bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 1
Luke 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
1
Oweekitiibwa ennyo Tewofilo: Bangi bagezezzaako okuwandiika n'obwegendereza ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe.
2
Baawandiika ebyatubuulirwa abo abaabirabirako ddala okuva ku ntandikwa yaabyo, era abaakola omulimu ogw'okubunyisa Ekigambo kya Katonda.
3
Nange bwe neetegerezza byonna okuva ku ntandikwa yaabyo, ndabye nti kirungi okubikuwandiikira nga bwe biddiriŋŋana.
4
Kino nkikoze, olyoke omanyire ddala amazima g'ebigambo bye wayigirizibwa.
5
Kabaka Herode bwe yali nga ye afuga Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zakariya, ow'omu kitongole kya bakabona ekya Abiya. Yalina mukazi we erinnya lye Elisaabeeti, nga muzzukulu wa Arooni.
6
Bombi baali bantu balungi mu maaso ga Katonda, nga bakwata bulungi ebiragiro bya Mukama byonna n'amateeka ge.
7
Baali tebalina mwana, kubanga Elisaabeeti yali mugumba, ate bombi baali bakaddiye.
8
Lwali lumu, Zakariya yali akola omulimu gwe ogw'obwakabona, mu maaso ga Katonda, ng'ekitongole kye yalimu kye kiri mu luwalo.
9
Yalondebwa na kalulu, ng'empisa ya bakabona bwe yali, n'ayingira mu kifo ekitukuvu mu Ssinzizo, okunyookeza obubaane.
10
Mu kiseera ekyo eky'okunyookeza obubaane, abantu bonna abaali bakuŋŋaanye, baali wabweru nga basinza Katonda.
11
Awo malayika wa Mukama n'ayimirira ku ludda olwa ddyo olw'ekyoterezo ky'obubaane, n'alabikira Zakariya.
12
Zakariya bwe yamulaba ne yeesisiwala, entiisa n'emukwata.
13
Malayika n'amugamba nti: “Zakariya, leka kutya, kubanga Katonda awulidde okwegayirira kwo: mukazi wo Elisaabeeti alikuzaalira omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye Yowanne.
14
Olisanyuka n'ojaguza, era n'abalala bangi balisanyuka olw'okuzaalibwa kwe,
15
kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama. Talinywa mwenge gwa mizabbibu, newaakubadde ekitamiiza ekirala kyonna. Alijjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu nga tannaba kuva mu lubuto lwa nnyina.
16
Alikomyawo Abayisirayeli bangi eri Mukama Katonda waabwe.
17
Aliweebwa omwoyo n'obuyinza nga Eliya bye yalina, n'akulembera Mukama okuzza emitima gya bakitaabwe b'abaana eri abaana baabwe, n'okuzza abajeemu mu kkubo ly'abantu abalungi, alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”
18
Awo Zakariya n'agamba nti: “Kino nnaakikakasiza ku ki? Nze neekaddiyidde, ne mukyala wange naye akaddiye.”
19
Malayika n'amuddamu nti: “Nze Gabulyeli, ayimirira bulijjo mu maaso ga Katonda nga mmuweereza. Ntumiddwa okwogera naawe, n'okukutegeeza amawulire gano amalungi.
20
Kale nno nga bw'otokkirizza bye nkutegeezezza, ebirituukirira ng'ekiseera kyabyo kituuse, ojja kuziba omumwa, obe nga tokyasobola kwogera, okutuusa ku lunaku bino lwe birituukirira.”
21
Mu kiseera ekyo, abantu baali balindirira Zakariya, era nga beewuunya ekimulwisizza mu kifo ekitukuvu mu Ssinzizo.
22
Bwe yafuluma n'atasobola kwogera nabo, ne bamanya nti wabaddewo ekitali kya bulijjo ky'alabye mu Ssinzizo. Olw'obutasobola kwogera, n'abategeeza mu bubonero, n'asigala ng'azibye omumwa.
