bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 22
Luke 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
1
Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, eyitibwa Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, yali eneetera okutuuka.
2
Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka ne bagezaako okutta Yesu, kyokka mu magezi, kubanga baali batya abantu.
3
Sitaani n'ayingira mu Yuda ayitibwa Yisikaryoti, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri.
4
Awo Yuda oyo n'agenda n'ateesa ne bakabona abakulu, n'abakulu b'abakuumi b'Ennyumba ya Katonda, nga bw'anaawaayo Yesu gye bali.
5
Ne basanyuka, era ne balagaana okumuwa ensimbi.
6
N'akkiriza, era n'anoonya akaseera ak'okuwaayo Yesu gye bali, ng'ekibiina ky'abantu tekiriiwo.
7
Awo olunaku olw'Embaga Eriirwako Emigaati Egitazimbulukusiddwa, oluteekwa okuttirwako endiga entoototo ey'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ne lutuuka.
8
Yesu n'atuma Peetero ne Yowanne, n'agamba nti: “Mugende mututegekere Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, tugirye.”
9
Bo ne bamubuuza nti: “Oyagala tutegeke wa?”
10
N'abagamba nti: “Laba, bwe munaaba nga muyingira mu kibuga, munaasisinkana omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi, mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw'anaayingira,
11
era mugambe nnannyini nnyumba nti: ‘Omuyigiriza akubuuza nti ekisenge kiruwa, ye n'abayigirizwa be mwe banaaliira Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako?’
12
Ye anaabalaga ekisenge ekinene ekiri waggulu, ekiwedde okwaliirwa, mutegeke omwo.”
13
Awo ne bagenda, ne basanga nga byonna biri nga Yesu bwe yabagamba, ne bategeka Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
14
Awo essaawa bwe yatuuka, Yesu n'atuula okulya awamu n'abatume be.
15
N'abagamba nti: “Njagadde nnyo okulya awamu nammwe Embaga eno Ejjuukirirwako Okuyitako, nga sinnaba kubonaabona.
16
Mbagamba nti siryongera kugirya, okutuusa lw'erituukirizibwa mu Bwakabaka bwa Katonda.”
17
Awo n'akwata ekikopo, ne yeebaza Katonda, era n'agamba nti: “Mukwate kino mugabane mwenna,
18
kubanga, mbagamba nti okuva kati sijja kwongera kunywa mwenge gwa mizabbibu, okutuusa Obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.”
19
Awo n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'abawa ng'agamba nti: Kino mubiri gwange [oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga kino okunzijukira.”
20
Ekyekiro bwe kyaggwa, n'abawa n'ekikopo mu ngeri ye emu, ng'agamba nti: “Ekikopo kino ye ndagaano empya ekoleddwa Katonda n'ekakasibwa n'omusaayi gwange oguyiibwa ku lwammwe.]
21
“Naye, laba, oyo agenda okundyamu olukwe ali nange ku lujjuliro.
22
Ddala Omwana w'Omuntu agenda nga bwe kyategekebwa, kyokka omuntu oyo ajja okumulyamu olukwe, nga wa kubonaabona!”
23
Awo bo ne beebuuzaganya ani ku bo agenda okukola ekyo.
24
Olwo ne wabaawo empaka mu bayigirizwa nti ani ku bo alowoozebwa nti ye asinga okuba oweekitiibwa.
25
Yesu n'abagamba nti: “Bakabaka b'amawanga bafugisa bukambwe, era abo ababa n'obuyinza ku bantu, beeyita bayambi baabwe.
26
Naye mmwe si bwe mutyo, wabula asinga okuba oweekitiibwa mu mmwe, abe ng'asembayo era omukulembeze abe ng'omuweereza.
27
Kale asinga okuba oweekitiibwa ye aluwa? Oyo atudde okulya, oba oyo aweereza? Si oyo atudde okulya? Naye nze mu mmwe ndi ng'omuweereza.
28
“Mmwe bantu abasigadde nange mu bizibu byange.
29
Nange mbateekerateekera Obwakabaka nga Kitange bwe yateekerateekera nze,
30
mulyoke muliire era munywere ku mmeeza yange mu Bwakabaka bwange. Era mulituula ku ntebe ezeekitiibwa ne musalira emisango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.”
31
Awo Yesu n'agamba nti: “Simooni, Simooni, Sitaani asabye akkirizibwe okubawewa mmwe ng'eŋŋaano.
32
Naye nze nkusabidde ggwe, okukkiriza kwo kuleme kuggwaawo. Era ggwe bw'olimala okwenenya, onywezanga baganda bo.”
33
Peetero n'amugamba nti: “Mukama wange, neetegese okugenda naawe mu kkomera. Era neetegese okufa naawe.”
34
Yesu n'agamba nti: “Peetero, nkugamba nti olwaleero, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu nti tommanyi.”
35
Awo Yesu n'abagamba nti: “Bwe nabatuma nga temututte nsawo ziterekebwamu nsimbi, newaakubadde ensawo ng'ez'abasabiriza, wadde engatto, waaliwo kye mwetaaga ne mutakifuna?” Ne baddamu nti: “Tewaali.”
36
N'abagamba nti: “Naye kaakano oyo alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n'oyo alina ensawo ng'ey'abasabiriza naye akole bw'atyo. Era atalina kitala, atunde ekkooti ye akigule,
37
kubanga mbagamba nti kino ekyawandiikibwa nti: ‘Yabalirwa wamu n'abamenyi b'amateeka,’ kiteekwa okutuukirizibwa ku nze. Ebyo ebifa ku nze biteekwa okutuukirizibwa.”
