?”
14
Eliya n'addamu nti: “Nnumirwa nnyo ekitiibwa kyo, ayi Mukama, Katonda Nnannyinimagye, kubanga Abayisirayeli bamenye endagaano gye wakola nabo, bamenyeemenye zaalutaari zo, era basse abalanzi bo, era nze nzekka nze nsigaddewo, naye nange baagala kunzita.”
15
Mukama n'amugamba nti: “Ddayo mu ddungu okumpi ne Damasiko. Bw'onootuukayo, ofuke omuzigo ku Hazayeeli afuuke kabaka wa Siriya,
16
ogufuke ne ku Yeehu mutabani wa Nimusi afuuke kabaka wa Yisirayeli, era ogufuke ne ku Elisa mutabani wa Saafati ow'e Abeli Mehola afuuke omulanzi mu kifo kyo.
17
Kale oyo anaawona okuttibwa Hazayeeli, anattibwa Yeehu, era anaawona okuttibwa Yeehu, anattibwa Elisa.
18
Naye ndyesigalizaawo abantu kasanvu mu Yisirayeli, bonna abatafukaamiriranga Bbaali, era abatamunywegerangako.”
19
Awo Eliya n'avaayo, n'asanga Elisa mutabani wa Saafati. Elisa yali alima. Emigogo gy'ente kkumi n'ebiri gyali awo mu maaso ge. Ye yali alimisa mugogo ogw'ekkumi n'ebiri. Eliya n'agenda w'ali, n'amusuulako omunagiro gwe.
20
Elisa n'aleka awo ente, n'adduka mbiro okugoberera Eliya, n'agamba nti: “Ka mmale okunywegera kitange ne mmange okubasiibula, ndyoke mpitenga naawe.” Eliya n'amugamba nti: “Ddayo, ate nze nkugaanye?”
21
Elisa eby'okugoberera Eliya n'asooka abivaako, n'addayo, n'addira omugogo gw'ente, n'azitta, n'afumba ennyama yaazo ng'ebikoligo byazo by'afudde enku, n'agigabula abantu, ne balya. Ebyo bwe byaggwa, Elisa n'asituka n'agenda n'abeeranga ne Eliya, n'amuweerezanga.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22