bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 21
1 Kings 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 22 →
1
Ebyo nga biwedde, waaliwo Naboti ow'e Yezireeli eyalina ennimiro y'emizabbibu okumpi n'olubiri lwa Ahabu kabaka w'e Samariya.
2
Awo Ahabu n'ayogera ne Naboti, ng'agamba nti: “Mpa ennimiro yo ey'emizabbibu. Nga bw'eri okumpi n'olubiri lwange, njagala efuuke ennimiro yange ey'enva. Nze mu kifo kyayo, nja kukuwaamu ennimiro endala ey'emizabbibu esingako obulungi. Oba bw'onoosiima, nja kukusasulamu omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu.”
3
Awo Naboti n'agamba Ahabu nti: “Kikafuuwe, nze okukuwa omugabo ogwaweebwa bajjajjange.”
4
Ahabu n'addayo ewuwe ng'anyiikadde era ng'anyiize olw'ekigambo Naboti ow'e Yezireeli ky'amugambye nti: “Sijja kukuwa mugabo ogwaweebwa bajjajjange.” N'agalamira ku kitanda kye, n'atunula eri, n'agaana n'okulya emmere.
5
Mukazi we Yezebeeli n'ajja gy'ali n'amubuuza nti: “Kiki ekikunakuwazizza obwenkanidde awo, n'otuuka n'obutalya mmere?”
6
Ahabu n'addamu nti: “Kubanga njogedde ne Naboti ow'e Yezireeli ne mmugamba nti: ‘Mpa ennimiro yo ey'emizabbibu ng'oginguza, oba bw'osiima, nkuweemu ennimiro endala ey'emizabbibu mu kifo kyayo,’ n'addamu nti: ‘Sijja kukuwa nnimiro yange ey'emizabbibu.’ ”
7
Yezebeeli mukazi we n'amuddamu nti: “Si ggwe ofuga Yisirayeli kaakano? Golokoka olye ku mmere, n'omutima gwo gukukke. Nze nja kukuwa ennimiro y'emizabbibu eya Naboti Omuyezireeli.”
8
Awo Yezebeeli n'awandiika ebbaluwa mu linnya lya Ahabu, n'azissaako akabonero ka Ahabu, n'aziweereza abakulembeze n'abakungu ab'omu kibuga Naboti mw'abeera.
9
Mu bbaluwa ezo, yawaandiika nti: “Mulangirire olunaku olw'okusiiba, muyite abantu bakuŋŋaane, era muwe Naboti ekifo eky'oku mwanjo.
10
Muleete mu maaso ge abasajja babiri abataliimu nsa, bamulumirize nti: ‘Wavuma Katonda ne kabaka!’ Olwo mulyoke mumuggyewo, mumukube amayinja, afe.”
11
Awo abantu b'omu kibuga Yezireeli, abakulembeze n'abakungu, ne bakola nga Yezebeeli bwe yabalagira mu bbaluwa ze yabaweereza.
12
Ne balangirira olunaku olw'okusiiba, ne bayita abantu, abantu ne bakuŋŋaana, ne bateeka Naboti mu kifo eky'oku mwanjo.
13
Abasajja babiri ne batuula mu maaso ge. Abasajja abo ne bamulumiriza mu maaso g'abantu nga bagamba nti: “Naboti yavuma Katonda ne kabaka.” Abantu ne bamutwala ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja, n'afa.
14
Ne batumira Yezebeeli nti: “Naboti akubiddwa amayinja, era afudde.”
15
Yezebeeli bwe yawulira nga Naboti akubiddwa amayinja, era ng'afudde, n'agamba Ahabu nti: “Situka, ogende weefunire ennimiro ey'emizabbibu eya Naboti Omuyezireeli, gye yagaana okukuguza, kubanga Naboti oyo takyali mulamu, wabula mufu wa jjo!”
16
Ahabu bwe yawulira nga Naboti afudde, n'asituka okugenda okwefunira ennimiro y'emizabbibu eya Naboti oyo Omuyezireeli.
17
Awo Mukama n'agamba Eliya Omutisubi nti:
18
“Situka, ogende osisinkane Ahabu kabaka wa Yisirayeli abeera mu Samariya. Kaakano ali mu nnimiro y'emizabbibu eya Naboti.
19
Onoomugamba nti: ‘Mukama agamba nti: Otemudde omuntu, era otutte n'ebibye?’ Era onoomugamba nti: ‘Mukama agamba nti: Mu kifo embwa mwe zaakombedde omusaayi gwa Naboti, era mwe zinaakombera n'omusaayi gwo ggwe.’ ”
20
Awo Ahabu n'agamba Eliya nti: “Ongwikirizza, ggwe omulabe wange?” Eliya n'addamu nti: “Nkugwikirizza. Nga bwe weeweereddeyo ddala okukola ebitasanyusa Mukama,
21
kale kaakano Mukama akugamba nti: ‘Nja kukutuusaako akabi, nkusaanyizeewo ddala ggwe Ahabu. Era ndimalawo mu Yisirayeli buli mwana wo ow'obulenzi omuto n'omukulu.
22
Ab'ennyumba yo ndibafuula ng'ab'ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, era ng'ab'ennyumba ya Baasa mutabani wa Ahiya, kubanga wansunguwaza olw'okuleetera Yisirayeli okwonoona.’
23
Ne ku Yezebeeli, Mukama agamba nti: ‘Embwa zinaaliira Yezebeeli kumpi n'ekisenge ky'ekibuga Yezireeli.
24
Owuwo ggwe Ahabu, anaafiira mu kibuga, embwa zinaamulya, n'oyo anaafiira ku ttale, ebinyonyi binaamulya.’ ”
25
Ddala tewali yatuuka ku Ahabu mu kweweerayo ddala kukola bitasiimibwa Mukama. Mukazi we Yezebeeli ye yamupikirizanga okubikola.
26
Ahabu n'akolanga ebyenyinyalwa ennyo, ng'asinza ebifaananyi, ng'Abaamori, Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli banaatera okutuuka.
27
Ahabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'ayambala bikutiya ku mubiri gwe. N'atalya mmere, n'asula mu bikutiya, n'atambula mpola ng'anyiikadde ng'agenda.
28
Mukama n'agamba Eliya Omutisubi nti:
29
“Olabye Ahabu bwe yeetoowazizza mu maaso gange? Kale nga bwe yeetoowazizza mu maaso gange, akabi sirikaleeta mu mulembe gwe, wabula ndikaleeta ku b'ennyumba ye mu mulembe gwa mutabani we.”
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22