bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 16
1 Kings 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 17 →
1
Awo Mukama n'atuma Yeehu mutabani wa Hanani okuvumirira Baasa ng'agamba nti:
2
“Wali toliiko bw'oli ne nkufuula mukulembeze wa bantu bange Abayisirayeli. Naye naawe ogoberedde empisa embi eza Yerobowaamu, n'oleetera abantu bange Abayisirayeli okwonoona, ne mbasunguwalira olw'ebibi byabwe.
3
Kale ndimalirawo ddala ab'ennyumba yo bonna nga bwe namalirawo ddala ab'ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati.
4
Owuwo, ggwe Baasa, anaafiira mu kibuga, embwa zinaamulya, n'oyo anaafiira ku ttale, ebinyonyi binaamulya.”
5
N'ebirala byonna Baasa bye yakola omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
6
Baasa n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa e Tiruza. Mutabani we Ela n'amusikira ku bwakabaka.
7
Ddala Mukama yayogera ng'ayita mu mulanzi Yeehu mutabani wa Hanani, n'avumirira Baasa n'ab'ennyumba ye, olw'ebibi byonna Baasa bye yakola n'anyiiza Mukama. Yasunguwaza Mukama, si lwa bibi bye byokka bye yakola, nga Yerobowaamu, wabula n'olw'okutta ab'ennyumba ya Yerobowaamu bonna.
8
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omukaaga nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Ela mutabani wa Baasa n'afuuka Kabaka wa Yisirayeli, n'afugira emyaka ebiri mu Tiruza.
9
Awo Zimuri, omu ku bakungu be, eyakuliranga ekimu ekyokubiri eky'amagaali ge, n'amwekobera. Lumu, Ela bwe yali ng'anywa omwenge, n'atamiirira mu maka ga Aruza eyali omukuumi w'olubiri lw'e Tiruza,
10
Zimuri n'ayingira, n'amufumita n'amutta, n'amusikira ku bwakabaka, mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu nga Asa ye Kabaka wa Buyudaaya.
11
Zimuri olwamala okufuuka kabaka, nga kyajje atuule ku ntebe ye, n'atta ab'ennyumba ya Baasa bonna, obutamulekerawo mwana wa bulenzi, k'abe owuwe, oba ow'ab'ezzadde lye, wadde owa mikwano gye.
12
Bw'atyo Zimuri n'azikiriza ab'ennyumba ya Baasa bonna nga Mukama bwe yayogera okuvumirira Baasa, ng'ayita mu Yeehu omulanzi,
13
kubanga ebibi byonna Baasa ne mutabani we Ela bye baakola, okusinza ebitali Katonda, era ne bye baakola ebyaleetera Yisirayeli okwonoona, byasunguwaza Mukama, Katonda wa Yisirayeli.
14
N'ebirala byonna Ela bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
15
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu nga Asa ye Kabaka wa Buyudaaya, Zimuri n'afuuka kabaka, n'afugira ennaku musanvu e Tiruza. Abayisirayeli baali basiisidde okulwanyisa ekibuga Gibbetooni eky'Abafilistiya.
16
Abantu abaali basiisidde bwe baawulira nga Zimuri yeekobedde kabaka n'amutta, ku lunaku olwo lwennyini Abayisirayeli bonna abaali mu lusiisira, Omuri omukulu w'eggye ne bamufuula kabaka wa Yisirayeli.
17
Omuri n'Abayisirayeli bonna ne bava e Gibbetooni ne bagenda ne bazingiza ekibuga Tiruza.
18
Zimuri bwe yalaba ng'ekibuga kiwambiddwa, n'ayingira mu kifo ekigumu eky'omu lubiri munda, olubiri n'alukumako omuliro ne yeeyokeramu, n'akisa omukono
19
olw'ebibi bye bye yakola n'anyiiza Mukama. Yakola nga Yerobowaamu, n'anyiiza Mukama olw'ebibi bye ye yennyini bye yakola, n'olw'okuleetera Yisirayeli okwonoona.
20
N'ebirala byonna Zimuri bye yakola, omuli n'olukwe lwe yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
21
Awo Abayisirayeli ne beesalamu ebitundu bibiri: abamu nga baagala Tibuni mutabani wa Ginati gwe baba bafuula kabaka, abalala nga baagala Omuri.
22
Abaagala Omuri ne baba ba maanyi okusinga abaagala Tibuni mutabani wa Ginati. Tibuni n'afa, Omuri n'afuuka kabaka.
23
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ogumu nga Asa ye Kabaka wa Buyudaaya, Omuri n'afuuka Kabaka wa Yisirayeli, n'afugira emyaka kkumi n'ebiri. Yafugira emyaka mukaaga mu Tiruza.
24
N'agula ku Semeri olusozi Samariya ebitundu kakaaga ebya ffeeza, n'aluzimbako ekibuga. Ekibuga ekyo kye yazimbako n'akituuma Samariya, ng'akibbulamu erinnya lya Semeri eyali nnannyini lusozi olwo.
25
Omuri n'akola ebibi n'anyiiza Mukama, n'ayonoona okusinga bonna abaamusooka.
26
Yakolera ddala nga Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, n'asunguwaza Mukama, Katonda wa Yisirayeli, olw'ebibi ebibye bye yakola, era n'olw'okuleetera Abayisirayeli okwonoona nga basinza ebitali Katonda.
27
N'ebirala byonna Omuri bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
28
Omuri n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Samariya, mutabani we Ahabu n'amusikira ku bwakabaka.
29
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omunaana nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Ahabu mutabani wa Omuri n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira Yisirayeli mu Samariya emyaka amakumi abiri mu ebiri.
30
Ahabu oyo, mutabani wa Omuri, n'akola ebibi n'anyiiza Mukama okusinga bonna abaamusooka.
31
Eky'okukola ebibi nga Yerobowaamu mutabani wa Nebaati ne kitamumala, wabula n'assaako n'okuwasa Yezebeeli, muwala wa Etubaali, kabaka w'Abasidoni, n'atuuka n'okuba omuweereza wa Baali era n'amusinza.
32
N'azimbira Baali essabo mu Samariya, n'amuzimbiramu alutaari.
33
Ahabu era n'akola ebifaananyi bya lubaale omukazi Asera, ne yeeyongera okukola ebisunguwaza Mukama, Katonda wa Yisirayeli, okusinga bakabaka bonna aba Yisirayeli abaamusooka.
34
Mu mulembe gwe, Hiyeeli ow'e Beteli n'azimba buggya ekibuga Yeriko. Bwe yali ateekawo omusingi, n'afiirwa Abiraamu mutabani we omuggulanda, ate bwe yali awangamu enzigi zaakyo, n'afiirwa Segubu mutabani we omuggalanda, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Yoswa mutabani wa Nuuni.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22