bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 13
1 Kings 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 14 →
1
Awo omusajja wa Katonda n'ava mu Buyudaaya nga Mukama ye amulagidde, n'ajja e Beteli. N'asanga Yerobowaamu ng'ayimiridde awali alutaari, okunyookeza obubaane.
2
Omusajja oyo, ng'akolera ku ekyo Mukama kye yamulagira, n'akolimira alutaari eyo ng'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Alutaari ggwe, alutaari ggwe, Mukama agamba nti: ‘Laba eno: omwana alizaalirwa ennyumba ya Dawudi, erinnya lye Yosiya, ku ggwe kw'alittira bakabona b'ebifo ebigulumivu eby'oku busozi, abakunyookerezaako obubaane. Era amagumba g'abafu galyokerwa ku ggwe.’ ”
3
Era omusajja wa Katonda n'awa akabonero ku lunaku olwo ng'agamba nti: “Kano ke kabonero Mukama k'ayogedde: alutaari eno ejja kwatika, evvu erigiriko liyiike.”
4
Awo olwatuuka, Kabaka Yerobowaamu bwe yawulira ekyo omusajja wa Katonda ky'ayogedde mu ddoboozi ery'omwanguka okuvumirira alutaari mu Beteli, n'agolola omukono ng'asinziira ku alutaari, n'alagira nti: “Mumukwate!” Amangwago omukono gw'amugololedde ne gukakanyala, n'atayinza na kuguzza.
5
Alutaari nayo n'eyatika, evvu eryagiriko ne liyiika okutuukiriza akabonero omusajja wa Katonda ke yabawa nga Mukama bwe yamulagira.
6
Awo Kabaka Yerobowaamu n'agamba omusajja wa Katonda nti: “Weegayirire Mukama, Katonda wo, onsabire, omukono gwange guwone.” Omusajja wa Katonda ne yeegayirira Mukama, omukono gwa kabaka ne guwona, ne guddawo mu mbeera yaagwo eya bulijjo.
7
Kabaka n'agamba omusajja wa Katonda nti: “Tugende ffenna eka, owummuleko, era nkuwe ekirabo.”
8
Omusajja wa Katonda n'agamba kabaka nti: “Ne bw'onompa ekimu ekyokubiri eky'obugagga bw'omu lubiri lwo, sijja kuyingira wamu naawe, era sijja kulya mmere wadde okunywa amazzi mu kifo kino.
9
Mukama bw'atyo bw'andagidde nti: ‘Tolyayo mmere wadde okunywayo amazzi, era toddira mu kkubo lye wakutte ng'ogendayo.’ ”
10
Awo n'ayita mu kkubo ddala, n'ataddira mu kkubo lye yayitamu ng'ajja e Beteli.
11
Mu kiseera ekyo, waaliwo omulanzi omukadde eyali abeera mu Beteli. Omu ku batabani be n'ajja n'amubuulira byonna omusajja wa Katonda bye yali akoze mu Beteli ku lunaku olwo. Ebigambo bye yagamba kabaka nabyo abaana ne babibuulira kitaabwe.
12
Kitaabwe n'ababuuza nti: “Kkubo ki ly'akutte ng'addayo?” Batabani be baali balabye ekkubo omusajja wa Katonda eyava e Buyudaaya lye yakwata.
13
N'agamba batabani be nti: “Munteekere amatandiiko ku ndogoyi.” Ne bagamuteerako, n'agyebagala,
14
n'awondera omusajja wa Katonda, n'amusanga ng'atudde wansi w'omuvule. N'amubuuza nti: “Ggwe musajja wa Katonda eyava mu Buyudaaya?” Oli n'amuddamu nti: “Ye nze.”
15
N'amugamba nti: “Jjangu tugende ffembi eka, olye ku mmere.”
