bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Luke 8
Luke 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
1
Oluvannyumako, Yesu n'atambula olugendo ng'ayita mu bibuga ne mu byalo, ng'ategeeza abantu era ng'abunyisa Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka bwa Katonda. Abayigirizwa ekkumi n'ababiri,
2
era n'abakazi bangi, baali naye. Abakazi bano bonna baatoolanga ku bintu byabwe, ne bayamba Yesu n'abayigirizwa be. Abamu ku bakazi bano, Yesu yali amaze okubawonya emyoyo emibi n'endwadde, be bano: Mariya ayitibwa Magudaleena, eyagobwako emyoyo emibi omusanvu, ne Yowanna muka Kuuza omuwanika wa Herode, era ne Susanna.
4
Awo abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaanira awali Yesu, nga bava mu buli kibuga, n'abagamba mu lugero nti:
5
“Omusizi yagenda okusiga ensigo. Bwe yali ng'asiga, ezimu ne zigwa mu kkubo, ne zirinnyirirwa, era ebinyonyi ne bizirya.
6
Ensigo endala ne zigwa ku ttaka ery'oku lwazi. Bwe zaamera, ne zikala, kubanga ettaka teryalimu mazzi.
7
Endala ne zigwa mu ttaka eryameramu amaggwa, ne gakulira wamu nazo, ne gazitta.
8
N'endala ne zigwa mu ttaka eddungi, ne zikula, buli emu n'ebala ensigo kikumi.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'akangula ku ddoboozi, n'agamba nti: “Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
9
Awo abayigirizwa ba Yesu ne bamubuuza amakulu g'olugero olwo.
10
Ye n'addamu nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ebyama ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda, naye abantu abalala babibuulirwa mu ngero, balyoke balabe naye nga tebeetegereza, bawulirize naye nga tebategeera.
11
“Amakulu g'olugero olwo gaagano: ensigo, kye kigambo kya Katonda.
12
Ensigo ezaagwa mu kkubo, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, naye Sitaani n'ajja n'akiggya mu mitima gyabwe, baleme okukkiriza ne balokolebwa.
13
“Ate ensigo ezaagwa ku ttaka ery'oku lwazi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyaniriza n'essanyu, naye ne baba ng'ebimera ebitalina mirandira gisse nnyo wansi mu ttaka. Bakkiriza okumala ekiseera kitono, mu kiseera eky'okukemebwa ne baterebuka.
14
“Ezo ezaagwa mu ttaka eryameramu amaggwa, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda, naye emitawaana, n'obugagga n'amasanyu eby'omu bulamu buno, ne bigenda nga bibamalamu amaanyi, ne batakola bikolwa birungi.
15
“Ate ezo ezaagwa mu ttaka eddungi, be bantu abawulira ekigambo kya Katonda n'omutima omulungi ddala, ne bakikuuma era ne bakola ebikolwa ebirungi nga bagumiikiriza.
16
“Omuntu takoleeza ttaala n'agibikkako ekibbo, oba n'agiteeka wansi wa kitanda, wabula agiteeka ku kikondo kyayo, abantu abayingira balyoke balabe ekitangaala.
17
“Buli kintu ekikwekeddwa kirikwekulwa, era buli kyama kirimanyibwa mu lwatu.
18
“Kale nno muwulirize n'obwegendereza: buli alina aliweebwa; ate buli atalina, n'ekyo ky'alowooza okuba nakyo, kirimuggyibwako.”
19
Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy'ali, kyokka ne batasobola kumutuukako olw'obungi bw'abantu.
20
Awo abantu abamu ne bamugamba nti: “Nnyoko ne baganda bo bali wabweru, baagala okukulaba.”
21
Yesu n'addamu nti: “Mmange ne baganda bange be bo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako.”
22
Awo ku lunaku olumu, Yesu n'asaabala mu lyato wamu n'abayigirizwa be, n'abagamba nti: “Tuwunguke tugende emitala w'ennyanja.” Ne bagenda.
23
Bwe baali mu lyato nga bagenda, Yesu ne yeebaka. Awo omuyaga ogw'amaanyi ne gukunta ku nnyanja, eryato ne liba kumpi okujjula amazzi, bonna ne baba mu kabi.
24
Awo abayigirizwa ne basembera awali Yesu ne bamuzuukusa nga bagamba nti: “Muyigiriza, Muyigiriza, tufa!” Yesu n'azuukuka, n'aboggolera omuyaga n'amayengo g'ennyanja. Omuyaga ne gukoma, ennyanja n'eteeka.
25
Awo n'agamba abayigirizwa be nti: “Lwaki temulina kukkiriza?” Bo nga batidde, era nga beewuunya, ne bagambagana nti: “Kale ono ye ani? Olaba n'omuyaga era n'amayengo abiragira ne bimuwulira!”
26
Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagoba ku lukalu lw'ensi y'Abagerasa, etunuulidde Galilaaya.
27
Yesu bwe yali nga ky'ajje atuuke ku lukalu, omusajja eyava mu kibuga, era aliko emyoyo emibi, n'amusisinkana. Omusajja oyo yali amaze ekiseera kiwanvu nga tayambala, era nga taba mu nnyumba, wabula mu mpuku eziziikibwamu abafu.
