bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 5
1 Kings 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 6 →
1
Awo Kabaka Hiraamu ow'e Tiiro bwe yawulira nga bafuse ku Solomooni omuzigo okusikira Dawudi kitaawe ku bwakabaka, n'amutumira abaweereza be, kubanga Hiraamu okuva edda yali mukwano gwa Dawudi.
2
Solomooni n'atumira Hiraamu ng'agamba nti:
3
“Omanyi nga kitange Dawudi, olw'entalo ze yalina okulwana n'ensi z'abalabe ezaali zimwetoolodde enjuyi zonna, teyasobola kuzimbira Mukama, Katonda we Ssinzizo, okutuusa nga Mukama amaze okumusobozesa okuwangula abalabe be bonna.
4
Naye kaakano Mukama, Katonda wange ampadde emirembe ku njuyi zonna, tewali mulabe wadde akabi akajja.
5
Kyenvudde nsalawo okuzimbira Mukama, Katonda wange Essinzizo, nga Mukama bwe yagamba kitange Dawudi nti: ‘Mutabani wo gwe nditeeka ku ntebe yo ey'obwakabaka n'akusikira, ye alinzimbira Essinzizo.’
6
Kale kaakano lagira bantemere emivule ku Lusozi Lebanooni. Abaweereza bange banaakolera wamu n'ababo. Abaweereza bo nja kubawa empeera ggwe gy'onooyagala mbawe. Nga bw'omanyi, eno ewaffe tetulina bamanyi kutema miti nga Basidoni.”
7
Awo Hiraamu bwe yafuna obubaka bwa Solomooni, n'asanyuka nnyo, n'agamba nti: “Mukama olwaleero yeebazibwe, eyawa Dawudi omwana ow'amagezi okufuga eggwanga lino ekkulu.”
8
Awo Hiraamu n'aweereza Solomooni obubaka nti: “Obubaka bw'ontumidde mbufunye. Ku by'emiti emivule n'emiberosi, nja kukukolera byonna nga bw'oyagala.
9
Abaweereza bange baligiggya ku Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja. Ndigisiba wamu ng'ebibaya okugiyisa ku nnyanja, gigobe mu kifo ky'olindaga. Ndiragira ne bagisumululira eyo, n'olyoka ogiggyayo. Ggwe kye njagala okole, kwe kufunira abantu bange emmere.”
10
Awo Hiraamu n'awa Solomooni emiti gyonna egy'emivule n'emiberosi Solomooni gye yayagala.
11
Buli mwaka Solomooni n'awanga Hiraamu kilo z'eŋŋaano obukadde buna mu emitwalo amakumi ana, n'omuzigo gw'emizayiti omulungi, lita enkumi nnya mu bina, okuliisa abantu be.
12
Mukama n'awa Solomooni amagezi nga bwe yasuubiza. Hiraamu ne Solomooni ne baba mirembe, ne bakola endagaano wakati waabwe bombi.
13
Awo Kabaka Solomooni n'alagira ne bakuŋŋaanya mu Yisirayeli yonna abasajja emitwalo esatu ab'okukola omulimu.
14
N'aweerezanga e Lebanooni abasajja omutwalo gumu gumu buli mwezi mu mpalo. Baamalanga omwezi gumu ku Lebanooni, ne bamala emyezi ebiri ewaabwe. Adoniraamu ye yakulira abaakuŋŋaanyizibwa okukola omulimu.
15
Solomooni era yalina abasajja emitwalo musanvu abeetissi, n'abalala emitwalo munaana abaayasanga amayinja mu nsozi.
16
Yateekawo n'abaami enkumi ssatu mu bisatu okulabirira omulimu n'okukulira abakozi.
17
Kabaka n'alagira ne baasa era ne boola amayinja amanene era amalungi ddala, nga ga kuzimbisa omusingi gw'Essinzizo.
18
Abazimbi aba Solomooni n'aba Hiraamu, n'abasajja abaava e Gebali ne boola amayinja ago, era ne bakomola emiti ne bagitegeka wamu n'amayinja gali, okuzimba Essinzizo.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22