bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 24
Luke 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
1
Awo ku makya ennyo ku lunaku olusooka mu wiiki, abakazi ne bajja ku ntaana nga baleeta ebyobuwoowo bye baategeka.
2
Ne basanga ng'ejjinja liyiringisiddwa ne liggyibwa ku mulyango gw'entaana.
3
Ne bayingira, ne batasangamu mulambo gwa Mukama waffe Yesu.
4
Awo olwatuuka, baali bakyasamaaliridde olw'ekyo, abasajja babiri ne bayimirira kumpi nabo, nga bambadde engoye ezinekaaneka.
5
Abakazi bwe baatya ne bakutama ne batunula wansi ku ttaka, abasajja ne babagamba nti: “Lwaki munoonyeza omulamu mu bafu?
6
Taliiwo wano, azuukidde. Mujjukire nga bwe yababuulira ng'akyali mu Galilaaya, ng'agamba nti: Luk 9:22; 18:31-33
7
Omwana w'Omuntu ateekwa okuweebwayo mu mikono gy'abantu aboonoonyi, n'okukomererwa ku musaalaba, n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.”
8
Ne bajjukira ebigambo bye,
9
ne bava ku ntaana, ebyo byonna ne babibuulira abayigirizwa ekkumi n'omu, n'abalala bonna.
10
Ebyo abaabibuulira abatume, baali Mariya Magudaleena, Yowanna, ne Mariya nnyina Yakobo, n'abalala abaali nabo.
11
Ebigambo ebyo ne bifaananira abatume ng'eby'okugereesa, ne batabikkiriza.
12
Kyokka Peetero n'asituka, n'adduka, n'alaga ku ntaana, n'akutama, n'alaba engoye nga ziri zokka, n'avaayo nga yeewuunya ebibaddewo.
13
Ku lunaku lwe lumu olwo, babiri ku bo baali balaga mu kabuga erinnya lyako Emmaawo, kilomita nga kkumi okuva e Yerusaalemu.
14
Baali banyumya bokka na bokka ku ebyo byonna ebibaddewo.
15
Awo olwatuuka, nga banyumya era nga beebuuzaganya, ne Yesu yennyini n'abasemberera, n'atambula wamu nabo.
16
Kyokka amaaso gaabwe gaaziyizibwa okumwekkaanya, baleme okumutegeera.
17
N'abagamba nti: “Mboozi ki eyo gye munyumya nga mutambula?” Ne bayimirira nga banakuwavu.
18
Omu ku bo, erinnya lye Kulewopa n'amuddamu nti: “Ggwe muntu wekka ali mu Yerusaalemu atamanyi bibaddewo mu nnaku zino?”
19
N'ababuuza nti: “Biki?” Ne bagamba nti: “Ebifa ku Yesu Omunazaareeti, eyali omusajja omulanzi ow'amaanyi mu bye yakolanga, ne mu bye yayogeranga mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna;
20
era nga bakabona abakulu n'abakungu baffe bwe baamuwaayo okusalirwa ogw'okufa, ne bamukomerera ku musaalaba.
21
Ffe twali tusuubira nti ye yali ow'okununula Yisirayeli. N'ebyo byonna nga biri awo, luno olunaku lwakusatu kasookedde bino bibaawo.
22
Naye ate abakazi abamu ab'ewaffe, abaabadde ku ntaana ku makya ennyo, batuwuniikirizza,
23
bwe batasanzeeyo mulambo gwe, ne bajja ne bagamba nti mulamu.
24
Abamu ku bannaffe baalaze ku ntaana, ne basanga nga biri ng'abakazi bwe baagambye, kyokka ye tebaamulabye.”
25
Awo Yesu n'abagamba nti: “Basirusiru mmwe, era abalwawo okukkiriza byonna abalanzi bye baayogera!
26
Kristo yali tateekwa kubonyaabonyezebwa ebyo byonna alyoke ayingire mu kitiibwa kye?”