28
Bwe yalaba Yesu, n'awowoggana nnyo, n'afukamira mu maaso ge, era n'aleekaana nnyo nti: “Onvunaana ki, ggwe Yesu Omwana wa Katonda Atenkanika? Nkwegayiridde tombonyaabonya!”
29
Yagamba bw'atyo kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku muntu oyo. Emirundi mingi gwamukwatanga, ne bamukuuma nga musibe n'enjegere, kyokka n'azikutulanga, ne gumutwala mu malungu.
30
Yesu n'agubuuza nti: “Erinnya lyo ggwe ani?” Ne guddamu nti: “Nze Ggye,” kubanga emyoyo emibi gyali mingi ku muntu oyo.
31
Awo ne gyegayirira Yesu aleme kugiragira kugenda magombe.
32
Ku lusozi awo waaliwo eggana ly'embizzi ddene, nga zirya. Emyoyo emibi ne gyegayirira Yesu agikkirize giyingire mu mbizzi ezo. N'agikkiriza.
33
Awo ne giva ku muntu, ne giyingira mu mbizzi. Eggana ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku kagulungujjo k'olusozi, ne lyesuula mu nnyanja, embizzi zonna ne zifa amazzi.
34
Abaali bazirabirira bwe baalaba ekiguddewo, ne badduka, ne bagenda bategeeza ab'omu kibuga n'ab'omu byalo.
35
Abantu ne bajja okulaba ekiguddewo. Ne batuuka awali Yesu, ne basanga omuntu ng'emyoyo emibi gimuvuddeko. Baamusanga atudde kumpi n'ebigere bya Yesu, era ng'ayambadde, era ng'ategeera bulungi, ne batya.
36
Abo abaaliwo ng'emyoyo emibi giva ku muntu oyo, ne banyumiza abantu nga bwe yawonyezeddwa.
37
Olwo abantu bonna ab'omu nsi y'Abagerasa ne basaba Yesu ave ewaabwe, kubanga baali batidde nnyo. Awo Yesu n'asaabala mu lyato, agende.
38
Omuntu eyagobwako emyoyo emibi ne yeegayirira Yesu amukkirize ayitenga naye. Kyokka Yesu n'amusiibula ng'agamba nti:
39
“Ddayo ewammwe, onyumize abantu byonna Mukama by'akukoledde.” Awo omuntu oyo n'atambula ekibuga kyonna ng'ategeeza abantu byonna ebyamukolerwa Yesu.
40
Yesu bwe yakomawo, abantu bangi ne bamwaniriza, kubanga bonna baali bamulindirira.
41
Awo omusajja ayitibwa Yayiro, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'ajja n'afukamira kumpi n'ebigere bya Yesu, n'amwegayirira agende ayingire mu nnyumba ye,
42
kubanga muwala we ow'emyaka ekkumi n'ebiri, ate nga ye mwana gwe yalina yekka, yali kumpi okufa. Yesu bwe yali ng'agenda, ebibiina by'abantu ne bimunyigiriza.
43
Waaliwo omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky'omusaayi okumala emyaka kkumi n'ebiri, era ng'awaddeyo ebintu bye byonna mu basawo, kyokka nga tewali asobola kumuwonya.
44
Awo n'ajja emabega wa Yesu, n'amukwata ku lukugiro lw'ekyambalo kye. Amangwago ekikulukuto ky'omusaayi gwe ne kikalira.
45
Yesu n'abuuza nti: “Ani ankutteko?” Bonna ne beegaana. Peetero n'agamba nti: “Muyigiriza, abantu bangi abakwekuusaako, era abakunyigiriza!”
46
Kyokka Yesu n'agamba nti: “Waliwo ankutteko, kubanga mpulidde ng'obuyinza bwange obuwonya bukoze.”
47
Omukazi bwe yalaba nga tasobodde kwekweka, n'ajja ng'akankana, n'afukamira awali Yesu, n'amutegeeza ng'abantu bonna bawulira, ensonga kye yavudde amukwatako, era nga bwe yawonye amangwago.
48
Yesu n'amugamba nti: “Muwala, owonye olw'okukkiriza kwo. Genda mirembe.”
49
Yesu yali akyayogera, omubaka eyava mu maka g'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'ajja, n'ategeeza omukulu oyo nti: “Muwala wo afudde. Leka kuteganya Muyigiriza.”
50
Kyokka Yesu bwe yawulira, n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti: “Totya, kkiriza bukkiriza, muwala wo ajja kulamuka.”
51
Yesu bwe yatuuka ku nnyumba, n'agaana abalala bonna okuyingira naye, okuggyako Peetero, ne Yowanne, ne Yakobo, n'abazadde b'omwana.
52
Abantu bonna abaaliwo, baali bakaaba era nga bakuba ebiwoobe olw'omwana oyo. Kyokka Yesu n'agamba nti: “Temukaaba, kubanga tafudde, wabula yeebase.”
53
Bonna ne bamusekerera, kubanga baali bamanyi nti omwana afudde.
54
Kyokka Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyita nti: “Omwana, golokoka!”
55
Awo omwana n'alamuka, era n'ayimirira amangwago. Yesu n'alagira nti: “Mumuwe emmere alye.”
56
Abazadde b'omwana ono ne beewuunya. Kyokka Yesu n'abakuutira obutabuulirako muntu n'omu ekibaddewo.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24