bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 13
Luke 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
1
Awo mu kiseera ekyo, ne wabaawo abaabuulira Yesu ku Bagalilaaya Pilaato be yatta, n'atabula omusaayi gwabwe wamu n'ogw'ebitambiro byabwe.
2
Yesu n'abaddamu nti: “Olw'okubanga Abagalilaaya bano baabonyaabonyezebwa batyo, mulowooza nti baali boonoonyi okusinga Abagalilaaya abalala bonna?
3
Mbagamba nti si bwe kiri. Naye bwe muteenenya, nammwe mwenna mulizikirira.
4
Oba bali ekkumi n'omunaana, omunaala be gwagwako e Silowaamu ne gubatta mulowooza nti bo baali boonoonyi okusinga abantu bonna abaali mu Yerusaalemu?
5
Mbagamba nti si bwe kiri. Naye bwe muteenenya, nammwe mwenna mulizikirira.”
6
Awo Yesu n'agera olugero luno nti: “Waaliwo omuntu eyalina omuti omutiini, ogwali gusimbiddwa mu nnimiro ye ey'emizabbibu. N'ajja okugunoonyaako ebibala, n'atasangako na kimu.
7
N'agamba omulimi w'ennimiro nti: ‘Laba, kati emyaka esatu nga nzija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne sibisangako. Gutemewo, ate gwonoonera ki ettaka?’
8
Kyokka omulimi w'ennimiro n'amuddamu nti: ‘Mukama wange, guleke ne mu mwaka guno, mmale okugutemeratemera n'okuguteekako ebigimusa.
9
Singa gulibala ebibala omwaka ogujja, kirungi; bwe gutalibala, oligutemawo.’ ”
10
Ku lunaku lwa Sabbaato, Yesu yali ayigiriza mu limu ku makuŋŋaaniro.
11
Waaliwo omukazi eyaliko omwoyo omubi, ogwali gumumazeemu amaanyi okumala emyaka kkumi na munaana. Yali yeewese, era nga tayinza kwegolola n'akatono.
12
Yesu bwe yamulaba, n'amuyita n'amugamba nti: “Mukazi wattu, oggyiddwako obulwadde bwo.”
13
N'amukwatako, amangwago omukazi n'aba mugolokofu, n'atendereza Katonda.
14
Kyokka omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'anyiiga, kubanga Yesu awonyezza ku Sabbaato. N'agamba ekibiina ky'abantu nti: “Ennaku ziri mukaaga eziteekwa okukolerwako emirimu. Kale mujjenga ku ezo muwonyezebwe, naye si ku lunaku lwa Sabbaato.”
15
Mukama waffe n'amuddamu nti: “Bakuusa mmwe! Buli omu ku mmwe tayimbula nte ye, oba ndogoyi ye mu kisibo ku Sabbaato, n'agitwala okunywa?
16
Kale omukazi ono, muzzukulu wa Aburahamu, Sitaani gw'abadde asibye okumala emyaka ekkumi n'omunaana, abadde tasaanidde kuggyibwa mu busibe buno ku lunaku lwa Sabbaato?”
17
Bwe yali ng'ayogera bino, abalabe be ne bakwatibwa ensonyi, ate ekibiina ky'abantu kyonna ne kisanyuka olwa byonna eby'ettendo bye yali akola.
18
Yesu ate n'agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa na ki, era nnaabugeraageranya na ki?
19
Bufaanaanyirizibwa n'akasigo ka kaladaali, omuntu ke yatwala n'akasuula mu nnimiro ye, ne kamera, ne kavaamu omuti, era ebinyonyi ne bizimba ebisu mu matabi gaagwo.”
20
Yesu era n'agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda nnaabugeraageranya na ki?
21
Bufaanaanyirizibwa n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akitabula mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.”
22
Awo Yesu n'ayitaayita mu bibuga ne mu byalo ng'ayigiriza, ng'agenda e Yerusaalemu.
23
Omu n'amubuuza nti: “Mukama wange, abalokolebwa be batono?” Yesu n'abagamba nti:
24
“Mufube okuyingirira mu mulyango omufunda. Mbagamba nti bangi baligezaako okuyingira, ne batasobola.
25
Nnannyini nnyumba bw'aliba amaze okusituka n'aggalawo oluggi, muliyimirira wabweru, ne mutandika okukonkona ku luggi nga mugamba nti: ‘Ssebo, tuggulirewo!’ Alibaddamu nti: ‘Sibamanyi gye muva.’
26
Olwo mulitandika okugamba nti: ‘Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigirizanga mu nguudo zaffe.’
27
Aliddamu ng'agamba nti: ‘Simanyi gye muva. Muve we ndi, mwenna abakozi b'ebibi.’
28
Walibaawo okukaaba n'okuluma obujiji, bwe muliraba Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, n'abalanzi bonna, mu Bwakabaka bwa Katonda, naye mmwe nga musuuliddwa ebweru.
29
Era abantu baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, ne mu bukiikakkono ne ddyo, ne batuula ku mbaga mu Bwakabaka bwa Katonda.
30
Era laba, waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, era waliwo ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.”
31
Mu kiseera ekyo kyennyini, Abafarisaayo abamu ne bajja, ne bagamba Yesu nti: “Va wano ogende, kubanga Herode ayagala kukutta.”
32
Yesu n'abagamba nti: “Mugende mugambe ekibe ekyo nti: ‘Laba, ngoba emyoyo emibi ku bantu, era mponya abalwadde leero ne jjo, ate luli mmaliriza.’
33
Naye leero ne jjo ne luli, nteekwa okwongera okutambula, kubanga tekiyinzika omulanzi okuttirwa awantu awalala okuggyako mu Yerusaalemu.
34
“Yerusaalemu, Yerusaalemu, ggwe atta abalanzi era akuba amayinja abatumibwa gy'oli! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, ne mutakkiriza?
35
Laba ennyumba yammwe ebalekerwa nga kifulukwa. Era mbagamba nti temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24