27
Awo Yesu n'abannyonnyola ebimwogerako mu byawandiikibwa byonna, ng'atandikira ku bya Musa, n'ayongera n'eby'abalanzi bonna.
28
Ne basemberera akabuga gye baali balaga, ye n'aba ng'akyeyongerayo mu maaso.
29
Ne bamwegayirira nti: “Sigala naffe, kubanga obudde buwungedde, era enjuba emaze okugwa.” N'ayingira okubeera nabo.
30
Awo olwatuuka, bwe yali atudde nabo okulya, n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'agubawa.
31
Awo amaaso gaabwe ne gazibuka, ne bamutegeera, kyokka n'ababulako, nga tebakyamulaba.
32
Ne bagambagana nti: “Emitima tegyatubuguumiridde bwe yabadde ng'ayogera naffe mu kkubo, era ng'atunnyonnyola ebyawandiikibwa?”
33
Ne basituka mu kaseera ako kennyini, ne baddayo e Yerusaalemu, ne basanga abayigirizwa ekkumi n'omu n'abalala abaali nabo, nga bakuŋŋaanye,
34
nga bagamba nti: “Ddala Mukama waffe azuukidde, alabikidde ne Simooni.”
35
Ne bano ne banyumya ebyabaddewo mu kkubo, era nga bwe baamutegeeredde ku kumenyaamenyamu omugaati.
36
Awo baali nga bakyayogera ebyo, Yesu yennyini n'ayimirira wakati waabwe n'agamba nti: “Emirembe gibe nammwe!”
37
Ne beekanga ne batya, ne balowooza nti balaba muzimu.
38
Awo n'abagamba nti: “Lwaki mweraliikiridde? Era lwaki okubuusabuusa kuno kuzze mu mitima gyammwe?
39
Mulabe ebibatu byange n'ebigere byange. Nze nzuuno mwene. Munkwateko mulabe, anti omuzimu teguba na mubiri na magumba nga bwe mundaba nga mbirina.”
40
Bwe yamala okwogera ebyo, n'abalaga ebibatu bye n'ebigere bye.
41
Awo nga tebannaba kukkiriza, nga beewuunya olw'essanyu, n'abagamba nti: “Wano mulinawo ekyokulya?”
42
Ne bamuwa ekitundu ky'ekyennyanja ekyokye.
43
N'akitoola, n'akirya nga balaba.
44
N'abagamba nti: “Bino bye bigambo bye nabagamba nga nkyali nammwe nti byonna ebyawandiikibwa nga binjogerako mu mateeka ga Musa ne mu bitabo by'abalanzi ne mu Zabbuli, biteekwa okutuukirizibwa.”
45
Olwo n'atangaaza amagezi gaabwe bategeere ebyawandiikibwa,
46
n'abagamba nti: “Bwe kityo bwe kyawandiikibwa nti Kristo ateekwa okubonaabona n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu,
47
era nti mu linnya lye, obubaka obw'okwenenya n'okusonyiyibwa ebibi buteekwa okutegeezebwa abantu mu mawanga gonna, okusookera ku Yerusaalemu.
48
Mmwe bajulirwa b'ebyo.
49
Era nze nja kubaweereza ekirabo, Kitange kye yabasuubiza. Naye mubeere mu kibuga, okutuusa lwe mulifuna amaanyi agava mu ggulu.”
50
Awo Yesu n'abatwala ebweru w'ekibuga, n'agenda nabo e Betaniya, n'agolola emikono gye, n'abawa omukisa.
51
Awo olwatuuka, ng'akyabawa omukisa, n'ava we bali, natwalibwa mu ggulu.
52
Ne bamusinza, ne baddayo e Yerusaalemu nga bajjudde essanyu lingi.
53
Ne babeeranga mu Ssinzizo bulijjo, nga batendereza Katonda.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24