16
Omusajja wa Katonda n'agamba nti: “Siyinza kuddayo wamu naawe, wadde okuyingira naawe mu nnyumba, era sijja kulya mmere, wadde okunywa amazzi wamu naawe mu kifo kino,
17
kubanga Mukama yannumiriza ng'agamba nti: ‘Tolyayo mmere wadde okunywayo amazzi, era bw'oba ovaayo, toyita mu kkubo lye wayitamu ng'ogendayo.’ ”
18
Awo omulanzi omukadde ow'e Beteli n'amugamba nti: “Nange ndi mulanzi nga ggwe. Mukama yalagidde malayika n'aŋŋamba nti: ‘Mukomyeewo, ajje mu nnyumba yo, alye ku mmere era anywe ku mazzi.’ ” Sso ng'amulimba.
19
Awo omusajja wa Katonda n'addayo n'omulanzi w'e Beteli, n'alya emmere mu nnyumba ye, era n'anywa amazzi.
20
Awo bwe baali batudde ku lujjuliro, ekigambo kya Mukama ne kijjira omulanzi eyamukomyawo.
21
Mu ddoboozi ery'omwanguka, n'agamba omusajja wa Katonda eyava mu Buyudaaya nti: “Mukama agamba nti: ‘Nga bw'ojeemedde kye nakugamba Nze Mukama, Katonda wo, n'otokola kye nakulagira,
22
naye n'okomawo, n'olya emmere era n'onywa amazzi mu kifo kye nakugambako nti tolyayo mmere era tonywayo mazzi, omulambo gwo teguliziikibwa ku biggya bya bajjajjaabo.’ ”
23
Omulanzi omukadde bwe yamala okulya emmere n'okunywa, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi, ng'agitegekera omulanzi gwe yakomyawo.
24
Omulanzi oyo n'atandika olugendo lwe. Empologoma n'emusanga mu kkubo, n'emutta. Omulambo gwe ne gugaŋŋalama ku kkubo. Endogoyi n'empologoma ne ziyimirira kumpi nagwo.
25
Abantu abaali bayitawo ne balaba omulambo nga gugaŋŋalamye ku kkubo, n'empologoma ng'eyimiridde kumpi nagwo. Ne bagenda ne bakibuulira abantu ab'omu kibuga, omulanzi omukadde mw'abeera.
26
Omulanzi eyali asanze mu kkubo omusajja wa Katonda n'amukomyawo, bwe yakiwulira, n'agamba nti: “Ye musajja wa Katonda eyajeemedde Mukama kye yamulagira, Mukama n'amuwaayo, empologoma n'emutaagula n'emutta, ne kiba nga Mukama bwe yamugamba.”
27
Awo n'agamba batabani be nti: “Munteekere amatandiiko ku ndogoyi.” Ne bagateekako.
28
N'agenda, n'asanga omulambo gw'omusajja wa Katonda nga gugaŋŋalamye ku kkubo, era endogoyi n'empologoma nga biyimiridde kumpi nagwo, empologoma nga tegulidde era nga tetaagudde ndogoyi.
29
Omulanzi n'asitula omulambo gw'omusajja wa Katonda, n'aguteeka ku ndogoyi, n'akomawo nagwo mu kibuga, okukungubaga n'okuguziika.
30
N'ateeka omulambo gw'omusajja wa Katonda mu ntaana eyiye kennyini, ne bamukungubagira nti: “Woowe, sseruganda!”
31
Bwe yamala okumuziika, n'agamba batabani be nti: “Bwe ndimala okufa, munziikanga mu ntaana omusajja wa Katonda oyo mw'aziikiddwa. Amagumba gange mugaganzikanga kumpi n'amagumba ge.
32
Mukama bye yamulagira okwogera n'avumirira alutaari eri mu Beteli, n'amasabo gonna ag'omu bifo ebigulumivu eby'oku busozi ebiri mu bibuga by'e Samariya, tebirirema kutuukirira.”
33
Ebyo bwe byamala okubaawo, Yerobowaamu teyakyuka kulekayo mpisa ze embi, wabula ne yeeyongera bweyongezi okussaawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu eby'oku busozi ng'abaggya mu bantu abaabulijjo. N'ayawulanga buli muntu eyayagalanga okwawulibwa, n'aba omu ku bakabona ab'ebifo ebigulumivu eby'oku busozi.
34
Ekibi kya Yerobowaamu ekyo ne kireetera ab'ennyumba ye okuzikirira n'okuggweerawo ddala.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22