38
Abayigirizwa ne bagamba nti: “Mukama waffe, laba, waliwo ebitala bibiri wano.” Ye n'abagamba nti: “Kimala!”
39
Awo Yesu n'afuluma, n'alaga ku Lusozi olw'Emiti Emizayiti, nga bwe yali amanyidde okukola. Abayigirizwa be nabo ne bagenda naye.
40
Bwe yatuukayo, n'abagamba nti: “Mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa.”
41
Awo ye n'abaawukanako ebbanga ng'ery'ejjinja erikasukibwa we likoma, n'afukamira ne yeegayirira Katonda.
42
N'agamba nti: “Kitange, bw'oyagala, nzigyaako ekikopo kino eky'okubonaabona, naye ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.” [
43
Awo malayika n'ava mu ggulu n'amulabikira, n'amugumya.
44
Ng'ali mu bulumi bungi, ne yeeyongera okwegayirira ennyo Katonda, era entuuyo ze ne ziba ng'amatondo g'omusaayi nga gatonnya wansi.]
45
Awo bwe yasituka ng'ava okwegayirira Katonda, n'ajja eri abayigirizwa be, n'abasanga nga beebase olw'okunakuwala.
46
N'abagamba nti: “Lwaki mwebaka? Mugolokoke, mwegayirire Katonda, muleme kukemebwa.”
47
Yesu yali akyayogera, ekibiina ky'abantu ne kijja, nga kikulembeddwa oyo ayitibwa Yuda omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri, n'asemberera Yesu okumunywegera.
48
Kyokka Yesu n'amugamba nti: “Yuda, olyamu Omwana w'Omuntu olukwe ng'omunywegera?”
49
Abayigirizwa abaali beetoolodde Yesu bwe baalaba ekigenda okubaawo, ne bagamba nti: “Mukama waffe, tuteme n'ebitala?”
50
Awo omu ku bo n'atema omuddu wa Ssaabakabona, n'amukutulako okutu okwa ddyo.
51
Kyokka Yesu n'agamba nti: “Mukome ku ekyo!” N'akwata ku kutu kw'omuddu oyo, n'amuwonya.
52
Awo Yesu n'agamba bakabona abakulu n'abakuumi b'Essinzizo, n'abantu abakulu mu ggwanga abajja okumukwata, nti: “Muzze nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi?
53
Buli lunaku nabeeranga nammwe mu Ssinzizo, ne mutankwata. Naye kino kye kiseera kyammwe, era kye kiseera ky'obuyinza bw'ekizikiza.”
54
Awo ne bakwata Yesu, ne bamutwala mu nnyumba ya Ssaabakabona, Peetero n'agoberera nga yeesuddeko ebbanga.
55
Bwe baamala okukuma omuliro mu luggya wakati, ne batuula wamu. Peetero n'atuula wamu nabo.
56
Awo omuzaana omu bwe yamulaba ng'atudde mu kitangaala eky'omuliro, n'amwekkaanya, n'agamba nti: “N'ono yali ne Yesu.”
57
Kyokka Peetero ne yeegaana nti: “Mukazi ggwe, omuntu oyo simumanyi.”
58
Era nga wayiseewo akaseera, omuntu omulala n'amulaba, n'agamba nti: “Naawe oli omu ku bo.” Kyokka Peetero n'agamba nti: “Musajja wattu, si bwe kiri!”
59
Ate nga wayiseewo ekiseera kya ssaawa nga emu, omuntu omulala n'akakasa ng'agamba nti: “Ddala n'ono yali wamu ne Yesu, kubanga naye Mugalilaaya.”
60
Kyokka Peetero n'agamba nti: “Musajja wattu, simanyi ky'ogamba!” Amangwago, bwe yali ng'akyayogera, enkoko n'ekookolima.
61
Mukama waffe n'akyuka n'atunuulira Peetero. Peetero n'ajjukira ekigambo kya Mukama waffe, nga bwe yali amugambye nti: “Olwaleero enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
62
Awo Peetero n'afuluma wabweru, n'akaaba nnyo.
63
Awo abasajja abaali bakuuma Yesu nga musibe, ne bamukudaalira nga bwe bamukuba.
64
Ne bamubikka ku maaso, ne bamubuuza nti: “Tulage, ani akukubye?”
65
Ne bamwogerako n'ebirala bingi ebivuma.
66
Awo obudde bwe bwakya, abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, ne bakuŋŋaana, ne baleeta Yesu mu lukiiko lwabwe.
67
Ne bagamba nti: “Tubuulire oba nga ggwe Kristo.” N'abagamba nti: “Ne bwe nnaababuulira, temujja kukkiriza,
68
era ne bwe nnaababuuza, temujja kuddamu.
69
Naye okuva kati, Omwana w'Omuntu agenda kutuula ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza.”
70
Bonna ne bagamba nti: “Kwe kugamba, ggwe oli Mwana wa Katonda?” Ye n'abagamba nti: “Nga bwe mugambye, nze wuuyo.”
71
Ne bagamba nti: “Ate tukyetaagira ki abajulirwa? Ffe ffennyini tuwulidde ebigambo by'ayogedde.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24