23
Awo ennaku ze ez'okuweereza bwe zaggwaako, n'addayo ewuwe.
24
Bwe waayitawo ekiseera, Elisaabeeti mukazi we n'aba olubuto, n'amala emyezi etaano nga teyeeraga mu bantu, ng'agamba nti:
25
“Mukama ye annyambye okuba bwe nti, n'ankwatirwa ekisa mu kiseera kino, n'anzigyako okuswala kwe mbadde nakwo mu bantu.”
26
Elisaabeeti yali yaakamala emyezi mukaaga ng'ali lubuto, Katonda n'atuma malayika Gabulyeli mu kibuga eky'e Galilaaya, erinnya lyakyo Nazaareeti,
27
ew'omuwala embeerera, erinnya lye Mariya, eyali ayogerezebwa omusajja ayitibwa Yosefu, muzzukulu wa Ssekabaka Dawudi.
28
Malayika bwe yatuuka w'ali, n'agamba nti: “Nkulamusa, ggwe aweereddwa omukisa; Mukama ali naawe!”
29
Mariya ne yeeraliikirira nnyo olw'ebigambo ebyo, era ne yeebuuza mu mutima gwe kye bitegeeza.
30
Awo malayika n'amugamba nti: “Mariya, totya, kubanga Katonda akuwadde omukisa:
31
ojja kuba olubuto, ozaale omwana wa bulenzi, omutuume erinnya lye Yesu.
32
Aliba wa buyinza, era aliyitibwa Mwana wa Katonda Atenkanika. Mukama Katonda alimuwa obwakabaka bwa Dawudi jjajjaawe.
33
Alifuga bazzukulu ba Yakobo emirembe gyonna, era obwakabaka bwe si bwa kuggwaawo.”
34
Mariya n'abuuza malayika nti: “Eky'okuba olubuto kinaatuukirira kitya, nga simanyi musajja?”
35
Malayika n'amuddamu nti: “Mwoyo Mutuukirivu anajja ku ggwe, era amaanyi ga Katonda Atenkanika ganaaba naawe, n'olwekyo omwana alizaalibwa aliyitibwa Mutuukirivu, Mwana wa Katonda.
36
Muganda wo Elisaabeeti, newaakubadde yayitibwanga mugumba, era nga mukadde, guno omwezi gwa mukaaga ng'ali lubuto. Era naye ajja kuzaala omwana wa bulenzi,
37
kubanga tewali Katonda ky'ayogera kitayinzika.”
38
Awo Mariya n'agamba nti: “Nzuuno omuzaana wa Mukama; nzikirizza, kibe nga bw'ogambye.” Awo malayika n'ava w'ali, n'agenda.
39
Mu nnaku ezo, Mariya n'asituka, n'alaga mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga ky'omu Buyudaaya,
40
n'ayingira mu nnyumba ya Zakariya, n'alamusa Elisaabeeti.
41
Awo olwatuuka, Elisaabeeti bwe yawulira Mariya ng'amulamusa, omwana n'azannya mu lubuto lwa Elisaabeeti. Era Elisaabeeti n'ajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu,
42
n'akangula nnyo ku ddoboozi, n'agamba nti: “Waweebwa omukisa okusinga abakazi abalala bonna, n'omwana gw'olizaala yaweebwa omukisa.
43
Kale mpeereddwa ntya ekitiibwa kino, nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira?
44
Bwe mpulidde eddoboozi lyo ng'onnamusa, omwana n'asamba olw'essanyu, mu lubuto lwange.
45
Oli wa mukisa ggwe eyakkiriza nti ebyo Mukama bye yakutegeeza birituukirira.”
46
Awo Mariya n'agamba nti: “Omutima gwange gugulumiza Mukama.
47
Omwoyo gwange gusanyukira Katonda Omulokozi wange,
48
kubanga akwatiddwa ekisa omuzaana we ataliiko bw'ali. Okuva kati, abantu ab'emirembe gyonna banampitanga wa mukisa,
49
olw'ebikulu Nnannyinibuyinza by'ankoledde. Erinnya lye ttukuvu!
