bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Kings 6
1 Kings 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 7 →
1
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ebikumi ebina mu ekinaana ng'Abayisirayeli bavudde mu nsi y'e Misiri, mu mwaka ogwokuna okuva Solomooni lwe yatandika okufuga Yisirayeli, mu mwezi Ziivu, gwe mwezi ogwokubiri mu mwaka, Solomooni n'atandika okuzimba Essinzizo.
2
Essinzizo Kabaka Solomooni lye yazimbira Mukama lyali mita amakumi abiri mu musanvu obuwanvu, mita mwenda obugazi, ne mita kkumi na ssatu n'ekitundu obugulumivu.
3
N'ekisasi mu maaso g'Essinzizo kyali mita mwenda obuwanvu, okwenkanankana n'obugazi bw'Essinzizo, ne mita nnya n'ekitundu obugazi.
4
N'akolera Essinzizo amadirisa ag'embaawo enkomereremu ezitaggulwa.
5
Ku kisenge eky'ebweru mu mbiriizi n'emabega w'Essinzizo, n'azimbako ekizimbe kya kalina ssatu ekikookeddwako okulyetooloola.
6
Buli kisenge mu kalina eyaawansi kyalina obugazi bwa mita bbiri n'obutundu bubiri. Mu kalina eyookubiri buli kisenge kyalina obugazi bwa mita bbiri n'obutundu musanvu, ne mu kalina eyookusatu, obugazi bwa mita ssatu n'akatundu kamu. Ekisenge ky'Essinzizo ku buli kalina kyagendanga kitoniwa mu buzimbu bwakyo, okusinga ku kalina eya wansi, obusenge obuzimbiddwa busobole okwesigama ku kisenge kiri, ng'emiti gyabwo tegizimbiddwa mu kyo.
7
Essinzizo bwe baali balizimba, amayinja ge baazimbisa gaalongooserezebwanga mu kifo gye baagaasiza, era tewaali nnyondo wadde embazzi oba ekintu ekirala kyonna eky'ekyuma ekyawulirwa mu Ssinzizo nga balizimba.
8
Oluggi oluyitibwamu okuyingira mu bisenge ebya wansi ebyazimbibwa ku mabbali g'Essinzizo, lwali ku ludda olwa ddyo olw'Essinzizo. Waaliwo amadaala ageenyoolanyoola agaalinnyirwangako okugenda mu bisenge eby'omu kalina esooka n'eyookubiri.
9
Kabaka Solomooni bw'atyo bwe yazimba Essinzizo, n'alimaliriza ng'aliseresezza emiti n'embaawo ez'emivule.
10
N'azimba ennyumba eya kalina ssatu okwetooloola Essinzizo, buli kalina nga ya bugulumivu bwa mita bbiri n'obutundu bubiri, nga ziyungiddwa ku Ssinzizo n'emiti egy'emivule.
11
Mukama n'agamba Solomooni nti:
12
“Ozimba Essinzizo lino, kale bw'onookwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange, n'okoleranga ku bye nakuutira, olwo ndituukiriza kye nasuubiza kitaawo Dawudi nti ndikimukolera.
13
Era nnaabeeranga wamu n'Abayisirayeli, era siibaabulirenga.”
14
Awo Solomooni n'azimba Essinzizo, n'alimaliriza.
15
Ebisenge by'Essinzizo wonna munda, n'abibikkako embaawo ez'emivule, wansi n'ayaliirawo embaawo ez'emiberosi.
16
Munda w'Essinzizo mu kitundu eky'emabega n'azimbayo ekisenge eky'embaawo ez'emivule okuva wansi okutuukira ddala waggulu, bw'atyo n'ayawula ku Ssinzizo ekifo kya mita mwenda obuwanvu n'obugazi, ekyo nga kye kifo Ekitukuvu Ennyo.
17
Mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu Ennyo, ekitundu ky'Essinzizo ekisigaddewo kyali kya mita kkumi na munaana obuwanvu.
18
Embaawo ze baabikkisa ebisenge zaali zooleddwako ebifaananyi by'ekiryo, n'ebimuli ebyanjuluzza. Munda wonna ebisenge byali bibikkiddwako embaawo ez'emivule, ng'amayinja ge baazimbisa tegalabika.
