bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 15
1 Kings 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 16 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obufuzi bwa Kabaka Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, Abiyaamu n'afuuka kabaka wa Buyudaaya.
2
N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Maaka, muwala wa Abusaalomu.
3
Abiyaamu oyo n'akola ebibi nga kitaawe bye yakola, n'atanywerera ku Mukama, Katonda we, nga jjajjaawe Dawudi bwe yamunywererako.
4
Wabula ku lwa Dawudi, Mukama, Katonda we n'amuwa omwana ow'obulenzi okumusikira ku bwakabaka mu Yerusaalemu, n'okukuuma Yerusaalemu nga kiri mirembe,
5
kubanga Dawudi yakolanga ebyo Mukama by'asiima, era teyavanga ku ky'amulagira ennaku zonna ez'obulamu bwe, okuggyako mu kigambo ky'ensobi gye yakola ku Wuriya Omuhiiti.
6
Mu mulembe gwa Abiyaamu gwonna, waabangawo entalo ezaatandikawo wakati wa Rehobowaamu ne Yerobowaamu.
7
N'ebirala byonna Abiyaamu bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo eky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Era waabangawo entalo wakati wa Abiyaamu ne Yerobowaamu.
8
Abiyaamu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi. Mutabani we Asa n'amusikira ku bwakabaka.
9
Mu mwaka ogw'amakumi abiri nga Yerobowaamu ye Kabaka wa Yisirayeli, Asa n'afuuka kabaka wa Buyudaaya.
10
N'afugira emyaka amakumi ana mu gumu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Maaka muwala wa Abusaalomu.
11
Asa n'akola Mukama by'asiima, nga Dawudi jjajjaawe bwe yakola.
12
N'aggyawo mu nsi eyo omuze gw'abasajja okukola obwamalaaya ne basajja bannaabwe. N'aggyawo ebifaananyi byonna ebyasinzibwanga, bajjajjaabe bye baakola.
13
N'agoba ne Maaka nnyina, ku bwannamasole, kubanga Maaka oyo yakola ekifaananyi ekizira eky'okusinzizaako Asera. Asa n'atemaatema ekifaananyi ekyo, n'akyokera ku kagga Kidurooni.
14
Asa newaakubadde nga teyamalirawo ddala bifo bigulumivu eby'oku busozi bye basinzizaamu balubaale, kyokka mu bulamu bwe bwonna yali mwesigwa eri Mukama.
15
Yateeka mu Ssinzizo ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza kitaawe bye yawongera Mukama, era n'ebyo ye yennyini bye yawonga.
16
Asa Kabaka wa Buyudaaya ne Baasa kabaka wa Yisirayeli baalwanagananga mu ntalo mu kiseera kyonna eky'obufuzi bwabwe.
17
Kabaka Baasa owa Yisirayeli n'alumba Buyudaaya. N'azimba ekigo ekigumu ku kibuga Raama, waleme kubaawo asobola kuva mu Buyudaaya, wadde okugendayo, okutuuka ku Asa, Kabaka waayo.
18
Awo Asa n'aggyayo ffeeza yenna ne zaabu eyali asigadde mu ggwanika ly'Essinzizo n'ery'olubiri lwe, n'amukwasa abaweereza be bamutwalire Benihadadi, kabaka wa Siriya, era eyabeeranga e Damasiko. Benihadadi oyo, ye mutabani wa Taburimmooni era muzzukulu wa Heziyooni. Ng'amutumira nti:
19
“Tukole endagaano ey'okukolaganira awamu, nga bakitaffe gye baakola. Laba nkuweerezza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu. Genda omenyewo endagaano yo ey'enkolagana ne Baasa, Kabaka wa Yisirayeli alyoke aggye amagye ge mu nsi yange.”
20
Awo Benihadadi n'akkiriza ebya Kabaka Asa n'atuma abaduumizi b'eggye lye okulumba ebibuga bya Yisirayeli, n'awamba ebibuga Yiyoni, ne Daani, ne Abeli Beeti Maaka, ne Kinerooti, n'ekitundu kyonna ekya Nafutaali.
21
Awo Baasa bwe yawulira ebiguddewo, n'alekera awo okuzimba ekigo ekigumu ku Kibuga Raama, n'agenda n'abeeranga e Tiruza.
22
Awo Kabaka Asa n'akunga Abayudaaya bonna awatali kutaliza n'omu, ne bagenda ne baggya e Raama amayinja n'emiti Baasa bye yazimbisa. Asa n'abizimbisa ebibuga Mizupa ne Gepa eky'omu kitundu kya Benyamiini.
23
N'ebirala byonna Asa bye yakola omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, n'ebibuga bye yazimbako ebigo ebigumu, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Naye mu kiseera eky'obukadde bwe n'alwala ebigere.
24
Awo Asa n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe. Mutabani we Yehosafaati n'amusikira ku bwakabaka.
25
Mu mwaka ogwokubiri nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira emyaka ebiri.
26
N'akola ebinyiiza Mukama nga kitaawe bye yakola, era n'agoberera kitaawe mu kukola ekibi ekyaleetera Yisirayeli okwonoona.
27
Awo Baasa mutabani wa Ahiya ow'omu Kika kya Yissakaari ne yeekobera Nadabu n'amuttira e Gibbetooni eky'Abafilistiya, Nadabu n'Abayisirayeli bonna kye baali bazingizizza.
28
Yamuttira mu mwaka ogwokusatu nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Baasa n'asikira Nadabu ku bwakabaka bwa Yisirayeli.
29
Awo Baasa olwamala okufuuka kabaka, n'atta ab'ennyumba ya Yerobowaamu bonna, n'abazikiririza ddala obutalekaawo n'omu nga mulamu, nga Mukama bwe yayogera ng'ayita mu muweereza we Ahiya, Omusiilo,
30
olw'ebibi Yerobowaamu bye yakola ne bireetera Yisirayeli okwonoona, era ne bisunguwaza Mukama, Katonda wa Yisirayeli.
31
N'ebirala byonna Nadabu bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
32
Asa kabaka wa Buyudaaya, ne Baasa kabaka wa Yisirayeli baalwanagananga mu ntalo mu kiseera kyonna eky'obufuzi bwabwe.
33
Mu mwaka ogwokusatu nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Baasa mutabani wa Ahiya n'afuuka kabaka wa Yisirayeli yonna, n'afugira e Tiruza emyaka amakumi abiri mu ena.
34
N'akola ebinyiiza Mukama, nga Yerobowaamu bye yakola, era n'agoberera Yerobowaamu mu kukola ekibi ekyaleetera Yisirayeli okwonoona.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22