50
Era mu buli mulembe, akwatirwa ekisa abamutya.
51
Alaze obuyinza bwe mu byamagero by'akola. Abeekulumbaza mu birowoozo byabwe, abasaasaanyizza.
52
Awanudde ab'obuyinza ku ntebe zaabwe, n'agulumiza abeetoowaze.
53
Abali mu bwetaavu abawadde ebirungi, abagagga n'abagoba nga tebalina kantu.
54
Ayambye Yisirayeli omuweereza we, nga bwe yasuubiza bajjajjaffe.
55
Ajjukidde okukwatirwa ekisa Aburahamu n'ezzadde lye emirembe gyonna.”
56
Mariya yamala n'Elisaabeeti emyezi ng'esatu, n'adda eka.
57
Awo ennaku za Elisaabeeti ez'okuzaala ne zituuka, n'azaala omwana wa bulenzi.
58
Baliraanwa be ne baganda be ne bawulira nga Mukama bw'amukwatiddwa ekisa ekingi, ne basanyukira wamu naye.
59
Awo ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana. Baali bagenda kumutuuma erinnya lya kitaawe, Zakariya.
60
Nnyina w'omwana n'agamba nti: “Nedda, anaatuumibwa Yowanne.”
61
Ne bamugamba nti: “Mu b'olulyo lwo teri n'omu ayitibwa linnya eryo!”
62
Awo ne beeyambisa obubonero, ne babuuza kitaawe w'omwana erinnya ly'ayagala batuume omwana.
63
Zakariya n'asaba ekipande eky'okuwandiikako, n'awandiika nti: “Erinnya ly'omwana ye Yowanne.” Bonna ne beewuunya.
64
Amangwago omumwa gwa Zakariya ne guzibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera ng'atendereza Katonda.
65
Awo abantu bonna ababaliraanye ne batya. Era ebigambo bino byonna ne bibuna mu kitundu kyonna ekya Buyudaaya eky'ensozi,
66
Bonna abaabiwulira, ne bibayingira mu mitima, ne bagamba nti: “Kale omwana ono aliba muntu wa ngeri ki?” Kubanga obuyinza bwa Mukama bwali naye nga bumuyamba.
67
Awo Zakariya kitaawe wa Yowanne, n'ajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, n'alanga, ng'agamba nti:
68
“Mukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe, kubanga akyalidde abantu be era abanunudde.
69
Atuwadde Omulokozi ow'obuyinza, asibuka mu lulyo lwa Dawudi omuweereza we,
70
nga bwe yasuubiriza edda mu balanzi be abatukuvu,
71
okutuwonya abalabe baffe, n'okutuggya mu mikono gya bonna abatukyawa.
72
Yasuubiza okukwatirwa bajjajjaffe ekisa, n'okujjukira endagaano ye entukuvu.
73
Yalayira n'akakasa Aburahamu jjajjaffe, nti tuliggyibwa mu mikono gy'abalabe baffe,
74
tulyoke tumuweereze awatali kutya,
75
nga tuli beesimbu era batukuvu mu maaso ge, obulamu bwaffe bwonna.
76
Naawe omwana, oliyitibwa mulanzi wa Katonda Atenkanika, kubanga olikulembera Mukama, okulongoosa amakubo ge,
77
n'okumanyisa abantu be nti alibalokola, ng'abasonyiwa ebibi byabwe,
78
kubanga Katonda waffe ajjudde ekisa. Oyo alinga enjuba evaayo, alitukyalira ng'ava mu ggulu,
79
okwakira abo abali mu kizikiza ne mu kisiikirize eky'olumbe, n'okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery'emirembe.”
80
Omwana n'agenda ng'akula, era nga yeeyongera amaanyi mu mwoyo, n'abanga mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yeeraga abantu ba Yisirayeli.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24