19
N'ategeka Ekifo Ekitukuvu Ennyo, okuteekamu Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama.
20
Ekifo kino Ekitukuvu Ennyo kyali mita mwenda obuwanvu, mita mwenda obugazi, ne mita mwenda obugulumivu, n'akibikkako zaabu omulongoose, alutaari n'agibikkako embaawo ez'emivule.
21
Essinzizo lyonna munda n'alibikkako zaabu omulongoose, n'atimba emikuufu egya zaabu awayingirirwa mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, nga nakyo kibikkiddwako zaabu.
22
Essinzizo lyonna n'alibikkako zaabu okulibunya, era ne alutaari yonna ey'omu Kifo Ekitukuvu Ennyo n'agibikkako zaabu.
23
Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, n'ateekamu bakerubi babiri ababajjiddwa mu miti emizayiti, nga buli kerubi wa mita nnya n'ekitundu obuwanvu.
24
Ekiwaawaatiro ekimu ekya kerubi kyali kiweza mita bbiri n'obutundu bubiri obuwanvu. Okuva ekiwaawaatiro ekimu we kikoma n'okutuuka ekiwaawaatiro ekirala we kikoma, ebbanga lyali lya mita nnya n'ekitundu.
25
Ne kerubi omulala yali aweza mita nnya n'ekitundu obuwanvu. Bakerubi bombi baali benkana era nga bafaanagana.
26
Kerubi omu yali aweza mita nnya n'ekitundu obugulumivu ne munne owookubiri bw'atyo.
27
Bakerubi abo n'abateeka mu makkati g'Ekifo Ekitukuvu Ennyo. Bakerubi abo baali banjuluzza ebiwaawaatiro byabwe, ekiwaawaatiro kya kerubi omu nga kituuka ku kisenge eky'oludda olumu, n'ekiwaawaatiro kya kerubi omulala nga kituuka ku kisenge eky'oludda olulala, ebiwaawaatiro byabwe ebirala nga bikwataganira wakati w'Ekifo Ekitukuvu Ennyo.
28
Bakerubi bombi n'ababikkako zaabu.
29
Solomooni n'ayola ku bisenge by'Ekifo Ekitukuvu Ennyo n'eby'Essinzizo lyonna ebifaananyi ebya bakerubi, n'enkindu, n'ebimuli ebyanjuluzza.
30
Wansi mu Kifo Ekitukuvu Ennyo ne mu Ssinzizo lyonna n'abikkawo zaabu.
31
Mu mulyango oguyingira mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n'awangamu oluggi olw'omuti omuzayiti, ng'omwango gwalwo gwa nsonda ttaano, omusongovu ku ludda olwa waggulu.
32
Ebiwayi by'oluggi olwo byombi n'abyolako ebifaananyi bya bakerubi, n'enkindu, n'ebimuli ebyanjuluzza, n'azibikkako zaabu, zo, ne bakerubi, n'enkindu.
33
Era n'akolera omulyango gwa wankaaki w'Essinzizo, omwango ogw'omuti omuzayiti gwa nsonda nnya,
34
n'enzigi bbiri ez'omuti omuberosi nga buli lumu lwa biwayi bibiri, nga byombi biggulwa.
35
N'ayolako bakerubi, n'enkindu, n'ebimuli ebyanjuluzza, byonna ne bibikkibwako zaabu, nga bakola n'obwegendereza.
36
N'azimba oluggya olwomunda lwa mbu ssatu ez'amayinja amakomole, n'olubu lumu olw'emiti egy'omuvule.
37
Omusingi gw'Essinzizo gwazimbibwa mu mwezi ogwokubiri, gwe mwezi Ziivu, mu mwaka ogwokuna ogw'obufuzi bwa Solomooni.
38
Mu mwezi ogw'omunaana, gwe mwezi Buuli, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogw'obufuzi bwa Solomooni, Essinzizo lyonna ne liggwa okuzimbibwa, ng'entegeka yaalyo bwe yali. Solomooni lyamutwalira emyaka musanvu okulizimba.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22